Eseza
7 Awo kabaka ne Kamani+ ne bagenda ku kijjulo kya Nnaabakyala Eseza. 2 Ku lunaku olw’okubiri, bwe baali banywa omwenge, kabaka n’addamu nate n’agamba Eseza nti: “Kiki ky’osaba, Nnaabakyala Eseza? Kijja kukuweebwa! Era kiki ky’oyagala nkukolere? Ne bw’onoosaba ekitundu ekimu eky’okubiri eky’obwakabaka bwange, kijja kukuweebwa!”+ 3 Nnaabakyala Eseza n’addamu nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, Ai kabaka, era bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, nkusaba owonye obulamu bwange era nkusaba abantu bange+ baleme kuttibwa. 4 Kubanga nze n’abantu bange tutundiddwa+ tusaanyizibwewo, tuttibwe, era tuzikirizibwe.+ Singa tubadde tutundiddwa kufuuka baddu abasajja oba abakazi, nnandisirise. Naye akabi kano tekasaanidde kukkirizibwa kubaawo kubanga kagenda kufiiriza kabaka.”
5 Awo Kabaka Akaswero n’agamba Nnaabakyala Eseza nti: “Ani oyo, era ali ludda wa oyo eyeetantadde okukola bw’atyo?” 6 Eseza n’agamba nti: “Atuwalana era omulabe waffe ye Kamani ono omubi.”
Awo Kamani n’atya olwa kabaka ne nnaabakyala. 7 Kabaka n’asituka nga musunguwavu nnyo n’ava ku kijjulo n’agenda mu luggya lw’olubiri; naye Kamani n’asituka okwegayirira Nnaabakyala Eseza aleme kuttibwa, kubanga yalaba nga kabaka amaliridde okumubonereza. 8 Kabaka n’akomawo okuva mu luggya lw’olubiri n’ayingira mu nnyumba mwe baali banywera omwenge; Kamani yali agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n’agamba nti: “Ayagala na kukwatira nnaabakyala mu nnyumba yange?” Kabaka olwali okwogera ekyo, Kamani ne bamubikka mu maaso. 9 Awo Kalubona,+ omu ku bakungu ba kabaka ab’omu lubiri, n’agamba nti: “Waliwo n’ekikondo Kamani kye yakoledde Moluddekaayi+ eyayogera ebyawonya obulamu bwa kabaka.+ Kiri kumpi n’ennyumba ye, era obuwanvu kya mikono 50.”* Awo kabaka n’agamba nti: “Mumuwanike okwo.” 10 Ne bawanika Kamani ku kikondo kye yali akoledde Moluddekaayi, obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.