Essuula Ey’ekkumi N’esatu
Ekibiina Ekinene mu Maaso g’Entebe ya Yakuwa
1. (a) Nga abaweereza ba Katonda abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo, oba nga 144,000 tebannafuna mpeera yaabwe, bateekwa kutuukibwako ki? (b) Kiki ekirisoboka eri “ekibiina [e]kinene” abaliwo mu kiseera kino?
ABAWEEREZA ba Katonda abeesigwa okuva ku Abeeri okutuuka ku Yokaana Omubatiza baakulembeza Katonda by’ayagala mu bulamu bwabwe. Kyokka, bonna baafa, era balindirira okuzuukizibwa mu nsi empya. Abantu 144,000 abanaafuga ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu, nabo bateekwa okufa nga tebannafuna mpeera yaabwe. Kyokka, Okubikkulirwa 7:9 lulaga nti “ekibiina [e]kinene” okuva mu mawanga gonna abatandireze ku kufa bandibadde n’essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Oli omu ku abo?
Okwawulawo Ekibiina Ekinene
2. Kutegeera bintu ki okwasobozesa okutegeera obulungi ekibiina ekinene ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9?
2 Mu 1923, abaweereza ba Yakuwa baategeera nti ‘endiga’ z’omu lugero lwa Yesu oluli mu Matayo 25:31-46 ne “endiga endala” ze yayogerako mu Yokaana 10:16, be bantu abajja okubeera ku nsi emirembe gyonna. Mu 1931, kyategeerekeka nti abateekebwako akabonero ku byenyi aboogerwako mu Ezeekyeri 9:1-11, nabo balina essuubi ery’okubeera ku nsi. Ate mu 1935, kyamanyibwa nti ab’ekibiina ekinene kitundu kya ndiga endala Yesu ze yayogerako. Leero, omuwendo gw’ab’ekibiina kino ekinene guli mu bukadde.
3. Lwaki ebigambo “bayimiridde mu maaso g’entebe” tebitegeeza nti balibeera mu ggulu?
3 Mu Okubikkulirwa 7:9, ab’ekibiina ekinene tebalabibwa nga bali mu ggulu. Okuba nti “bayimiridde mu maaso g’entebe” ya Katonda tekibeetaagisa kubeera mu ggulu. Balabibwa bulabibwa Katonda. (Zabbuli 11:4) Kitegeerekeka bulungi nti ekibiina ekinene, “omuntu yenna ky’atayinza kubala,” si kibiina ekiribeera mu ggulu, bw’ogeraageranya omuwendo gwakyo ogutali mukakafu n’ogwo ogwogerwako mu Okubikkulirwa 7:4-8 ne Okubikkulirwa 14:1-4. Mu byawandiikibwa ebyo, omuwendo gw’abo abatwalibwa mu ggulu okuva ku nsi guli 144,000.
4. (a) “Ekibonyoobonyo ekinene” ekibiina ekinene kye bayitamu kye kiruwa? (b) Nga bwe kiri mu Okubikkulirwa 7:11, 12, baani abalaba ekibiina ekinene era ne basinziza wamu nakyo?
4 Okubikkulirwa 7:14 lwogera bwe luti ku b’ekibiina ekinene: “Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi [“ekibonyoobonyo ekinene,” NW].” Bayita mu kiseera ekisingirayo ddala obuzibu ekyali kibaddewo mu byafaayo by’omuntu. (Matayo 24:21) Bwe baliba beebaza Katonda ne Kristo olw’okubalokola, ebitonde byonna ebyesigwa mu ggulu biriddamu wamu nabo nti: “Amiina: omukisa n’ekitiibwa n’amagezi n’okwebaza n’ettendo n’obuyinza n’amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina.”—Okubikkulirwa 7:11, 12.
Okukakasa nti Basaanira
5. Tuyinza tutya okumanya ebyetaagisa okusobola okubeera mu kibiina ekinene?
5 Okuwonyezebwawo kw’ekibiina ekinene mu kibonyoobonyo ekinene kutuukagana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Engeri z’abo abanaawonawo ziragibwa bulungi mu Baibuli. Bwe kityo, abo abaagala obutuukirivu basobola okumanya kati eby’okukola ebinaabasobozesa okuwonawo. Abalinga abo bateekwa kukola ki?
