Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Okubikkulirwa—II
KIKI ekirindiridde abantu abasinza Yakuwa Katonda era n’abo abatamusinza? Kiki ekinaatuuka ku Setaani ne dayimooni? Mikisa ki abantu abawulize gye bagenda okufuna mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi? Eby’okuddamu mu bibuuzo bino n’ebirala bisangibwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa 13:1–22:21.a Ku kwolesebwa okw’emirundi 16 omutume Yokaana kwe yafuna ng’ekyasa ekyasooka E.E. kinaatera okuggwako, okw’emirundi omwenda kusangibwa mu ssuula zino.
Yokaana awandiika nti: “Alina omukisa oyo asoma, n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, era n’abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo.” (Kub. 1:3; 22:7) Okusoma n’okukolera ku ebyo bye tuyiga mu kitabo ky’Okubikkulirwa kitukubiriza okuweereza Katonda, kinyweza okukkiriza kwe tulina mu Katonda ne mu Mwana we, Yesu Kristo, era kituwa essuubi ly’okuba n’ebiseera by’omu maaso ebirungi.b—Beb. 4:12.
EBIRI MU BIBYA OMUSANVU EBY’OBUSUNGU BWA KATONDA BIYIIBWA
Okubikkulirwa 11:18 wagamba nti: ‘Amawanga ne gasunguwala, n’obusungu bwa Katonda ne bujja, n’ekiseera ne kituuka eky’okuzikiriza abo aboonoona ensi.’ Nga kulaga ensonga ereetera Katonda okukola ekyo, okwolesebwa okw’omunaana kulaga ebikolwa ‘by’ensolo erina amayembe ekkumi n’emitwe omusanvu.’—Kub. 13:1.
Mu kwolesebwa okw’omwenda, Yokaana alaba “Omwana gw’endiga ng’ayimiridde ku lusozi Sayuuni, era wamu naye akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya,” bano ‘baagulibwa okuva mu nsi.’ (Kub. 14:1, 4) Oluvannyuma alaba bamalayika mukaaga. Mu kwolesebwa okuddako, Yokaana alaba “bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu.” Kirabika Yakuwa yennyini y’alagira bamalayika bano okuyiwa ebiri mu ‘bibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda’ ku bitundu eby’enjawulo eby’enteekateeka ya Setaani. Mu bibya mulimu okulangirira n’okulabula ku misango Katonda gy’agenda okuteeka mu nkola. (Kub. 15:1; 16:1) Okwolesebwa kuno okw’emirundi ebiri kulaga ebisingawo ku misango emirala Obwakabaka gye bunaateka mu nkola, egirina akakwate n’ekibonyoobonyo eky’okusatu era n’okufuuyibwa kw’akagombe ak’omusanvu.—Kub. 11:14, 15, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
13:8—‘Ekitabo ky’obulamu eky’Omwana gw’endiga’ kye kiruwa? Ekitabo kino eky’akabonero kirimu mannya g’abo bokka abafuga ne Yesu Kristo mu Bwakabaka bwe mu ggulu. Mu mannya ago mwe muli n’ag’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi, abajja okuweebwa obulamu mu ggulu.
13:11-13—Mu ngeri ki ensolo ey’amayembe abiri gy’eyogera ng’ogusota n’eragira omuliro okukka okuva mu ggulu? Eky’okuba nti ensolo ey’amayembe abiri—Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza ne Amerika—eyogera ng’ogusota kiraga nti etiisatiisa, enyigiriza era ekozesa eryanyi okuwaliriza abantu okukkiriza obufuzi bwayo. Eragira omuliro okuva mu ggulu mu ngeri nti yeefuula nnabbi ng’egamba nti yamalawo effuga bbi mu ssematalo eyasooka n’ow’okubiri mu kyasa ekya 20, ssaako n’okufufuggaza obufuzi bw’Abakomunisiti.
16:17 (NW)—“Empewo” ekibya eky’omusanvu mwe kiyiibwa y’eruwa? “Empewo” ekiikirira endowooza ya Setaani, “omwoyo ogukolera [endowooza eri] kaakano mu baana ab’obujeemu.” Eyo ye mpewo ey’obutwa abo bonna abali mu nteekateeka ya Setaani gye bassa.—Bef. 2:2, NW.
Bye Tuyigamu:
13:1-4, 18. “Ensolo,” nga zino ze gavumenti z’abantu, eva mu “nnyanja,” ng’eno ye nsi y’abantu abatabangufu. (Is. 17:12, 13; Dan. 7:2-8, 17) Ensolo eno, eteekebwawo Setaani era ekolera ku maanyi ge, erina ennamba 666, nga kino kiraga obutali butuukirivu obusukkiridde. Okutegeera ensolo eyo ky’ekiikirira kituyamba okwewala okugigoberera oba okugisinza ng’abantu abasinga bwe bakola.—Yok. 12:31; 15:19.
