EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3
Ekibiina Ekinene eky’Ab’Endiga Endala Batendereza Katonda ne Kristo
“Obulokozi bwaffe buva eri Katonda waffe atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’eri Omwana gw’Endiga.”—KUB. 7:10.
OLUYIMBA 14 Okutendereza Kabaka w’Ensi Omuggya
OMULAMWAa
1. Emboozi eyaweebwa ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1935 yakwata etya ku muvubuka omu?
OMUVUBUKA omu yalina emyaka 18 we yabatirizibwa mu 1926. Mu kiseera ekyo Abajulirwa ba Yakuwa baali bayitibwa Bayizi ba Bayibuli era bazadde be nabo baali Bayizi ba Bayibuli. Baalina abaana basatu ab’obulenzi n’ab’obuwala babiri be baayamba okufuuka abaweereza ba Yakuwa Katonda era abagoberezi ba Yesu Kristo. Nga bwe kyali eri Abayizi ba Bayibuli bonna mu kiseera ekyo, omuvubuka oyo yalyanga ku mugaati era n’anywanga ne ku nvinnyo buli mwaka ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Naye essuubi lye erikwata ku biseera eby’omu maaso lyakyukira ddala bwe yawulira emboozi ey’ebyafaayo eyalina omutwe, “Ekibiina Ekinene.” Ow’oluganda J. F. Rutherford ye yawa emboozi eyo mu 1935 ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Washington, D.C., Amerika. Kintu ki eky’enjawulo abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo kye baayiga?
2. Mazima ki ag’omuwendo agaabikkulwa mu mboozi Ow’oluganda Rutherford gye yawa?
2 Mu mboozi eyo, Ow’oluganda Rutherford yayamba abawuliriza okutegeera ‘ab’ekibiina ekinene,’ ekyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9. Okuva emabega, Abayizi ba Bayibuli baali balowooza nti ab’ekibiina ekinene be bali mu kibinja eky’okubiri eky’abo abagenda mu ggulu abatandibadde beesigwa nnyo. Ow’oluganda Rutherford yakozesa Ebyawandiikibwa okunnyonnyola nti ab’ekibiina ekinene tebaalondebwa kugenda mu ggulu, wabula nti bagoberezi ba Kristo ab’endiga endalab abajja okuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene” babeere ku nsi emirembe gyonna. (Kub. 7:14) Yesu yagamba nti: “Nnina endiga endala ezitali za mu kisibo kino; ezo nazo nnina okuzireeta; zijja kuwulira eddoboozi lyange era zonna zijja kufuuka ekisibo kimu, nga ziri wansi w’omusumba omu.” (Yok. 10:16) Ab’endiga endala abo, Bajulirwa ba Yakuwa abeesigwa abalina essuubi okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. (Mat. 25:31-33, 46) Ka tulabe engeri amazima ago agaabikkulwa gye gaakyusa obulamu bw’abantu ba Yakuwa bangi, nga mw’otwalidde n’ow’oluganda oyo ayogeddwako waggulu.—Zab. 97:11; Nge. 4:18.
OKUTEGEERA OKUPYA KUKYUSA OBULAMU BW’ABANTU BANGI
3-4. Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1935, kiki bangi ku abo abaaliwo kye baategeera ekikwata ku ssuubi lyabwe, era lwaki?
3 Akaseera akatayinza kwerabirwa ku lukuŋŋaana olwo k’eko omwogezi we yabuuliza abawuliriza nti: “Mmwenna abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna mbasaba muyimirire?” Omu ku abo abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo yagamba nti olukuŋŋaana olwo lwaliko abantu nga 20,000, naye abantu abasukka mu kimu kya kubiri ku bo baayimirira. Mu kiseera ekyo Ow’oluganda Rutherford yagamba nti: “Laba! Ekibiina ekinene!” Bonna abaaliwo baasanyuka nnyo. Abo abaayimirira baakitegeera nti baali tebalondeddwa kugenda mu ggulu. Baakimanya nti Katonda yali takozesezza mwoyo gwe kubalonda. Ku lunaku olwaddako, abantu 840 be baabatizibwa era abasinga obungi ku bo baali ba ndiga ndala.
