1 Ebyomumirembe Ekisooka
8 Benyamini+ yazaala Bera,+ omwana we omubereberye, ow’okubiri Asuberi,+ ow’okusatu Akala, 2 ow’okuna Noka, n’ow’okutaano Lafa. 3 Bano be baana Bera be yazaala: Addali, Gera,+ Abikudi, 4 Abisuwa, Naamani, Akowa, 5 Gera, Sefufaani, ne Kulamu. 6 Bano be baana ba Ekudi, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’abo abaabeeranga mu Geba,+ abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Manakasi. 7 Naamani ne Akiya ne Gera—ono ye yabatwala mu buwaŋŋanguse, era ye yazaala Uzza ne Akikudi. 8 Sakalayimu yazaala abaana mu nsi ya Mowaabu ng’amaze okubagoba. Kusimu ne Bbaala be baali bakazi be.* 9 Kodesi mukazi we yamuzaalira Yobabu, Zibiya, Mesa, Malukamu, 10 Yewuzi, Sakiya, ne Miruma. Abo be baana be, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe.
11 Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali. 12 Abaana ba Erupaali be bano: Eberi, Misamu, Semedi (eyazimba Ono+ ne Loodi+ n’obubuga obukyetoolodde), 13 Beriya, ne Seema. Abo be bakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’abo abaabeeranga mu Ayalooni.+ Abo be baagoba abatuuze b’e Gaasi. 14 Era waaliwo Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi, 15 ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi, 16 ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka, abaana ba Beriya; 17 ne Zebadiya, ne Mesulamu, ne Kizuki, ne Keberi, 18 ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu, abaana ba Erupaali; 19 ne Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi, 20 ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri, 21 ne Adaya, ne Beraya, ne Simulasi, abaana ba Simeeyi; 22 ne Isupani, ne Eberi, ne Eryeri, 23 ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani, 24 ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya, 25 ne Ifudeya, ne Penuweri, abaana ba Sasaki; 26 ne Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya, 27 ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli, abaana ba Yerokamu. 28 Abo be baali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe ng’obuzaale bwabwe bwe bwali. Be baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 Yeyeri kitaawe wa Gibiyoni+ yabeeranga mu Gibiyoni, era mukazi we yali ayitibwa Maaka.+ 30 Omwana we omubereberye yali ayitibwa Abudoni; ne kuddako Zuuli, Kiisi, Bbaali, Nadabu, 31 Gedoli, Akiyo, ne Zekeeri. 32 Mikuloosi yazaala Simeya. Abo bonna baabeeranga ne baganda baabwe mu Yerusaalemi okumpi ne baganda baabwe abalala.
33 Neeri+ yazaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo,+ Sawulo n’azaala Yonasaani+ ne Malukisuwa+ ne Abinadaabu+ ne Esubbaali.*+ 34 Omwana wa Yonasaani yali ayitibwa Meribu-bbaali.*+ Meribu-bbaali yazaala Mikka.+ 35 Abaana ba Mikka be bano: Pisoni, Mereki, Taleya, ne Akazi. 36 Akazi yazaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi ne Azumavesi ne Zimuli, Zimuli n’azaala Moza. 37 Moza yazaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, Lafa n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri. 38 Azeri yalina abaana mukaaga, era gano ge mannya gaabwe: Azulikamu, Bokeru, Isimayiri, Seyaliya, Obadiya, ne Kanani. Abo bonna baali baana ba Azeri. 39 Abaana ba Eseki muganda we be bano: omubereberye yali Ulamu, ow’okubiri Yewusi, n’ow’okusatu Erifereti. 40 Abaana ba Ulamu baali balwanyi ba maanyi, era nga bamanyi okukozesa* omutego. Baalina abaana bangi n’abazzukulu bangi, nga bawerera ddala 150. Abo bonna baava mu Benyamini.