13:16, 17 (NW). Wadde nga twolekagana n’ebizibu bingi nga tukola ebintu ebya bulijjo ‘ng’okugula n’okutunda,’ tetulina kuleka nsolo eyo kutuwaliriza kukola by’eyagala. Bwe tukkiriza ‘akabonero k’ensolo eyo ku mikono gyaffe ne ku byenyi byaffe,’ tuba tukkirizza okulowooza n’okukola bw’eyagala.
14:6, 7. Obubaka malayika bw’alangirira butujjukiza nti tusaanidde okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda n’obunyiikivu. Tusaanidde okuyamba abo be tusomesa Baibuli okuyiga okuwa Yakuwa ekitiibwa n’okumugulumiza.
14:14-20. ‘Okukungula eby’ensi’ bwe kunaggwa, nga kuno kwe kukuŋŋaanyizibwa kw’abo abanaalokolebwa, ekiseera kijja kuba kituuse malayika okusuula “omuzabbibu gw’ensi” mu “ssogolero eddene ery’obusungu bwa Katonda.” Omuzabbibu ogwo, ng’eno ye nteekateeka embi ey’obufuzi bwa Setaani awamu ‘n’ebirimba’ byayo eby’ebibala ebibi, gujja kuzikirizibwa emirembe n’emirembe. Tulina okuba abamalirivu obutatwalirizibwa muzabbibu gwa nsi.
16:13-16 (NW). ‘Ebigambo ebyaluŋŋamizibwa ebitali birongoofu’ bye bintu eby’obulimba ebyogerwa dayimooni okumatiza bakabaka b’ensi beeyongere okuwakanya Yakuwa, mu kifo ky’okutya olw’okuyiibwa kw’ebyo ebiri mu bibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda.—Matt. 24:42, 44.
16:21. Ng’okuzikirizibwa kw’ensi eno embi kubindabinda, kiyinzika okuba nti emisango Yakuwa gye yasalira enteekateeka ya Setaani gijja kulangirirwa mu bigambo ebizito ddala, nga kino kikiikirirwa omuzira. Naye era abantu abasinga tebajja kulekayo kuvvoola Katonda.
KABAKA OMUWANGUZI AFUGA
“Babulooni Ekinene,” amadiini gonna ag’obulimba, kitundu kibi nnyo eky’ensi ya Setaani. Kyogerwako mu kwolesebwa okw’omulundi ogw’ekkumi n’ogumu ‘ng’omwenzi omukulu’—omukazi malaya—‘atudde ku nsolo emmyufu.’ Omukazi oyo agenda kuzikirizibwa “amayembe ekkumi” ag’ensolo yennyini kw’atudde. (Kub. 17:1, 3, 5, 16) Mu kwolesebwa okuddako, omwenzi oyo ageraageranyizibwa ku “kibuga ekinene” ekyolekedde okugwa, era abantu ba Katonda bakubirizibwa ‘okukifulumamu.’ Okugwa kw’ekibuga ekyo ekinene kuleetera abantu bangi okukungubaga. Kyokka mu ggulu eriyo okujaguza kubanga embaga ‘y’obugole ey’Omwana gw’Endiga etuuse.’ (Kub. 18:4, 9, 10, 15-19; 19:7) Mu kwolesebwa okw’omulundi ogw’ekkumi n’esatu, omwebagazi ‘w’embalaasi enjeru’ atabaala okulwana n’amawanga era azikiriza ensi ya Setaani yonna.—Kub. 19:11-16.
Ate kiri kitya ku ‘musota ogw’edda, Omulyolyomi era Setaani’? Ddi ‘lw’anaasuulibwa mu nnyanja eyaka n’omuliro n’ekibiriiti’? Kino kye kimu ku byogerwako mu kwolesebwa okw’omulundi ogw’ekkumi n’ena. (Kub. 20:2, 10) Okwolesebwa okw’emirundi ebiri okusembayo kutangaaza ku bulamu nga bwe buliba mu Myaka Olukumi. Nga “okubikkulirwa” kukomekkerezebwa, Yokaana alaba ‘omugga ogw’amazzi ag’obulamu nga gukulukutira wakati w’oluguudo,’ era nga buli “alina ennyonta” ayitibwa okunywa ku mazzi ago.—Kub. 1:1; 22:1, 2, 17.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
17:16; 18:9, 10—Lwaki “bakabaka b’ensi” bakungubagira Babulooni Ekinene ng’ate bo bennyini be bakizikirizza? Kino bakikola lwa kuba bakiraba nti balina kye bafiiriddwa. Oluvannyuma lw’okuzikiriza Babulooni Ekinene, bakabaka b’ensi bakizuula nti kibadde kya muganyulo nnyo gye bali. Bakiraba nti kibadde kibayamba okubikkirira ku bikolwa byabwe ebibi, ne birabika ng’ebiwagirwa Katonda. Babulooni Ekinene era kibadde kibayamba mu kukubiriza abavubuka okwenyigira mu ntalo. Ate era, kibadde kibayamba okukuuma abantu nga bakkakkamu era nga bafugika.
