Okunoonya Ekigendererwa Ekituufu mu Bulamu
“Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama.”—ZABBULI 150:6.
1. Nnyonnyola engeri omusajja omu gye yafubamu okufuna ekigendererwa ekya nnamaddala mu bulamu.
SEUNG JIN eyakulira mu Korea agamba nti: “Nnasoma obusawo kubanga nnali njagala okukozesa obulamu bwange okuyamba abantu.a Ate era nnali mmanyi nti bwe nnaafuuka omusawo nja kufuna ekitiibwa ne ssente kinviiremu okufuna essanyu. Kyammalamu amaanyi bwe nnakizuula nti omusawo alina kitono nnyo ky’asobola okukola okumalawo ebizibu by’abantu. Nnasalawo okutandika okuyiga okusiiga ebifaananyi, naye kino kyandeetera okuwulira nti nneerowoozaako nzekka kubanga ebifaananyi byange byali tebiyamba nnyo balala. Bwe nnafuuka omusomesa nnakizuula nti bye nnali nsomesa byali tebiyamba muntu kufuna ssanyu lya nnamaddala.” Okufaananako abantu bangi, Seung Jin yali anoonya ekigendererwa ekya nnamaddala mu bulamu.
2. (a) Okuba n’ekigendererwa mu bulamu kitegeeza ki? (b) Tumanyira ku ki nti Omutonzi yalina ekigendererwa okututeeka ku nsi?
2 Okusobola okuba n’ekigendererwa ekituufu mu bulamu olina okuba ngomanyi ensonga lwaki weetuli era ng’olina ekiruubirirwa. Ddala abantu basobola okuba n’ekigendererwa ng’ekyo? Yee! Okuba nti tulina amagezi era tusobola okwawulawo ekirungi n’ekibi kiraga nti Omutonzi yalina ekigendererwa okututeeka ku nsi. Kino kitegeeza nti okusobola okutuuka ku kigendererwa ekya nnamaddala tulina okutuukanya bye tukola mu bulamu n’ekigendererwa ky’Omutonzi.
3. Ekigendererwa kya Katonda eri abantu kitwaliramu ki?
3 Baibuli eraga nti ekigendererwa kya Katonda kitwaliramu ebintu bingi. Ng’ekyokulabirako, engeri ey’ekitalo gye twakolebwamu ekyoleka bulungi nti Katonda alina okwagala okw’ensusso. (Zabbuli 40:5; 139:14) N’olwekyo, okutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa kya Katonda kitegeeza nti tulina okwagala abalala nga Katonda bw’abaagala. (1 Yokaana 4:7-11) Era kitegeeza nti tulina okugondera ebiragiro bye ebituyamba okutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa kye ekyoleka okwagala.—Omubuulizi 12:13; 1 Yokaana 5:3.
4. (a) Kyetaagisa ki okusobola okuba n’ekigendererwa ekya nnamaddala mu bulamu? (b) Ekigendererwa ekisingayo obukulu omuntu ky’asobola okuba nakyo kye kiruwa?
4 Era kyali kigendererwa kya Katonda abantu okubeera n’ebitonde ebirala byonna mu ssanyu era mu mirembe. (Olubereberye 1:26; 2:15) Naye, tulina kukola ki okusobola okuba n’emirembe, nga tuli basanyufu, era nga tulina obukuumi? Ng’omwana bw’alina okuba okumpi ne bazadde be okusobola okuwulira essanyu n’obukuumi, naffe twetaaga okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu okusobola okuba n’obulamu obw’amakulu era obulina ekigendererwa. (Abaebbulaniya 12:9) Katonda atusobozesa okufuna enkolagana ng’eyo naye ng’atukkiriza okumusemberera era ng’awulira okusaba kwaffe. (Yakobo 4:8; 1 Yokaana 5:14, 15) Singa ‘tutambula ne Katonda’ mu kukkiriza era ne tufuuka mikwano gye, tusobola okusanyusa n’okutendereza Kitaffe oyo ow’omu ggulu. (Olubereberye 6:9; Engero 23:15, 16; Yakobo 2:23) Ekyo kye kigendererwa ekisingayo obukulu omuntu yenna ky’asobola okuba nakyo. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama.”—Zabbuli 150:6.