4 Oluvannyuma lw’emboozi eyo, omuvubuka oyo ayogeddwako waggulu n’abalala bangi baalekera awo okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Bangi baawulira ng’ow’oluganda omu eyagamba nti: “Ku Kijjukizo kya 1935 lwe nnasembayo okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Nnali nkitegedde nti Yakuwa yali takozesezza mwoyo gwe kunnonda kugenda mu ggulu, wabula nti essuubi lyange lya kubeera ku nsi emirembe gyonna, nneenyigire mu mulimu gw’okugifuula olusuku lwa Katonda.” (Bar. 8:16, 17; 2 Kol. 1:21, 22) Okuva mu kiseera ekyo, ab’ekibiina ekinene beeyongeredde ddala obungi era bakolera wamu n’ensigalira y’abaafukibwako amafuta.c
5. Yakuwa atwala atya abo abaalekera awo okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
5 Yakuwa atwala atya abo abaalekera awo okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo oluvannyuma lwa 1935? Ate watya singa waliwo omuweereza wa Yakuwa omubatize alya ku mugaati era anywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo naye oluvannyuma n’akiraba nti teyafukibwako mwoyo mutukuvu? (1 Kol. 11:28) Abamu baatandika okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo olw’okuba tebaategeera bulungi ssuubi lyabwe. Naye bwe bakitegeera nti babadde bakikola mu nsobi, ne balekera awo okulya n’okunywa ku bubonero obwo, era ne beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa, awatali kubuusabuusa Yakuwa ababalira mu b’endiga endala. Wadde nga tebalya ku mugaati era nga tebanywa ku nvinnyo, babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kubanga basiima nnyo ekyo Yakuwa ne Yesu kye baabakolera.
ESSUUBI ERY’EKITALO
6. Kiki Yesu kye yalagira bamalayika okukola?
6 Okuva bwe kiri nti ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutuuka, kizzaamu amaanyi okwekenneenya ekintu ekirala Okubikkulirwa essuula 7 ky’eyogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta ne ku b’ekibiina ekinene ab’endiga endala. Mu ssuula eyo, Yesu alagira bamalayika okweyongera okunyweza empewo ennya ez’okuzikiriza. Tebalina kuta mpewo ezo kujja ku nsi okutuusa ng’abaafukibwako amafuta bonna bamaze okuteekebwako akabonero, kwe kugamba, nga bonna Yakuwa akikakasizza nti abasiima. (Kub. 7:1-4) Olw’obwesigwa bwabwe, baganda ba Kristo abo baweebwa empeera ey’okufugira awamu ne Kristo nga bakabaka era bakabona mu ggulu. (Kub. 20:6) Abo bonna ababeera mu ggulu bajja kusanyuka nnyo bwe banaalaba nga bonna 144,000 abaafukibwako amafuta baweereddwa empeera yaabwe mu ggulu.
7. Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 7:9, 10, baani Yokaana b’alaba mu kwolesebwa, era bakola ki? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
7 Oluvannyuma lw’okwogera ku bakabaka abo era bakabona 144,000, Yokaana alaba ekintu ekirala ekyewuunyisa. Alaba “ekibiina ekinene” abawonawo ku lutalo lwa Amagedoni. Okwawukana ku kibinja ekisooka, ekibinja kino kinene nnyo era omuwendo gw’abantu abakirimu tegumanyiddwa. (Soma Okubikkulirwa 7:9, 10.) “Bambadde ebyambalo ebyeru,” ekiraga nti beekuumye nga tebaliiko “mabala” ga nsi ya Sitaani era basigadde nga beesigwa eri Katonda n’eri Kristo. (Yak. 1:27) Boogerera waggulu nti balokoddwa olw’ekyo Yakuwa ne Yesu, Omwana gw’Endiga ogwa Katonda, kye babakoledde. Bakutte amatabi g’enkindu, ekiraga nti basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yalonda Yesu okuba Kabaka.—Geraageranya Yokaana 12:12, 13.
