2 Samwiri
9 Awo Dawudi n’agamba nti: “Waliwo omuntu yenna eyasigalawo ku b’omu nnyumba ya Sawulo, mmulage okwagala okutajjulukuka ku lwa Yonasaani?”+ 2 Waaliwo omuweereza w’ab’ennyumba ya Sawulo eyali ayitibwa Ziba.+ Awo ne bamuyita n’agenda eri Dawudi, Dawudi n’amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” N’addamu nti: “Ye nze omuweereza wo.” 3 Kabaka era n’amubuuza nti: “Waliwo omuntu yenna eyasigalawo ku b’omu nnyumba ya Sawulo, mmulage okwagala kwa Katonda okutajjulukuka?” Ziba n’addamu kabaka nti: “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani eyalemala ebigere byombi.”+ 4 Kabaka n’amubuuza nti: “Ali ludda wa?” Ziba n’addamu Kabaka nti: “Ali Lo-debali mu nnyumba ya Makiri+ mutabani wa Ammiyeri.”
5 Amangu ago Kabaka Dawudi n’amutumya n’amuggya e Lo-debali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri. 6 Mefibosesi mutabani wa Yonasaani bwe yatuuka eri Dawudi, n’avunnama era ne yeeyala wansi. Dawudi n’amugamba nti: “Mefibosesi!” Mefibosesi n’addamu nti: “Nzuuno omuweereza wo.” 7 Dawudi n’amugamba nti: “Totya, kubanga nja kukulaga okwagala okutajjulukuka+ ku lwa Yonasaani kitaawo; nja kukuddiza ettaka lyonna erya jjajjaawo Sawulo, era ojja kuliiranga* ku mmeeza yange.”+
8 Awo Mefibosesi n’avunnama n’agamba nti: “Nze ani omuweereza wo? Nze ani gw’olowoozezzaako, nze alinga embwa enfu?”+ 9 Kabaka n’atumya Ziba, omuweereza wa Sawulo, n’amugamba nti: “Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n’ennyumba ye yonna mbiwadde muzzukulu wa mukama wo.+ 10 Ggwe n’abaana bo n’abaweereza bo mujja kumulimiranga, era emmere gye munaakungulanga mujja kugiwanga abantu ba muzzukulu wa mukama wo. Naye Mefibosesi, muzzukulu wa mukama wo, ajja kuliiranga ku mmeeza yange.”+
Ziba yalina abaana ab’obulenzi 15 n’abaweereza 20.+ 11 Ziba n’agamba kabaka nti: “Omuweereza wo ajja kukola byonna mukama wange kabaka by’amulagidde.” Bw’atyo Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi* ng’omu ku baana ba kabaka. 12 Mefibosesi naye yalina mutabani we omuto eyali ayitibwa Mikka,+ era abo bonna abaali babeera mu nnyumba ya Ziba baali baweereza ba Mefibosesi. 13 Mefibosesi yabeeranga mu Yerusaalemi, kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka,+ era yali yalemala ebigere byombi.+