Ekigendererwa Kyo mu Bulamu Kye Kiruwa?
5. Lwaki si kya magezi kwemalira mu kunoonya bya bugagga?
5 Ekimu ku ebyo Katonda by’atwetaagisa kwe kwerabirira obulungi n’okulabirira ab’omu maka gaffe. Kino kizingiramu okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri n’eby’omwoyo. Wabula tulina okwegendereza okulaba nti bwe tuba tukola ku byetaago by’omubiri tetugayaalirira kukola ku bya mwoyo kubanga bye bisinga obukulu. (Matayo 4:4; 6:33) Eky’ennaku kiri nti abasinga obungi beemalira mu kunoonya bya bugagga. Bwe tulowooza nti okufuna eby’obugagga kijja kutumalira ebyetaago byaffe byonna, tuba twerimba. Okunoonyereza okwakolebwa ku bannagagga b’omu Asiya gye buvuddeko kulaga nti bangi ku bo “balina ebibeeraliikiriza bingi, wadde nga eky’okuba abagagga kibaweesa ekitiibwa era nga bawulira nti balina eky’amaanyi kye bakoze mu bulamu.”—Omubuulizi 5:11.
6. Yesu yayogera ki ku bikwata ku kwenoonyeza eby’obugagga?
6 Yesu yayogera ku ‘bulimba bw’obugagga.’ (Makko 4:19) Eby’obugagga birimba bitya omuntu? Bimulimba mu ngeri nti birabika ng’ebisobola okumuwa essanyu so ng’ate si bwe kiri. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kuzikkuta.” (Omubuulizi 5:10, The New English Bible) Naye omuntu asobola okuluubirira eby’obugagga n’aba ng’akyaweereza Katonda n’omutima gwe gwonna? Tasobola n’akatono. Yesu yagamba: “Tewali muntu ayinza kuweereza baami babiri: kuba oba anaakyawanga omu, n’ayagalanga omulala; oba anaanywereranga ku omu, n’anyoomanga omulala. Temuyinza kuweereza Katonda ne mamona.” Yesu yakubiriza abagoberezi be okweterekera, si bya bugagga eby’oku nsi wabula “eby’obugagga mu ggulu,” kwe kugamba, okukola erinnya eddungi eri Katonda, oyo “amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.”—Matayo 6:8, 19-25.
7. Tuyinza tutya okunyweza obulamu “obwa nnamaddala”?
7 Omutume Pawulo yalabula n’amaanyi ku nsonga eno ng’awandiikira muweereza munne Timoseewo. Yagamba Timoseewo nti: ‘Kuutiranga abagagga obuteesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga, okubeeranga abagabi, abassa kimu; nga beeterekera eky’okuyimako ekirungi olw’ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu obwa nnamaddala.’—1 Timoseewo 6:17-19.
“Obulamu Obwa Nnamaddala” bwe Buluwa?
8. (a) Lwaki abantu bangi bakolerera eby’obugagga n’okuba aba waggulu? (b) Kiki abantu ng’abo kye balemererwa okulaba?
8 Abantu abasinga balowooza nti “obulamu obwa nnamaddala” bwebwo obujjudde amasanyu n’okwejalabya. Magazini emu ey’omu Asiya egamba nti: “Abo abalaba firimu oba ttivi batandika okwegomba ebintu bye balaba, n’okumalira ebirowoozo ku ebyo bye bandyagadde okufuna.” Okufuna eby’obugagga n’okuba owa waggulu, abantu bangi kye batwala ng’ekigendererwa mu bulamu. Bangi boonoona ebiseera by’omu buvubuka, baateeka obulamu mu kabi, balekerera amaka, era bagayaalirira eby’omwoyo nga bakolerera ebintu nga bino. Batono abakiraba nti ebyo ebifulumira ku mikutu gy’eby’empuliziganya ddala byoleka bwolesi “mwoyo gwa nsi” eno—endowooza ereetedde abasinga obungi okukola ebintu ebikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. (1 Abakkolinso 2:12; Abaefeso 2:2) Tekyewuunyisa nti abantu bangi nnyo leero si basanyufu!—Engero 18:11; 23:4, 5.