8. Okubikkulirwa 7:11, 12 watubuulira ki ku abo abali mu ggulu?
8 Soma Okubikkulirwa 7:11, 12. Kiki abo abali mu ggulu kye bakola nga balabye ekibiina ekinene? Yokaana alaba abo abali mu ggulu nga basanyufu nnyo era nga batendereza Katonda. Abo bonna abali mu ggulu bajja kusanyuka nnyo bwe banaalaba ng’okwolesebwa kuno kutuukiriziddwa, ab’ekibiina ekinene bwe banaayita mu kibonyoobonyo ekinene.
9. Okusinziira ku Okubikkulirwa 7:13-15, kiki ab’ekibiina ekinene kye bakola kati?
9 Soma Okubikkulirwa 7:13-15. Yokaana yagamba nti ab’ekibiina ekinene “baayoza ebyambalo byabwe mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga ne babitukuza.” Ekyo kiraga nti balina omuntu w’omunda omuyonjo era nti balina ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa. (Is. 1:18) Bakristaayo abeewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa, booleka okukkiriza okw’amaanyi mu ssaddaaka ya Yesu, era balina enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Yok. 3:36; 1 Peet. 3:21) Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa abasiima era basobola ‘okumuweereza emisana n’ekiro’ mu luggya olw’oku nsi olwa yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Banyiikivu nnyo era be bakola ekisinga obunene mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa kubanga Obwakabaka bwa Katonda bwe bakulembeza mu bulamu bwabwe.—Mat. 6:33; 24:14; 28:19, 20.
10. Ab’ekibiina ekinene bakakafu ku ki, era kisuubizo ki kye bajja okulaba nga kituukirizibwa?
10 Ab’ekibiina ekinene abayita mu kibonyoobonyo ekinene bakakafu nti Katonda ajja kweyongera okubalabirira, kubanga ‘Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka ajja kubabikkako weema ye.’ Ekisuubizo kino ab’endiga endala kye bamaze ebbanga nga beesunga okulaba nga kituukirira, kijja kutuukirira mu bujjuvu: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”—Kub. 21:3, 4.
11-12. (a) Nga bwe kiragibwa mu Okubikkulirwa 7:16, 17, mikisa ki ab’ekibiina ekinene gye bajja okufuna? (b) Kiki ab’endiga endala kye basobola okukola ku mukolo gw’Ekijjukizo, era lwaki?
11 Soma Okubikkulirwa 7:16, 17. Mu kiseera kino, abamu ku bantu ba Yakuwa balumwa enjala olw’embeera y’eby’enfuna etali nnungi oba olw’entalo eziri mu nsi. Abalala basibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe. Naye ab’ekibiina ekinene basanyufu nnyo okukimanya nti ensi ya Sitaani bw’eneemala okuzikirizibwa, bajja kubanga n’emmere nnyingi nnyo ey’eby’omubiri n’ey’eby’omwoyo. Ensi ya Sitaani bw’eneeba ezikirizibwa, ab’ekibiina ekinene tebajja kwolekezebwa busungu bwa Yakuwa ‘obwokya’ obujja okwolekezebwa eri amawanga. Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaggwa, Yesu ajja kukulemberamu abo abanaaba bawonyeewo abanaaba ku nsi abatwale eri “amazzi ag’obulamu [obutaggwaawo].” Kirowoozeeko: Ab’ekibiina ekinene balina essuubi ery’enjawulo. Mu buwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaali babadde ku nsi, bo bayinza obutalega ku kufa!—Yok. 11:26.
