ESSOMO 26
Lwaki Waliwo Ebintu Ebibi n’Okubonaabona?
Ekintu ekibi ennyo bwe kibaawo, kya bulijjo abantu okwebuuza nti, “Lwaki kibaddewo?” Eky’essanyu kiri nti, Bayibuli etubuulira ensonga lwaki waliwo ebintu ebibi!
1. Kiki Sitaani kye yakola ekyaviirako ebintu ebibi okutandika okubaawo mu nsi?
Sitaani Omulyolyomi yajeemera Katonda. Sitaani yali ayagala abeeko b’afuga, era bw’atyo yaleetera abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, okujeemera Katonda. Ekyo Sitaani yakikola ng’alimbalimba Kaawa. (Olubereberye 3:1-5) Yaleetera Kaawa okulowooza nti waaliwo ekintu ekirungi Yakuwa kye yali tamwagaliza. Okusinziira ku ebyo Sitaani bye yayogera, yalaga nti abantu bwe bandijeemedde Katonda bandifunye essanyu erisingawo. Sitaani yayogera obulimba obwasooka bwe yagamba Kaawa nti yali tajja kufa. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli eyita Sitaani ‘omulimba era kitaawe w’obulimba.’—Yokaana 8:44.
2. Kiki Adamu ne Kaawa kye baasalawo okukola?
Yakuwa yali awadde Adamu ne Kaawa ebintu ebirungi bingi. Yali abagambye nti baali basobola okulya ku miti gyonna egy’omu lusuku Edeni okuggyako omuti gumu. (Olubereberye 2:15-17) Naye baasalawo okulya ku bibala by’omuti ogwo. Kaawa ‘yanoga ku bibala byagwo n’alya.’ Oluvannyuma Adamu naye ‘yalya.’ (Olubereberye 3:6) Bombi baajeemera Katonda. Olw’okuba Adamu ne Kaawa baali bantu abatuukiridde, tekyali kizibu gye bali okukola ekituufu. Naye bwe baajeemera Katonda mu bugenderevu, baakola ekibi, era bwe batyo ne beesamba obufuzi bwe. Ekyo kye baasalawo kyabaviiramu okubonaabona kungi.—Olubereberye 3:16-19.
3. Ekyo Adamu ne Kaawa kye baasalawo kyatukwatako kitya?
Adamu ne Kaawa bwe baayonoona baafuuka abantu abatatuukiridde, era ekyo kyaviirako n’abaana baabwe bonna okuba abatatuukiridde. Ng’eyogera ku Adamu, Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna.”—Abaruumi 5:12.
Waliwo ensonga ezitali zimu ezituviirako okubonaabona. Oluusi tubonaabona olw’okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Ate oluusi tubonaabona olw’abantu abalala okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Ate era ebiseera ebimu tubonaabona olw’okubeera mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu.—Soma Omubuulizi 9:11.
YIGA EBISINGAWO
Laba ensonga lwaki Katonda si y’avunaanyizibwa ku bintu ebibi n’okubonaabona ebiriwo mu nsi leero, era laba n’engeri gy’awuliramu bw’alaba nga tubonaabona.
4. Oyo avunaanyizibwa ku kubonaabona okuliwo
Abantu bangi balowooza nti Katonda y’afuga ensi. Naye ekyo kituufu? Laba VIDIYO.
Soma Yakobo 1:13 ne 1 Yokaana 5:19, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Katonda y’aleeta okubonaabona n’ebintu ebibi ebiriwo mu nsi?
5. Laba ebyo ebivudde mu bufuzi bwa Sitaani
Soma Olubereberye 3:1-6, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Bintu ki eby’obulimba Sitaani bye yayogera?—Laba olunyiriri 4, 5.
Sitaani yayogera bigambo ki okulaga nti waaliwo ebintu ebirungi Katonda bye yali akweka abantu?
Okusinziira ku Sitaani, abantu beetaaga Yakuwa okuba Omufuzi waabwe okusobola okuba abasanyufu?
Soma Omubuulizi 8:9, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Biki ebivudde mu kuba nti Yakuwa si y’afuga ensi?
Adamu ne Kaawa baali batuukiridde era nga babeera mu Lusuku lwa Katonda. Naye baawuliriza Sitaani ne bajeemera Yakuwa
Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeema, ekibi, okubonaabona, n’okufa, byayingira mu nsi
Yakuwa ajja kuggyawo ekibi, okubonaabona, n’okufa. Abantu bajja kuddamu okubeera mu Lusuku lwa Katonda nga batuukiridde
6. Yakuwa ayisibwa bubi bw’alaba nga tubonaabona
Bwe tuba tubonaabona Katonda awulira atya? Lowooza ku ebyo Kabaka Dawudi n’omutume Peetero bye baawandiika. Soma Zabbuli 31:7 ne 1 Peetero 5:7, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okukimanya nti bwe tuba tubonaabona Yakuwa aba alaba era kimuyisa bubi, kikukwatako kitya?
7. Katonda ajja kumalawo okubonaabona kwonna
Soma Isaaya 65:17 ne Okubikkulirwa 21:3, 4, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi ebiviirako abantu okubonaabona?
Obadde okimanyi?
Sitaani bwe yayogera obulimba obwasooka, yawaayiriza Yakuwa. Bwe kityo yasiiga erinnya lya Katonda enziro ng’agamba nti Mufuzi atali mwenkanya era atalina kwagala. Yakuwa bw’anaggyawo okubonaabona kwonna mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggya enziro ku linnya lye. Mu ngeri endala, ajja kukiraga nti obufuzi bwe bwe busingirayo ddala okuba obulungi. Okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa kye kintu ekisingirayo ddala obukulu.—Matayo 6:9, 10.
ABAMU BAGAMBA NTI: “Kyali kigendererwa kya Katonda abantu okubeera nga babonaabona.”
Ggwe olowooza otya?
SMU BUFUNZE
Sitaani n’abantu ababiri abaasooka be basingira ddala okuvunaanyizibwa ku bintu ebibi ebiriwo mu nsi. Yakuwa awulira bubi bw’alaba nga tubonaabona, era anaatera okumalawo okubonaabona kwonna.
Okwejjukanya
Bintu ki eby’obulimba Sitaani bye yagamba Kaawa?
Biki ebyava mu bujeemu bwa Adamu ne Kaawa?
Tumanya tutya nti Yakuwa awulira bubi bw’alaba nga tubonaabona?
LABA EBISINGAWO
Laba engeri Bayibuli gy’ennyonnyolamu ekibi.
Soma ebisingawo ebikwata ku nsonga Sitaani gye yaleetawo mu lusuku Edeni.
“Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjanwali 1, 2014)
Laba engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekibobbya abantu omutwe.
“Lwaki Waaliwo Ekitta Bantu? Lwaki Katonda Teyakiziyiza?” (Kiri ku mukutu)
Laba ekyo omusajja omu kye yayiga mu kubonaabona kwe yayitamu.