Nyweza Okukkiriza kw’Olina mu Bisuubizo bya Katonda
“Okukkiriza bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira.”—BEB. 11:1.
1, 2. (a) Ebintu Abakristaayo bye basuubira byawukana bitya ku ebyo abantu mu nsi ya Sitaani bye basuubira? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
FFENNA Abakristaayo ab’amazima tulina ebintu bye tusuubira! Ka tube nga twafukibwako amafuta oba nga tuli ba ‘ndiga ndala,’ twesunga okulaba okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda n’okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa. (Yok. 10:16; Mat. 6:9, 10) Era twesunga okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi. (2 Peet. 3:13) Ate era twesunga okulaba engeri Yakuwa gy’ajja okweyongera okuwa abantu be obulagirizi n’okubayamba mu nnaku zino ez’enkomerero.
2 Abantu mu nsi ya Sitaani nabo balina ebintu bye basuubira, naye tebasobola kuba bakakafu nti bijja kutuukirira. Ng’ekyokulabirako, abakubi ba zzaala bangi baba basuubira okuwangula akalulu, naye tebaba bakakafu nti bajja kukawangula. Kyokka Bayibuli eraga nti okukkiriza okwa nnamaddala Abakristaayo kwe balina “bwe butaba na kubuusabuusa kwonna” nti bye basuubira bijja kutuukirira. (Beb. 11:1) Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tuyinza okukola okunyweza okukkiriza kwe tulina mu bisuubiza bya Katonda. Ate era tugenda kulaba engeri okuba n’okukkiriza okunywevu gye kituganyulamu.
3. Okukkiriza Abakristaayo kwe balina kwesigamye ku ki?
3 Abantu abatatuukiridde tebazaalibwa nga balina okukkiriza; ate era okukkiriza tekujja kwokka. Okusobola okuba n’okukkiriza tulina okukulemberwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Bag. 5:22) Bayibuli tegamba nti Yakuwa alina okukkiriza oba nti yeetaaga okuba n’okukkiriza. Olw’okuba Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna era nga y’asingayo okuba ow’amagezi, tewali kisobola kumulemesa kutuukiriza kiruubirirwa kye. Yakuwa mukakafu ddala nti ebyo bye yasuubiza bijja kutuukirira era abiraba ng’ebyamala edda okutuukirira. Eyo ye nsonga lwaki bw’aba abyogerako agamba nti: “Bituukiridde!” (Soma Okubikkulirwa 21:3-6.) Okukkiriza Abakristaayo kwe balina kwesigamye ku kuba nti Yakuwa ye “Katonda omwesigwa,” atuukiriza byonna by’aba asuubizza.—Ma. 7:9.
ABAWEEREZA BA KATONDA AB’EDDA ABAALINA OKUKKIRIZA OKW’AMAANYI
4. Ssuubi ki abaweereza ba Katonda abaaliwo ng’ekibiina Ekikristaayo tekinnatandikibwawo lye baalina?
4 Abebbulaniya essuula 11 erimu amannya g’abasajja n’abakazi 16 abaalina okukkiriza okw’amaanyi. Essuula eyo era eyogera ne ku bantu abalala bangi abaasanyusa Yakuwa “olw’okukkiriza kwabwe.” (Beb. 11:39) Abaweereza ba Katonda abo bonna baali balindirira “ezzadde” Katonda lye yali asuubizza. Baali bakimanyi nti ezzadde eryo lyandizikirizza abalabe ba Katonda bonna era Katonda n’alikozesa okufuula ensi olusuku lwe. (Lub. 3:15) Abaweereza ba Katonda abo abaalina okukkiriza okw’amaanyi, baafa nga Yesu Kristo, “ezzadde” eryasuubizibwa, tannaggulawo kkubo ery’abantu abamu okufunira obulamu obutaggwaawo mu ggulu. (Bag. 3:16) Naye, nga Yakuwa bwe yasuubiza, bajja kuzuukizibwa bafune obulamu obutaggwaawo ku nsi.—Zab. 37:11; Is. 26:19; Kos. 13:14.
5, 6. Kiki Ibulayimu n’ab’omu maka ge kye baali beesunga, era kiki ekyabayamba okusigala nga balina okukkiriza okw’amaanyi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.)