12 Ab’endiga endala balina essuubi ery’ekitalo era beebaza nnyo Yakuwa ne Yesu olw’essuubi eryo! Wadde nga tebaalondebwa kugenda mu ggulu, nabo ba muwendo nnyo eri Yakuwa ng’abo abaalondebwa okugenda mu ggulu. Bonna abagenda mu ggulu n’abo abagenda okubeera ku nsi basobola okutendereza Katonda ne Kristo. Engeri emu gye bakikolamu kwe kubeerawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo.
TENDEREZA N’OMUTIMA GWO GONNA KU MUKOLO GW’EKIJJUKIZO
13-14. Lwaki buli omu asaanidde okubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo?
13 Ennaku zino, omuntu ng’omu ku buli bantu 1,000 ababeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo y’alya ku mugaati n’anywa ne ku nvinnyo. Ebibiina ebisinga obungi tebibaamu muntu alya oba anywa. Abasinga obungi ku abo ababaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo balina ssuubi lya kubeera ku nsi. Kati olwo lwaki babeerawo ku mukolo ogwo? Ensonga ebaleetera okubeerawo efaananako n’eyo abantu gye baba nayo nga bagenze ku mbaga ya mukwano gwabwe. Ab’emikwano babaawo ku mbaga okukiraga nti baagala nnyo abagole abo era babawagira. Mu ngeri y’emu, ab’endiga endala babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo okukiraga nti baagala nnyo Kristo n’abaafukibwako amafuta era babawagira. Ate era ab’endiga endala babaawo ku mukolo ogwo okukiraga nti basiima nnyo ssaddaaka ya Yesu, ssaddaaka ejja okubasobozesa okubeera ku nsi emirembe gyonna.
14 Ensonga endala enkulu ereetera ab’endiga endala okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo eri nti bagondera ekiragiro kya Yesu. Yesu bwe yali atandikawo omukolo guno, ng’ali wamu n’abatume be abeesigwa, yabagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” (1 Kol. 11:23-26) N’olwekyo ab’endiga endala bajja kweyongera okubangawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ekiseera kyonna abaafukibwako amafuta lwe banaaba nga bakyali ku nsi. Mu butuufu, ab’endiga endala bakubiriza buli omu okubaawo ku mukolo ogwo.
15. Tuyinza tutya okutendereza Katonda ne Kristo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
15 Ku mukolo gw’Ekijjukizo, tuba n’akakisa okutendereza Katonda ne Kristo mu nnyimba ne mu kusaba. Emboozi eneeweebwa omwaka guno ejja kuba n’omutwe ogugamba nti, “Laga Nti Osiima Ekyo Katonda ne Kristo Kye Baakukolera!” Ejja kutuyamba okweyongera okusiima Yakuwa ne Kristo. Omugaati n’envinnyo bwe binaaba biyisibwa, ffenna abanaabaawo tujja kufumiitiriza ku ekyo kye bikiikirira, kwe kugamba, omubiri gwa Kristo n’omusaayi gwe. Kijja kutujjukiza nti Yakuwa yaleka omwana we n’atufiirira tusobole okufuna obulamu. (Mat. 20:28) Buli ayagala Kitaffe ow’omu ggulu n’Omwana we, ajja kubeerawo ku mukolo ogwo.
WEEBAZE KATONDA OLW’ESSUUBI LYE YAKUWA
16. Biki abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bye bafaanaganya?
16 Abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala balina bye bafaanaganya. Bonna Yakuwa abaagala kye kimu. Bonna yabasasulira omuwendo gwe gumu bwe yawaayo omwana we gw’ayagala ennyo okubafiirira. Enjawulo eriwo wakati w’abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala eri nti, balina essuubi lya njawulo. Bonna balina okusigala nga beesigwa eri Katonda ne Kristo. (Zab. 31:23) Ate era Yakuwa awa buli omu omwoyo gwe omutukuvu okusinziira ku bwetaavu obubaawo, k’abe nga yafukibwako amafuta oba nga wa ndiga ndala.
