Tuyinza Tutya ”Okulindirira Katonda”?
“N[n]aalindiriranga Katonda.”—MI. 7:7.
1. Kiki ekiyinza okutuleetera okulekera awo okuba abagumiikiriza?
OBWAKABAKA bwa Masiya bwe bwateekebwawo mu 1914, ennaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka ya Sitaani zaatandika. Olutalo lwabaawo mu ggulu era Yesu n’asuula Omulyolyomi ne badayimooni ku nsi. (Soma Okubikkulirwa 12:7-9.) Sitaani akimanyi nti asigazza “akaseera katono.” (Kub. 12:12) Kyokka ‘akaseera ako akatono’ kamaze emyaka mingi okusinga abamu ku ffe bwe twali tusuubira. Kyandiba nti kati tutandise okulekera awo okuba abagumiikiriza?
2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
2 Obutaba bagumiikiriza kya kabi nnyo, kubanga kisobola okutuleetera okweyisa mu ngeri etali ya magezi. Tuyinza tutya okulindirira Katonda? Ekitundu kino kijja kutulaga engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu. Kigenda kuddamu ebibuuzo bino: (1) Kyakulabirako ki nnabbi Mikka kye yatuteerawo bwe kituuka ku kwoleka obugumiikiriza? (2) Biki ebinaalaga nti enkomerero etuuse? (3) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima obugumiikiriza bwa Yakuwa?
KIKI KYE TUYIGIRA KU MIKKA?
3. Embeera yali etya mu Isiraeri mu kiseera kya Mikka?
3 Soma Mikka 7:2-6. Nnabbi wa Yakuwa ayitibwa Mikka yalaba embeera y’Abaisiraeri ey’eby’omwoyo nga buli lukya yeeyongera okwonooneka okutuusa embeera lwe yasajjuka mu bufuzi bwa Kabaka Akazi. Mikka yageraageranya Abaisiraeri abataali beesigwa ku ‘mweramannyo n’olukomera olw’amaggwa.’ Ng’omweramannyo n’olukomera olw’amaggwa bwe biyinza okutuusa akabi ku muntu, Abaisiraeri abo abataali beesigwa baali ba mutawaana nnyo eri buli muntu eyakolagananga nabo. Embeera yayonooneka nnyo ne kiba nti n’abantu ab’omu maka agamu baali tebakyakolagana. Bwe yakiraba nti yali talina ky’ayinza kukola kutereeza mbeera eyo, Mikka yasaba Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Oluvannyuma yalindirira Katonda abeeko ky’akolawo. Mikka yali mukakafu nti Yakuwa yali alina ky’ajja okukolawo okutereeza embeera eyo mu kiseera kye ekituufu.
4. Mbeera ki enzibu gye tuyinza okwolekagana nayo?
4 Okufaananako Mikka, naffe twetooloddwa abantu abeefaako bokka. Abantu abasinga obungi ‘tebeebaza, si beesigwa, era tebaagala ba luganda.’ (2 Tim. 3:2, 3) Kituyisa bubi nnyo okulaba nga bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, ne baliraanwa baffe beefaako bokka. Naye embeera abaweereza ba Katonda abamu gye balimu nzibu nnyo. Yesu yagamba nti abagoberezi be bandiyigganyiziddwa ab’omu maka gaabwe, era ng’akozesa ebigambo ebifaananako n’ebyo ebiri mu Mikka 7:6, yalaga ekyo ekyandivuddemu ng’abantu bakkirizza obubaka bwe. Yagamba nti: “Nnajja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we. Mu butuufu, abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Mat. 10:35, 36) Tekiba kyangu kugumira kuyigganyizibwa okuba kuvudde mu b’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza. Naye bwe twolekagana n’okugezesebwa ng’okwo, tetusaanidde kwekkiriranya. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okusigala nga tuli beesigwa era nga tulindirira Yakuwa okutereeza ebintu. Bwe tweyongera okusaba Yakuwa okutuyamba, ajja kutuwa amaanyi n’amagezi bye twetaaga okusobola okugumira okugezesebwa.
5, 6. Mikisa ki Mikka gye yafuna, naye bunnabbi ki obutaatuukirira mu kiseera kye?