5 Nga woogera ku baweereza ba Katonda ab’edda, Abebbulaniya 11:13 wagamba nti: “Bano bonna baafa nga balina okukkiriza wadde ng’ebintu ebyasuubizibwa tebyatuukirira mu kiseera kyabwe, naye baabirengerera wala ne babisanyukira.” Omu ku baweereza ba Katonda abo yali Ibulayimu. Yesu yagamba nti: “Ibulayimu kitammwe yasanyuka nnyo olw’essuubi ery’okulaba olunaku lwange era yalulaba n’asanyuka.” (Yok. 8:56) Saala, Isaaka, Yakobo, n’abalala bangi nabo baali beesunga ekiseera Obwakabaka bwa Katonda lwe bwandibadde nga bufuga ensi yonna.—Beb. 11:8-11.
6 Kiki ekyayamba Ibulayimu n’ab’omu maka ge okusigala nga balina okukkiriza okw’amaanyi? Bayinza okuba nga baayiga ebikwata ku Katonda okuyitira mu bantu abakulu abaali abeesigwa eri Katonda, mu bamalayika, mu birooto, mu kwolesebwa, oba okuyitira mu biwandiiko eby’edda ebyesigika. Ibulayimu n’ab’omu maka ge tebeerabira bisuubizo bya Katonda era baabifumiitirizangako nnyo. Olw’okuba baali bakakafu nti ebintu byonna Yakuwa bye yali asuubizza byali bijja kutuukirira, baali beetegefu okusigala nga beesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo.
7. Biki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, era ebintu ebyo tusaanidde kubitwala tutya?
7 Okusobola okutuyamba okusigala nga tulina okukkiriza okunywevu, Yakuwa atuwadde Ekigambo kye Bayibuli. Bwe tuba ab’okuba abasanyufu n’okutuuka ku buwanguzi mu bulamu, tulina okufuba okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. (Zab. 1:1-3; soma Ebikolwa 17:11.) Ate era okufaananako abaweereza ba Yakuwa ab’edda, tulina okufumiitirizanga ku bisuubizo bya Yakuwa n’okukola by’ayagala. Okugatta ku ekyo, Yakuwa atuwadde emmere nnyingi ey’eby’omwoyo okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Ebintu Yakuwa by’atuyigiriza bwe tubitwala nga bya muwendo, tujja kuba ng’abaweereza be ab’edda abaalina okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bye.
8. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?
8 Ekintu ekirala ekyayamba abaweereza ba Katonda ab’edda okusigala nga balina okukkiriza okunywevu, kwe kusaba. Okukkiriza kwabwe kweyongera okunywera bwe baalaba engeri Katonda gye yaddangamu essaala zaabwe. (Nek. 1:4, 11; Zab. 34:4, 15, 17; Dan. 9:19-21) Mu ngeri y’emu, naffe bwe tusaba Yakuwa era ne tulaba engeri gy’addamu okusaba kwaffe, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. (Soma 1 Yokaana 5:14, 15.) Okuva bwe kiri nti okukkiriza y’emu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu nga Yesu bwe yatugamba okukola.—Luk. 11:9, 13.
9. Ebimu ku bintu bye tuyinza okussa mu ssaala zaffe bye biruwa?
9 Kyokka bwe tuba tusaba Yakuwa, tetusaanidde kumusaba ebyo byokka ffe bye twagala. Buli lunaku tusaanidde okwebaza Yakuwa n’okumutendereza ‘olw’ebikolwa bye ebingi eby’ekitalo’! (Zab. 40:5) Tusaanidde n’okusabira baganda baffe mu nsi yonna, gamba ng’abo “abaasibibwa mu kkomera.” Ate era tusaanidde n’okusabira abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’addamu essaala zaffe, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera era kituleetera okweyongera okusemberera Yakuwa!—Beb. 13:3, 7.