17. Kiki abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo kye beesunga?
17 Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebazaalibwa nga balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Katonda y’aliteeka mu mitima gyabwe. Bafumiitiriza ku ssuubi lyabwe, balyogerako mu kusaba, era beesunga okugenda mu ggulu okufuna empeera yaabwe. Tebamanyidde ddala ngeri emibiri gyabwe egy’omwoyo bwe ginaaba. (Baf. 3:20, 21; 1 Yok. 3:2) Wadde kiri kityo, beesunga nnyo okulaba Yakuwa, Yesu, bamalayika, n’abaafukibwako amafuta abalala. Beesunga okubeera awamu nabo mu Bwakabaka obw’omu ggulu.
18. Kiki ab’endiga endala kye beesunga?
18 Ab’endiga endala balina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna, era nga kino kye kintu abantu bonna kye baagala. (Mub. 3:11) Beesunga nnyo ekiseera lwe bajja okwenyigira mu kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda. Beesunga nnyo ekiseera lwe bajja okuzimba ennyumba zaabwe, okulima ennimiro zaabwe, n’okukuza abaana baabwe nga balamu bulungi. (Is. 65:21-23) Beesunga nnyo okulambula ebintu ebitali bimu ku nsi, gamba ng’ensozi, ebibira, ennyanja, n’okwekenneenya ebitonde bya Yakuwa ebingi ennyo. N’ekisinga obukulu, basanyufu nnyo okukimanya nti enkolagana yaabwe ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera buli lukya.
19. Kakisa ki buli omu ku ffe k’afuna ku mukolo gw’Ekijjukizo, era omwaka guno Ekijjukizo kinaabaawo ddi?
19 Yakuwa awadde buli omu ku baweereza be essuubi ery’ekitalo erikwata ku biseera eby’omu maaso. (Yer. 29:11) Omukolo ogw’Okujjukira okufa kwa Kristo guwa buli omu ku ffe akakisa okutendereza Katonda ne Kristo olw’ekyo kye baatukolera tusobole okuba abalamu emirembe gyonna. Omukolo gw’Ekijjukizo lwe lukuŋŋaana olusingayo obukulu Abakristaayo lwe bafuna. Lujja kubaawo ku Lwomukaaga, Maaki 27, 2021 oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Omwaka guno, bangi bajja kusobola okubaawo ku mukolo guno awatali kukugirwa. Abalala bajja kugukwata wadde nga bayigganyizibwa. Ate abalala bajja kugukwatira mu kkomera. Ka buli kibiina, kibinja, n’abantu kinnoomu, tunyumirwe okukwata omukolo guno omukulu ennyo nga Yakuwa, Yesu, bamalayika, n’abaafukibwako amafuta abali mu ggulu batulaba!
OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule
a Maaki 27, 2021, lujja kuba lunaku lwa njawulo nnyo eri Abajulirwa ba Yakuwa. Ku olwo akawungeezi tujja kujjukira okufa kwa Kristo. Abasinga obungi ku abo abanaabaawo ku mukolo ogwo bajja kuba ba mu kibinja Yesu kye yayita ‘ab’endiga endala.’ Mazima ki agakwata ku kibinja ekyo agaabikkulwa mu 1935? Mikisa ki ab’endiga endala gye bajja okufuna oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene? Ab’endiga endala batendereza batya Katonda ne Kristo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ab’endiga endala be bantu abagoberera Kristo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Abamu ku bo baatandika okusinza Yakuwa mu kiseera eky’ennaku ez’enkomerero. Ekibiina ekinene be b’endiga endala abajja okubeera nga balamu mu kiseera Kristo lw’ajja okulamula abantu mu kibonyoobonyo ekinene, era bajja kuwonawo mu kibonyoobonyo ekyo ekinene.
c EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekigambo “ensigalira” kitegeeza abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo ku nsi, era bano be balya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.