19:12—Kijja kitya okuba nti erinnya lya Yesu lino eritayogerwa tewali mulala yenna alimanyi okuggyako ye? Kirabika erinnya lino likiikirira kifo n’enkizo ebiweebwa Yesu mu lunaku lwa Mukama waffe, gamba ng’ebyo ebyogerwako mu Isaaya 9:6. Tewali mulala amanyi linnya lino ng’oggyeko ye mu ngeri nti enkizo ze za njawulo, era ye yekka y’ategeera lwaki kya muwendo okuba n’ekifo ekya waggulu ennyo bwe kityo. Kyokka, enkizo ezo ezimu Yesu azigabana n’ab’ekiibiina ky’omugole we, mu ngeri eyo n’aba ‘ng’awandiika erinnya lye eriggya ku bo.’—Kub. 3:12.
19:14—Baani abanaaba ku mbalaasi nga bagoberera Yesu ku Kalumagedoni? Mu ‘ggye ery’omu ggulu’ erineegatta ku Yesu mu kulwana olutalo lwa Katonda mujja kubaamu bamalayika awamu n’abaafukibwako amafuta abanaaba bamaze okufuna empeera yaabwe mu ggulu.—Matt. 25:31, 32; Kub. 2:26, 27.
20:11-15—Mannya ga baani agawandiikibwa mu ‘kitabo eky’obulamu’? Kino kye kitabo omuli amannya g’abo bonna abanaafuna obulamu obutaggwawo—Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ab’ekibiina ekinene, n’abaweereza ba Katonda abeesigwa abanaaba mu ‘kuzuukira okw’abatuukirivu.’ (Bik. 24:15; Kub. 2:10; 7:9) Amannya g’abo abanaaba mu ‘kuzuukira okw’abatali batuukirivu’ gajja kuwandiikibwa mu ‘kitabo ky’obulamu’ bwe banaaba bakoledde ku “ebyo ebyawandiikibwa mu kitabo” ekinaabaamu obulagirizi obunaaweebwa mu kiseera eky’Emyaka Olukumi. Naye kino tekitegeeza nti olwo amannya ago gajja kuba tegakyasobola kusangulwa mu kitabo ekyo. Kyokka go amannya g’abaafukibwako amafuta bwe gawandiikibwamu tegasangulwamu, kasita bafa nga beesigwa. (Kub. 3:5) Amannya g’abo abafuna obulamu ku nsi gajja kufuuka ga lubeerera mu kitabo ekyo bwe banaakuuma obwesigwa mu kugezesebwa okunaasembayo ng’emyaka olukumi giweddeko.—Kub. 20:7, 8.
Bye Tuyigamu:
17:3, 5, 7, 16. “Amagezi agava waggulu” gatuyamba mu kutegeera ‘ekyama ekikwata ku mukazi ne ku nsolo emmyufu gy’atuddeko.’ (Yak. 3:17) Ensolo eno ey’akabonero mu kusooka kye kyali Ekinywi ky’Amawanga, oluvannyuma ne kizzibwawo ng’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Okutegeera ekyama ekikwata ku nsolo eyo tekyandituleetedde okuba abanyiikivu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okulangirira olunaku lwa Yakuwa olw’omusango?
21:1-6. Tuli bakakafu nti ebirungi byonna ebyasuubizibwa okubaawo mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda bijja kutuukirira. Lwaki? Kubanga Baibuli bw’eba ebyogerako, egamba nti: “Bituukiridde!”
22:1, 17. “Omugga ogw’amazzi ag’obulamu” gukiikirira enteekateeka za Yakuwa ezinaayamba abantu abawulize okuva mu kibi n’okufa. Agamu ku mazzi ago weegali mu kiseera kino. N’olwekyo, ka tweyunire ‘amazzi ag’obulamu ag’obwerere’ nga bwe tukubirizibwa, era tufube n’okuyita n’abalala!
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku biri mu Okubikkulirwa 1:1–12:17, laba “Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Okubikkulirwa—I” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 15, 2009.
b Okumanya ebiri mu kitabo ky’Okubikkulirwa nga binnyonnyoddwa lunyiriri ku lunyiriri, laba Revelation—Its Grand Climax At Hand!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Abantu abawombeefu nga bajja kufuna emikisa gya kitalo ng’Obwakabaka bufuga!