TEBEKKIRIRANYA
10. Abamu ku baweereza ba Katonda abaagaana okwekkiriranya be baluwa, era kiki ekyabayamba obutekkiriranya?
10 Mu Abebbulaniya essuula 11, omutume Pawulo yayogera ku kugezesebwa okutali kumu abaweereza ba Katonda ab’edda kwe baayolekagana nakwo. Ng’ekyokulabirako, omutume yayogera ku bakazi abaalina okukkiriza abaafiirwa abaana baabwe, oluvannyuma ne babafuna okuyitira mu kuzuukira. Era yayogera ku abo abaali ‘batayinza kukkiriza kununulibwa, balyoke bafune okuzuukira okusinga obulungi.’ (Beb. 11:35) Wadde nga tetuyinza kumanyira ddala bantu Pawulo be yali ayogerako, abaweereza ba Katonda abamu gamba nga Nabbosi ne Zekkaliya baakubibwa amayinja ne battibwa olw’okugondera Yakuwa. (1 Bassek. 21:3, 15; 2 Byom. 24:20, 21) Danyeri ne banne baali basobola okwewala okutuusibwako akabi singa bekkiriranya. Naye olw’okuba baalina okukkiriza okw’amaanyi, baasobola ‘okuziba obumwa bw’empologoma n’okuzikiza amaanyi g’omuliro.’—Beb. 11:33, 34; Dan. 3:16-18, 20, 28; 6:13, 16, 21-23.
11. Kugezesebwa ki abamu ku bannabbi kwe baagumira olw’okukkiriza kwe baalina?
11 Olw’okuba baalina okukkiriza okw’amaanyi, bannabbi gamba nga Mikaaya ne Yeremiya “baagezesebwa nga basekererwa . . . era nga bateekebwa mu kkomera.” Ate abalala, gamba nga Eriya, “baatambulatambulanga mu ddungu ne mu nsozi, era baabeeranga mu mpuku ne mu binnya.” Bonna baagumiikiriza kubanga baalina okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Katonda.—Beb. 11:1, 36-38; 1 Bassek. 18:13; 22:24-27; Yer. 20:1, 2; 28:10, 11; 32:2.
12. Ani yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kugumira okugezesebwa, era kiki ekyamuyamba obutekkiriranya?
12 Oluvannyuma lw’okwogera ku basajja n’abakazi abatali bamu abaalina okukkiriza, Pawulo yayogera ku oyo eyasingayo okwoleka okukkiriza, ng’ono ye Mukama waffe Yesu Kristo. Abebbulaniya 12:2 wagamba nti: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, yagumira omuti ogw’okubonaabona, okuswala n’atakutwala ng’ekikulu, era n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.” Mu butuufu, tusaanidde ‘okulowooza ennyo’ ku kyokulabirako Yesu kye yateekawo nga twolekagana n’embeera enzibu. (Soma Abebbulaniya 12:3.) Okufaananako Yesu, Abakristaayo abattibwa mu kyasa ekyasooka, gamba nga Antipasi, baagaana okwekkiriranya. (Kub. 2:13) Abakristaayo abo, obutafaananako baweereza ba Katonda ab’edda ennyo abaalina essuubi ery’okubeera ku nsi, bo baamala dda okuzuukizibwa ne bafuna empeera yaabwe mu ggulu. (Beb. 11:35) Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’omwaka gwa 1914, Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta abaali baafa, baazuukizibwa ng’ebitonde eby’omwoyo ne bagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu.—Kub. 20:4.
ABAWEEREZA BA KATONDA ABOOLESE OKUKKIRIZA MU KISEERA KYAFFE
13, 14. Kugezesebwa ki Rudolf Graichen kwe yafuna, era kiki ekyamuyamba okukugumira?
13 Abaweereza ba Katonda bangi leero bakoppye Yesu. Bakuumira ebirowoozo byabwe ku bisuubizo bya Katonda era ne basigala nga beesigwa gy’ali mu mbeera enzibu. Lowooza ku Rudolf Graichen, eyazaalibwa mu Bugirimaani mu 1925. Bwe yali akyali muto, bazadde be baatimba ebifaananyi mu nnyumba yaabwe ebyali biraga ebintu ebyogerwako mu Bayibuli. Yagamba nti: “Ekimu ku bifaananyi ebyo kyali kiraga omusege nga guli wamu n’omwana gw’endiga, omwana ng’ali wamu n’engo, era n’ennyana ng’eri wamu n’empologoma, kyokka nga byonna biri mu mirembe. . . . Ebifaananyi ebyo byankwatako nnyo.” (Is. 11:6-9) Ebifaananyi ebyo byanyweza nnyo okukkiriza Rudolf kwe yalina mu kisuubizo kya Katonda eky’okufuula ensi olusuku lwe. N’ekyavaamu Rudolf yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa wadde nga yayigganyizibwa nnyo mu kiseera ky’Abanazi.
