EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBIKKULIRWA 20-22
“Laba! Ebintu Byonna Mbizza Buggya”
Yakuwa asuubiza okuzza ebintu byonna obuggya.
“Eggulu eriggya”: Gavumenti empya ejja okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda
“Ensi empya”: Abantu abawagira obufuzi bwa Katonda era abagoberera emitindo gye egy’obutuukirivu
‘Ebintu byonna bijja kuzzibwa buggya’: Mu kifo ky’okujjukira obulumi bwe tufuna olw’ebizibu, tujja kuba tujjukiranga ebintu ebijja okutuleetera essanyu