Oluyimba 60
Ajja Kukuwa Amaanyi
1. Katonda ye yaleeta ’mazima gy’oli
Era n’akuggyayo mu nzikiza.
Yalaba mu mutima gwo ng’oyagala
Okukola ebyo by’ayagala.
Wamusuubiza nty’o ’libikola;
Yakuyamba era ’kyakuyamba.
(CHORUS)
Yakugula ggwe n’omusaayi gw’Omwana we.
Ajja kukunyweza obeere wa maanyi.
Ajja kukuluŋŋamya era ’jja kukuuma.
Ajja kukunyweza, Obeere wa maanyi.
2. Katonda yawaayo ’Mwana we ku lulwo;
Akwagaliza birungi byokka.
Bw’aba teyalemwa kuwaayo ’Mwana we,
Ajja ’kkuwa ’maanyi ge weetaaga.
Teyeerabiranga kwagala kwo.
Alabirira ’babe bulijjo.
(CHORUS)
Yakugula ggwe n’omusaayi gw’Omwana we.
Ajja kukunyweza obeere wa maanyi.
Ajja kukuluŋŋamya era ’jja kukuuma.
Ajja kukunyweza, Obeere wa maanyi.
(Era laba Bar. 8:32; 14:8, 9; Beb. 6:10; 1 Peet. 2:9.)