14 Rudolf yafuna n’okugezesebwa okulala. Maama we yalwala n’afiira mu nkambi y’abasibe ey’omu Ravensbrück. Ate ye taata we okukkiriza kwe kwanafuwa n’atuuka n’okuteeka omukono ku kiwandiiko ekiraga nti yali takyali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’okuteebwa okuva mu kkomera, Rudolf yaweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina era oluvannyuma n’ayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Oluvannyuma yasindikibwa okuweerereza mu Chile era ng’ali eyo yaweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Kyokka Rudolf yeeyongera okufuna ebizibu ebirala. Nga wayise omwaka nga gumu oluvannyuma lw’okuwasa Patsy, naye eyali aweereza ng’omuminsani, muwala waabwe yafa. Oluvannyuma mukyala we naye yafa, nga wa myaka 43 gyokka. Rudolf yagumira ebizibu ebyo byonna. Ne bwe yali ng’akaddiye era ng’alwalalwala, Rudolf yeeyongera okuweereza nga payoniya owa bulijjo era ng’omukadde mu kibiina. Osobola okusoma ebimukwatako mu Watchtower eya Agusito 1, 1997, olupapula 20-25.[1]
15. Abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa abasigadde nga beesigwa nga bayigganyizibwa be baluwa?
15 Abajulirwa ba Yakuwa bangi beeyongedde okuweereza Yakuwa n’essanyu wadde nga bayigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, baganda baffe ne bannyinaffe bangi mu Eritrea, Singapore, ne South Korea, basibiddwa mu makomera, okusingira ddala, olw’okuba bagondedde Yesu ne bagaana okukwata ekitala. (Mat. 26:52) Ng’ekyokulabirako, Isaac, Negede, ne Paulos, bamaze emyaka egisukka mu 20 mu kkomera! Wadde ng’eddembe lyabwe ery’okulabirira bazadde baabwe abakaddiye n’ery’okuwasa lirinnyiriddwa, baganda baffe abo basigadde beesigwa. Akamwenyumwenyu ke balina ku maaso, ng’ebifaananyi byabwe ebiri ku mukutu gwaffe ogwa jw.org bwe biraga, kalaga nti baganda baffe abo bakuumye okukkiriza kwabwe nga kunywevu. N’abasirikale b’ekkomera bassa ekitiibwa mu baganda baffe abo.
16. Okukkiriza okw’amaanyi kuyinza kukukuuma kutya?
16 Abaweereza ba Yakuwa abasinga obungi tebafunangako kugezesebwa ng’okwo baganda baffe abo kwe bafunye. Kyokka waliwo ebintu ebirala ebigezesa okukkiriza kwabwe. Bangi ku baweereza ba Yakuwa baavu, bali mu bitundu omuli entalo, oba bali mu bitundu ebikoseddwa obutyabaga. Ate era okufaananako Musa n’abaweereza ba Yakuwa abalala ab’edda, abaweereza ba Yakuwa bangi leero beerekerezza ettutumu n’obulamu obulabika ng’obulungi mu nsi eno. Bafubye okwewala okutwalirizibwa omwoyo ogw’okwagala ebintu n’ogw’okwerowoozaako bokka. Kiki ekibasobozesezza okusigala nga beesigwa eri Yakuwa? Baagala nnyo Yakuwa era bakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye, amalewo obutali bwenkanya era awe abaweereza be abeesigwa obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.—Soma Zabbuli 37:5, 7, 9, 29.
17. Kiki ky’omaliridde okukola, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
17 Mu kitundu kino, tulabye nti okukkiriza “bwe butaba na kubuusabuusa kwonna nti ky’osuubira kijja kutuukirira.” Okusobola okuba n’okukkiriza ng’okwo, tulina okusaba Yakuwa n’okufumiitiriza ku bisuubizo bye. Ekyo kijja kutuyamba okugumira okugezesebwa. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ekintu ekirala ekizingirwa mu kuba n’okukkiriza.
^ [1] (akatundu 14) Soma ebikwata ku Andrej Hanák ow’omu Slovakia mu Awake! eya Apuli 22, 2002, olupapula 19-24.