9. Kiki abantu kye batasobola kukola, era lwaki?
9 Ate kiri kitya eri abakola obutaweera ku lw’obulungi bw’abalala, nga bafuba okumalawo enjala, obulwadde, n’obutali bwenkanya? Okufuba kwabwe n’okwefiiriza biganyula bangi. Naye ne bwe bafuba batya, tebasobola kukyusa mulembe guno kugufuula mulungi. Lwaki? Kubanga “ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi”—Setaani—era tayagala ekyukeko.—1 Yokaana 5:19, NW.
10. Abantu abeesigwa balinyumirwa ddi “obulamu obwa nnamaddala”?
10 Nga kiba kya nnaku omuntu okuba nti talina ssuubi lya kuba mulamu ng’omulembe gukomye! Pawulo yawandiika nti: “Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.” Ka “tulye tunywe, kubanga tufa enkya,” ye ndowooza y’abo abagamba nti teriiyo bulamu bulala okuggyako buno. (1 Abakkolinso 15:19, 32) Naye “nga [Katonda] bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:13) Mu kiseera ekyo, Abakristaayo bajja kunyumirwa “obulamu obwa nnamaddala,” kwe kugamba, “obulamu obutaggwaawo” mu mbeera ezituukiridde, mu ggulu oba ku nsi, wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda!—1 Timoseewo 6:12.
11. Lwaki okwenyigira mu mulimu gy’Obwakabaka kifuula obulamu obw’amakulu?
11 Obwakabaka bwa Katonda bwokka bwe obujja okugonjoola ebizibu by’abantu. N’olwekyo, okwenyigira mu mulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda kye kintu ekisinga okufuula obulamu obw’amakulu buli omu kye yandikoze. (Yokaana 4:34) Bwe twenyigira mu mulimu ogwo, tuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu. Era kituwa essanyu lingi okukolera awamu ne Bakristaayo bannaffe okwetooloola ensi.
Okwefiiriza Okutuufu
12.Njawulo ki eri wakati w’obulamu mu nsi eno ‘n’obulamu obwa nnamaddala.’
12 Baibuli egamba nti ensi eno “eggwaawo n’okwegomba kwayo.” Ensi ya Setaani yonna, nga mw’otwalidde ettutumu lyayo n’eby’obugagga, ejja kuzikirizibwa, “naye akola Katonda by’ayagala abeera emirembe gyonna.” (1 Yokaana 2:15-17) Obutafaananako bya bugagga bya nsi eno ebiggwawo, ebitiibwa byayo eby’ekiseera obuseera, n’amasanyu gaayo omutali kantu, “obulamu obwa nnamaddala”—obulamu obutaggwawo wansi w’Obwakabaka bwa Katonda—bujja kuba bwa lubeerera era kiba kya magezi okwefiiriza kyonna ekisoboka okubufuna, kasita tuba nga twefiirizza mu ngeri entuufu.
13. Omwami omu ne mukyala we beefiiriza batya mu ngeri entuufu?
13 Lowooza ku kyokulabirako kya Henry ne Suzanne. Bakkiririza mu kisuubizo kya Katonda nti bonna abakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe bajja kufuna obuyambi Bwe. (Matayo 6:33) N’olwekyo, baasalawo okubeera mu nnyumba ey’essente entono ng’omu tekimwetaagisa kukola, ne kiba nti bo ne bawala baabwe ababiri baasobola okufuna ebiseera ebisingako okwenyigira mu kubuulira ne mu mirimu emirala egy’Obwakabaka. (Abaebbulaniya 13:15, 16) Mukwano gwabwe omu yalemwa okutegeera lwaki baasalawo bwe batyo. Yagamba Suzanne nti: “Suzanne nkubuulire, bw’oba oyagala okubeera mu nnyumba ennungi okusinga eno, olina okubaako kye weefiiriza.” Kyokka Henry ne Suzanne baali bakimanyi nti okukulembeza Yakuwa by’ayagala “kulina okusuubiza kw’obulamu obwa kaakano [n’obwo obugenda] okujja.” (1 Timoseewo 4:8; Tito 2:12) Bawala baabwe baakula ne bafuuka ababuulizi ab’ekiseera kyonna abanyiikivu. Bonna ng’amaka, bawulira nti tewali kintu kyonna kya mugaso kye baafiirwa; mu kifo ky’ekyo, baaganyulwa nnyo kubanga okukolerera “obulamu obwa nnamaddala” kye baafuula ekigendererwa kyabwe mu bulamu.—Abafiripi 3:8; 1 Timoseewo 6:6-8.