5 Olw’okuba Mikka yali mugumiikiriza, Yakuwa yamuwa emikisa. Mikka yalaba obufuzi bwa Kabaka Akazi obwali obubi nga bukoma. Yalaba nga mutabani wa Akazi, Kabaka Keezeekiya, ng’addira kitaawe mu bigere era n’azzaawo okusinza okw’amazima. Era obubaka obw’omusango obukwata ku Samaliya Mikka bwe yalangirira bwatuukirira, Bwasuli bwe yalumba obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi.—Mi. 1:6.
6 Kyokka, obunnabbi obumu Mikka bwe yayogera tebwatuukirira mu kiseera kye. Ng’ekyokulabirako, Mikka yawandiika nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma . . . olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu. Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama.” (Mi. 4:1, 2) Wadde ng’obunnabbi obwo tebwatuukirira mu kiseera kye era nga n’abantu abaliwo mu kiseera kye baali beenyigira mu bikolwa ebibi, Mikka yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa. Yagamba nti: “Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.” (Mi. 4:5) Mikka yalindirira Yakuwa mu biseera ebyo ebyali ebizibu ennyo olw’okuba yali mukakafu nti Yakuwa yandituukirizza ebisuubizo bye byonna. Mikka yali yeesiga nnyo Yakuwa.
7, 8. (a) Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa? (b) Kiki ekinaafuula ebiseera okulabika ng’ebidduka ku sipiidi?
7 Okufaananako Mikka, naffe twesiga Yakuwa? Tulina ensonga eyandituleetedde okwesiga Yakuwa. Tulabye obunnabbi bwa Mikka nga butuukirira. ‘Mu nnaku zino ez’oluvannyuma,’ obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna, n’ebika, n’ennimi, beekuluumuludde nga bajja ku ‘lusozi lw’ennyumba ya Yakuwa.’ Wadde ng’abantu abo bava mu mawanga agayinza okuba nga tegakolagana, ‘baweesezza ebitala byabwe okuba enkumbi,’ era ‘tebakyayiga kulwana nate.’ (Mi. 4:3) Nga nkizo ya maanyi okuba omu ku baweereza ba Yakuwa abali mu mirembe!
8 Kya lwatu nti ffenna twagala Yakuwa azikirize enteekateeka eno embi mu bwangu. Naye bwe tuba ab’okulindirira Yakuwa, tulina okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Yakuwa ataddewo olunaku kw’anaalamulira abantu ng’akozesa Yesu Kristo, ‘omuntu gw’alonze.’ (Bik. 17:31) Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Katonda awadde abantu bonna akakisa ‘okutegeerera ddala amazima,’ bagakolereko, era basobole okulokolebwa. Obulamu bw’abantu bangi buli mu kabi. (Soma 1 Timoseewo 2:3, 4.) Bwe twemalira ku kuyamba abantu okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda, ekiseera ekisigaddeyo okutuuka ku nkomerero kijja kulabika ng’ekidduka ku sipiidi. Enkomerero enaatera okutuuka. Bw’eneetuuka, tujja kuba basanyufu nnyo okuba nti twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira!
BIKI EBINAALAGA NTI ENKOMERERO ETUUSE?
9-11. Obunnabbi obuli mu 1 Abassessaloniika 5:3 bwatuukirira? Nnyonnyola.
9 Soma 1 Abassessalonika 5:1-3. Mu kiseera ekitali kya wala, amawanga gajja kulangirira ‘Emirembe n’obutebenkevu!’ Bwe tuba tetwagala kulimbibwalimbibwa bigambo ebyo, tulina ‘okusigala nga tutunula era nga tutegeera bulungi.’ (1 Bas. 5:6) Kati ka tulabe ebimu ku bintu ebibaddewo ebiraga nti obunnabbi obwo bunaatera okutuukirira.
10 Oluvannyuma lwa ssematalo eyasooka n’ow’okubiri, amawanga gaakola kyonna ekisoboka okusobola okuleetawo emirembe. Ssematalo I bwe yaggwa, Ekinywi ky’Amawanga kyateekebwawo okusobola okuleetawo emirembe. Ate oluvannyuma lwa Ssematalo II, ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyateekebwawo okusobola okuleetawo emirembe. Gavumenti z’abantu awamu n’abakulembeze b’amadiini baateeka obwesige bwabwe mu bibiina ebyo nga basuubira nti byali bya kuleetawo emirembe mu nsi. Ng’ekyokulabirako, ekibiina ky’Amawanga amagatte kyalangirira nti omwaka 1986 gwali mwaka gwa mirembe mu nsi yonna. Mu mwaka ogwo, abakulembeze bangi ne bannaddiini bangi awamu n’omukulembeze w’eddiini y’Abakatuliki baakuŋŋaanira mu kibuga Assisi ekya Italy okusaba emirembe.