6. Lwaki ekibiina ekinene kiyinza okugeraageranyizibwa ku ndiga?
6 Endiga bisolo ebiwulize. N’olwekyo, Yesu bwe yagamba nti alina endiga endala ezitali mu kibiina ekiribeera mu ggulu, yali tategeeza bantu abaali baagala okubeera ku nsi emirembe gyonna kyokka, naye era abandigoberedde okuyigiriza kwe. Yesu yagamba: “Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera.” (Yokaana 10:16, 27) Bano be bantu abawuliriza era ne bagondera ebyo Yesu by’abagamba, ne bafuuka abayigirizwa be.
7. Ngeri ki abagoberezi ba Yesu ze beetaaga okukulaakulanya?
7 Ngeri ki endala buli omu ku bagoberezi ba Yesu ze yandikulaakulanyizza? Ekigambo kya Katonda kiddamu: ‘Mwambule omuntu ow’edda ow’empisa ez’olubereberye ate mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.’ (Abeefeso 4:22-24) Bakulaakulanya engeri ezinyweza obumu bw’abaweereza ba Katonda, nga zino kwe “kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwoombeefu, [okwefuga].”—Abaggalatiya 5:22, 23.
8. Ab’ekibiina ekinene banaayolekagana na ki nga bawagira ensigalira?
8 Ab’ekibiina ekinene bawagira ekibiina ekitono eky’abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu era abawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira. (Matayo 24:14; 25:40) Ab’endiga endala bawa obuwagizi buno wadde nga bamanyi nti bajja kuziyizibwa, olw’okuba ku ntandikwa y’ennaku zino ez’oluvannyuma, Kristo Yesu ne bamalayika be baagoba Setaani ne balubaale be okuva mu ggulu. Ekyo kyali kitegeeza nti ensi yali egenda kubaamu ennaku “kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:7-12) Bwe kityo, Setaani yeeyongera okuziyiza abaweereza ba Katonda ng’enkomerero y’embeera zino egenda esembera.
9. Abaweereza ba Katonda bafunye buwagizi bwa ngeri ki ku bikwata ku kubuulira amawulire amalungi, era lwaki?
9 Wadde nga waliwo okuyigganyizibwa okw’amaanyi, omulimu gw’okubuulira gweyongera mu maaso. Okuva ku babuulizi b’Obwakabaka abatono abaaliwo ku nkomerero ya Ssematalo I, kati omuwendo gwabwe guli mu bukadde, kubanga Yakuwa yasuubiza: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa.” (Isaaya 54:17) N’omu ku bantu abaali mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya yakitegeera nti omulimu gwa Katonda gwali teguyinza kuyimirizibwa. Yagamba bw’ati Abafalisaayo ab’omu kyasa ekyasooka ku bikwata ku bayigirizwa: “Mubaleke: kubanga okuteesa kuno n’omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira; naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng’abalwana ne Katonda.”—Ebikolwa 5:38, 39.
10. (a) ‘Akabonero’ akali ku b’ekibiina ekinene kategeeza ki? (b) Abaweereza ba Katonda bakola batya ekyo ‘eddoboozi okuva mu ggulu’ kye liragira?
10 Ab’ekibiina ekinene boogerwako ng’abateekeddwako akabonero okuwonawo. (Ezeekyeri 9:4-6) ‘Akabonero’ ako bwe bujulizi obulaga nti beewaddeyo eri Yakuwa, babatiziddwa ng’abayigirizwa ba Yesu, era nti bafuba okukulaakulanya engeri ng’eza Kristo. Bakola ekyo ‘eddoboozi okuva mu ggulu’ kye ligamba ku bikwata ku bwakabaka bwa Setaani obw’eddiini ez’obulimba mu nsi yonna: “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.”—Okubikkulirwa 18:1-5.
11. Mu ngeri ki enkulu ab’ekibiina ekinene mwe balagira nti baweereza ba Yakuwa?
11 Era Yesu yagamba abagoberezi be: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Okwawukana ku ekyo, ab’amadiini g’ensi battiŋŋana mu ntalo, emirundi mingi olw’okuba ba mawanga ga njawulo! Ekigambo kya Katonda kigamba: “Ku kino abaana ba Katonda n’abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. . . . [Tulina] okwagalananga: si nga Kayini bwe yali ow’omubi n’atta muganda we.”—1 Yokaana 3:10-12.
12. Ku kibonyoobonyo ekinene, Yakuwa alikola ki amadiini agageraageranyizibwa ku ‘miti’ egibala ebibala ebibi?
12 Yesu yagamba: “Bwe kityo, buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n’omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro. Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.” (Matayo 7:17-20) Ebibala by’amadiini g’ensi bigooleka okuba ‘emiti’ emibi, eginaatera okuzikirizibwa Yakuwa mu kibonyoobonyo ekinene.—Okubikkulirwa 17:16.