‘Temukozesa Nsi mu Bujjuvu’
14. Kiki ekiyinza okutuviiramu singa twerabira obukulu bw’ekigendererwa ekituufu mu bulamu?
14 Kyokka, kiba kya kabi singa twerabira obukulu bw’ekigendererwa ekituufu mu bulamu ne tulemererwa okunyweza “obulamu obwa nnamaddala.” Tusobola okuwugulibwa ‘okweraliikirira, eby’obugagga, n’amasanyu ag’obulamu buno.’ (Lukka 8:14) Okwagala ennyo ebintu ‘n’okweraliikirira eby’obulamu’ ekiyitiridde biyinza okuleetera omuntu okwemalira ennyo mu bulamu bw’ensi eno. (Lukka 21:34) Eky’ennaku kiri nti abamu beemalidde mu kunoonya eby’obugagga ne kibaviiramu ‘okukyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi,’ ne batuuka n’okufiirwa enkolagana yaabwe ennungi ne Yakuwa. Ng’okulemererwa ‘okunyweza obulamu obutaggwawo’ kuba kufiirwa kwa maanyi nnyo!—1 Timoseewo 6:9, 10, 12; Engero 28:20.
15. Ab’omu maka agamu baaganyulwa batya ‘olw’obutakozesa nsi mu bujjuvu’?
15 Pawulo yakubiriza ‘abo abakozesa ensi baleme kugikozesa mu bujjuvu.’ (1 Abakkolinso 7:31) Keith ne Bonnie baasalawo okukolera ku magezi ago. Keith agamba nti: “Nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa nga nnaatera okumaliriza emisomo gyange ng’omusawo wa mannyo. Nnalina okusalawo. Nnali nsobola okusalawo okujjanjaba abantu abangi ne nkola ssente nnyingi, naye ekyo kyali kijja kuyingirira ebiseera byaffe eby’okuweereza Katonda. Nnasalawo okukolanga ku balwadde abatonotono nsobole okuba n’ebiseera ebisingawo okukola ku bintu eby’omwoyo n’okubeerako ne mukyala wange ne bawala baffe oluvannyuma abaawerera ddala bataano. Olw’okuba tetwalina ssente nnyingi, twayiga okukekkereza era nga tusobola okwetuusaako bye twetaaga. Ffenna mu maka twali tukolagana bulungi, era nga tuli basanyufu. Oluvannyuma ffenna twayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Bawala baffe bonna baafumbirwa, basanyufu era kati basatu ku bo balina abaana. Amaka gaabwe nago masanyufu, olw’okuba bagenze mu maaso n’okussa ebigendererwa bya Yakuwa mu kifo ekisooka.”
Okukulembeza Ekigendererwa kya Katonda
16, 17. Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli eby’abantu abaalina ebitone n’obumanyirivu, era tubajjukirako ki?
16 Baibuli erimu ebyokulabirako eby’abo abaakulembeza ekigendererwa kya Katonda mu bulamu bwabwe n’abo abataakikola. Eby’okuyiga ebiri mu byokulabirako ng’ebyo biyamba abantu aba buli ngeri ka babe bato oba bakulu. (Abaruumi 15:4; 1 Abakkolinso 10:6, 11) Nimuloodi yazimba ebibuga ebinene, naye kino yakikola ng’awakanya Yakuwa. (Olubereberye 10:8, 9) Naye, waliwo ebyokulabirako eby’abantu abaali abalungi. Gamba nga Musa, eky’okuba omukungu mu Misiri teyakitwala ng’ekintu ekikulu mu bulamu bwe. Mu kifo ky’ekyo, yatwala enkizo eyamuweebwa okuba “obugagga okusinga ebintu by’e Misiri.” (Abaebbulaniya 11:26) Omusawo Lukka kirabika yajjanjabanga Pawulo n’abalala nga balwadde. Naye ekisinga obukulu kwe kuba nti yali mubuulizi era y’omu ku bawandiisi ba Baibuli. Era ne Pawulo tamanyiddwa nga kakensa mu by’Amateeka, wabula ng’omuminsane, ‘omutume w’ab’amawanga.’—Abaruumi 11:13.