11 Kyokka, okulangirira emirembe mu mwaka ogwo n’okulangirira emirembe okulala okuzze kubeerawo si kye kituukiriza obunnabbi obuli mu 1 Abassessalonika 5:3. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga “okuzikiriza okw’amangu” okwayogerwako tekunnabaawo.
12. Kiki kye tumanyi ku “Mirembe n’obutebenkevu” ebinaalangirirwa?
12 Ani anaalangirira ‘Emirembe n’obutebenkevu’? Kiki abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu n’abakulembeze b’amadiini amalala kye banaakolawo mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo? Ate bo abakulembeze b’amawanga ag’enjawulo banaakolawo ki? Ekyo Bayibuli tekitubuulira. Naye kye tumanyi kiri nti emirembe n’obutebenkevu ebinaalangirirwa tebijja kuba bya nnamaddala. Sitaani ajja kuba akyafuga ensi eno. Ensi ya Sitaani eno mbi nnyo era tejja kutereera. Nga tekijja kuba kya magezi kugoberera bulimba bwa Sitaani obwo, ne twegatta ku nsi eno embi!
13. Lwaki bamalayika bakwatiridde empewo ez’okuzikiriza?
13 Soma Okubikkulirwa 7:1-4. Nga bwe tulindirira obunnabbi obuli mu 1 Abassessaloniika 5:3 okutuukirira, bamalayika ab’amaanyi bakwatiridde empewo ez’okuzikiriza ez’ekibonyoobonyo ekinene. Kiki kye balindirira? Omutume Yokaana yagamba nti balindirira ‘abaddu ba Katonda waffe’ bateekebweko akabonero akasembayo.a Ekyo bwe kinaggwa, bamalayika bajja kuta empewo ez’okuzikiriza. Kiki ekinaddirira?
14. Kiki ekiraga nti Babulooni Ekinene kinaatera okuzikirizibwa?
14 Babulooni ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba, kijja kuzikirizibwa. Tewali n’omu ajja kusobola kulemesa madiini ag’obulimba kuzikirizibwa. Leero waliwo ebintu bingi ebiraga nti ekyo kinaatera okubaawo. (Kub. 16:12; 17:15-18; 18:7, 8, 21) Ennaku zino, abantu bavumirira nnyo amadiini n’abakulembeze baago okuyitira ku mikutu gy’empuliziganya. Wadde kiri kityo, abakulembeze b’amadiini ag’obulimba balowooza nti tewali kabi konna kajja kubatuukako. Nga bakyamu nnyo! Oluvannyuma ‘lw’Emirembe n’obutebenkevu’ okulangirirwa, gavumenti zijja kulumba amadiini ag’obulimba zigazikirize. Babulooni Ekinene tekiriddamu kulabika nate! N’olwekyo, kikulu nnyo okulindirira n’obugumiikiriza okutuusa ebintu ebyo byonna lwe binaabaawo.—Kub. 18:8, 10.
TUYINZA TUTYA OKULAGA NTI TUSIIMA OBUGUMIIKIRIZA BWA YAKUWA?
15. Lwaki Yakuwa ayolese obugumiikiriza?
15 Wadde ng’abantu basiize erinnya lye enziro, Yakuwa ayolese obugumiikiriza. Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa. (2 Peet. 3:9, 10) Naffe tulina endowooza ng’eyiye? Ng’olunaku lwa Yakuwa terunnatuuka tuyinza okulaga nti tusiima obugumiikiriza bwa Yakuwa mu ngeri zino wammanga.
16, 17. (a) Lwaki tusaanidde okuyamba abo abanafuye mu by’omwoyo? (b) Lwaki abo abanafuye mu by’omwoyo basaanidde okudda eri Yakuwa mu bwangu?