13. Ab’ekibiina ekinene balaga batya nti bali bumu nga ‘bayimiridde mu maaso g’entebe’ ya Yakuwa?
13 Okubikkulirwa 7:9-15 ziraga ensonga eziviirako ab’ekibiina ekinene okuwonyezebwawo. Bali bumu nga ‘bayimiridde mu maaso g’entebe’ ya Yakuwa, nga bawagira obufuzi bwe. ‘Bayozezza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’omwana gw’endiga,’ nga balaga nti bakkiriza ssaddaaka ya Yesu etangirira ebibi. (Yokaana 1:29) Beewaddeyo eri Katonda era ne bakiraga nga babatizibwa mu mazzi. N’olwekyo, balina enkolagana ennungi ne Katonda, ekiragibwa ebyambalo ebyeru, era ‘bamuweereza emisana n’ekiro.’ Olina engeri zonna mw’oyinza okwongera okutuukaganya obulamu bwo n’ebintu ebyogeddwako wano?
Emiganyulo Egifunibwa Kati
14. Miganyulo ki abaweereza ba Yakuwa gye bafuna kati?
14 Oboolyawo, olabye emiganyulo abo abaweereza Yakuwa gye bafuna kati. Ng’ekyokulabirako, bwe wayiga ku bigendererwa bya Yakuwa, wategeera nti eriyo essuubi mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, kati olina ekigendererwa mu bulamu—okuweereza Katonda ow’amazima ng’olina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Yee, Kabaka Yesu Kristo ‘alireeta ekibiina ekinene eri enzizi z’amazzi ag’obulamu.’—Okubikkulirwa 7:17.
15. Abajulirwa ba Yakuwa baganyuddwa batya nga bagoberera emisingi gya Baibuli ku bikwata ku mpisa n’ensonga z’eby’obufuzi?
15 Engeri endala ab’ekibiina ekinene gye baganyulwamu kati, kwe kuba nti abaweereza ba Yakuwa mu nsi yonna baagalana era bali bumu. Okuva ffenna bwe tulya emmere y’emu ey’eby’omwoyo, ffenna tugoberera amateeka n’emisingi bye bimu ebiri mu Kigambo kya Katonda. Eyo ye nsonga lwaki tetwawulwayawulwamu ndowooza za bya bufuzi oba za mwoyo gwa ggwanga. Era, tugoberera emitindo gye gimu egy’empisa Katonda gye yeetaaza abantu be. (1 Abakkolinso 6:9-11) Bwe kityo, mu kifo ky’obukuubagano, okweyawulayawula n’obugwenyufu ebicaase mu nsi, abantu ba Yakuwa bali mu mbeera eyitibwa olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Weetegereze engeri gye lwogerwako mu Isaaya 65:13, 14.
16. Wadde ng’ab’ekibiina ekinene boolekaganye n’ebizibu ebibaawo mu bulamu, balina ssuubi ki?
16 Abaweereza ba Yakuwa tebatuukiridde. Batuukibwako ebizibu ebibaawo mu bulamu buno, gamba ng’ebizibu by’enfuna oba okukosebwa entalo z’amawanga. Balwala, babonaabona, era bafa. Naye balina essuubi nti mu nsi empya, Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
17. Ka kibeere ki ekitutuukako kati, birungi ki abasinza Katonda ow’amazima bye bategekeddwa mu biseera eby’omu maaso?
17 Ka kibe nti ofa kati olw’obukadde, obulwadde, akabenje, oba okuyigganyizibwa, Yakuwa ajja kukuzuukiza mu Lusuku lwe. (Ebikolwa 24:15) Olwo nno ojja kweyongera okunyumirwa embaga ey’eby’omwoyo mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Okwagala kwo eri Katonda kujja kweyongera bw’onoolaba ebigendererwa bye nga bituukirizibwa. Era emikisa Yakuwa gy’alikuwa gijja kukuleetera okweyongera okumwagala. (Isaaya 25:6-9) Ng’abantu ba Katonda bategekeddwa ebintu ebirungi ennyo mu biseera eby’omu maaso!
Eby’Okwejjukanya
• Kintu ki ekikulu Baibuli ky’ekwataganya n’ab’ekibiina ekinene?
• Singa twagala okubeera mu kibiina ekyo ekinene ekisiimibwa Katonda, kiki kye tuteekwa okukola kati?
• Emikisa ab’ekibiina ekinene gye bafuna kati ne gye bajja okufuna mu nsi empya mikulu kwenkana wa gy’oli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 123]
Obukadde n’obukadde bw’ab’ekibiina ekinene basinziza wamu Katonda ow’amazima