17 Dawudi okusinga amanyiddwa ‘ng’omusajja omutima gwa Katonda gwe gwasiima,’ so si ng’omuduumizi w’amagye oba omuyimbi. (1 Samwiri 13:14, NW) Danyeri tumumanyi nga nnabbi wa Yakuwa omwesigwa, so si ng’omukungu mu lubiri lw’e Babulooni; Eseza, tetumumanyi nga kaddulubaale wa Buperusi, wabula ng’omuntu eyateekawo ekyokulabirako eky’obuvumu n’okukkiriza; Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana tetubamanyi ng’abavubi abaalina obumanyirivu, wabula ng’abatume ba Yesu. N’ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi kye kya Yesu, amanyiddwa nga “Kristo,” so si ‘ng’omubazzi.’ (Makko 6:3; Matayo 16:16) Bano bonna baali bakimanyi nti okuweereza Katonda kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwabwe so si bitone, eby’obugagga oba ebifo bye baalina. Baakitegeera nti ekintu ekisingayo okuba ekirungi era eky’omuganyulo mu bulamu kwe kutya Katonda.
18. Omuvubuka omu Omukristaayo yasalawo atya okukozesa obulamu bwe, era oluvannyuma kiki kye yategeera?
18 Seung Jin, eyayogeddwako ku ntandikwa, kino naye yamala n’akitegeera. Agamba nti: “Mu kifo ky’okumalira ebiseera byange mu kujjanjaba, okusiiga ebifaananyi, oba okusomesa, nnasalawo okutuukanya obulamu bwange n’okwewaayo kwange eri Katonda. Kati mpeereza mu kitundu obwetaavu bw’abasomesa ba Baibuli gye busingako, nga nnyamba abantu okulaba ekkubo eribatuusa mu bulamu obutaggwawo. Nnali ndowooza nti okuba omuweereza ow’ekiseera kyonna kiba kyangu nnyo. Naye kati nkiraba nti kinneetaagisa okukola ennyo okulongoosa engeri zange nsobole okuyigiriza abantu ab’enjawulo. Nkiraba nti okukola Yakuwa by’ayagala kye kyokka ekisobola okufuula obulamu bwaffe obw’amakulu.”
19. Tusobola tutya okutuuka ku kigendererwa ekya nnamaddala mu bulamu?
19 Ng’Abakristaayo, tufunye okumanya okusobola okuwonyawo obulamu era okuwa essuubi ery’obulokozi. (Yokaana 17:3) Si kya magezi ‘okukkiriza ekisa kya Katonda ne tufiirwa ekigendererwa kyako.’ (2 Abakkolinso 6:1, NW) Mu kifo ky’ekyo, ka tukozese obulamu bwaffe okutendereza Yakuwa. Ka tubunyise okumanya kuno okuleeta essanyu erya nnamaddala kati era okutuusa mu bulamu obutaggwawo. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kulaba obutuufu bw’ebigambo bya Yesu nti: “Mu kugaba mulimu essanyu okusinga okutoola.” (Ebikolwa 20:35, NW) Olwo tujja kuba tutuuse ku kigendererwa ekya nnamaddala mu bulamu.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Kigendererwa ki ekisingirayo ddala obulungi kye tusobola okuba nakyo mu bulamu?
• Lwaki si kya magezi okwemalira ku kunoonya eby’obugagga?
• Obulamu “obwa nnamaddala” Katonda bw’asuubiza bwe buluwa?
• Tuyinza tutya okukozesa obulamu bwaffe okutuukiriza Katonda by’ayagala?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Abakristaayo beetaaga okwefiiriza mu ngeri entuufu