16 Okuyamba abo abanafuye mu by’omwoyo. Yesu yagamba nti wabaawo essanyu lingi mu ggulu bwe wabaawo endiga eba ebuze n’ezuulibwa. (Mat. 18:14; Luk. 15:3-7) Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be bonna abamwagala, ne bwe kiba nti banafuye mu by’omwoyo. Bwe tuyamba abantu ng’abo okukomawo mu kibiina, kireetera Yakuwa ne bamalayika essanyu.
17 Oli omu ku abo abanafuye mu by’omwoyo? Oboolyawo waliwo ow’oluganda eyakuyisa obubi, ekyo ne kikuleetera okulekera awo okugenda mu nkuŋŋaana. Kati wayinza okuba nga wayiseewo ekiseera okuva ow’oluganda oyo lwe yakunyiiza. N’olwekyo, weebuuze: ‘Kati ndi musanyufu okusinga bwe nnali nga nkyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu? Yakuwa ye yanyiiza, oba mukkiriza munnange atatuukiridde? Yakuwa Katonda yali akozeeko ekintu kyonna okunnumya?’ Bulijjo Yakuwa atukolera ebintu ebirungi. Wadde nga tuyinza okuba nga tetukyatuukiriza kwewaayo kwaffe gy’ali, Yakuwa tatumma bintu birungi. (Yak. 1:16, 17) Olunaku lwa Yakuwa luli kumpi. Kino kye kiseera okudda eri Kitaffe ow’okwagala n’eri ekibiina kye. Mu kibiina kya Yakuwa mwe mwokka mwe tusobola okufunira obukuumi obwa nnamaddala mu nnaku zino ez’oluvannyuma.—Ma. 33:27; Beb. 10:24, 25.
18. Lwaki tusaanidde okuwagira abo abatwala obukulembeze mu kibiina?
18 Okuwagira abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Ng’omusumba ayagala endiga ze, Yakuwa atuwa obulagirizi era atukuuma. Alonze omwana we okuba Omusumba Omukulu ow’ekisibo kye. (1 Peet. 5:4) Abakadde mu bibiina ebisukka mu 100,000 bafaayo ku buli emu ku ndiga za Yakuwa. (Bik. 20:28) Bwe tuwagira abo abatwala obukulembeze mu kibiina, tuba tulaga nti tusiima ebirungi byonna Yakuwa ne Yesu bye batukolera.
19. Tuyinza tutya okusigala nga tuli bumu ne bakkiriza bannaffe?
19 Okukolagana obulungi ne bakkiriza bannaffe. Ekyo kitegeeza ki? Eggye eriba litendekeddwa obulungi bwe lirumbibwa omulabe, abajaasi bonna babeera wamu ne batawa mulabe mwagaanya. Ekyo kiyamba eggye lyabwe okuba ery’amaanyi. Sitaani yeeyongedde okulumba abantu ba Katonda. N’olweyo, mu kiseera kino tetusaanidde kulwanyisa bakkiriza bannaffe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okusigala nga tuli bumu ne bakkiriza bannaffe nga tukolagana bulungi nabo, nga tufuba okubuusa amaaso obutali butuukirivu bwabwe, era nga tweyongera okwesiga Yakuwa.
20. Kiki kye tusaanidde okukola kati?
20 Ffenna tusaanidde okuba abamalirivu okusigala nga tutunula mu by’omwoyo n’okulindirira Yakuwa. Ka tube bagumiikiriza nga tulindirira ekiseera eky’okulangirira ‘Emirembe n’obutebenkevu!’ n’eky’okuteeka akabonero akasembayo ku balonde. Oluvannyuma lw’ebintu ebyo, bamalayika abana bajja kuta empewo ez’okuzikiriza, era Babulooni ekinene kijja kuzikirizibwa. Nga bwe tulindirira ebintu ebyo okubaawo, ka tweyongere okukolera ku bulagirizi obutuweebwa abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa. Era ka tufube okusigala nga tuli bumu ne bakkiriza bannaffe tusobole okulwanyisa Omulyolyomi ne badayimooni! Mu butuufu, kino kye kiseera okukolera ku bigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bino: “Mube bavumu era mube n’omutima omugumu,mmwe mmwenna abalindirira Yakuwa.”—Zab. 31:24, NW.
a Okumanya enjawulo eri wakati w’okuteeka akabonero akasooka n’akabonero akasembayo ku baafukibwako amafuta, laba Watchtower eya Jjanwali 1, 2007, olupapula 30-31.