Zabbuli ya Dawudi.
143 Ai Yakuwa, wulira okusaba kwange;+
Wulira okuwanjaga kwange.
Nnyanukula kubanga oli mwesigwa era oli mutuukirivu.
2 Towozesa muweereza wo,
Kubanga tewali muntu yenna mulamu ayinza okuba omutuukirivu mu maaso go.+
3 Omulabe angoba;
Abetentedde obulamu bwange ku ttaka.
Andeetedde okubeera mu kizikiza ng’abo abaafa edda.
4 Nzigwaamu amaanyi;+
Omutima gwange gusannyaladde.+
5 Nzijukira ennaku ez’edda;
Ndowooza ku bikolwa byo byonna;+
Nfumiitiriza ku mulimu gw’emikono gyo.
6 Ngolola emikono gyange gy’oli;
Nninga ensi enkalu ekulindiridde okugiwa amazzi.+ (Seera)
7 Nnyanukula mangu, Ai Yakuwa;+
Amaanyi gampeddemu.+
Tonkweka bwenyi bwo,+
Nneme okuba ng’abo abakka mu kinnya.+
8 Ku makya, ka mpulirenga okwagala kwo okutajjulukuka,
Kubanga ggwe gwe nneesiga.
Ndaga ekkubo lye ŋŋwanidde okutambuliramu,+
Kubanga ggwe gwe nneeyuna.
9 Ai Yakuwa, nnunula mu mikono gy’abalabe bange.
Nkusaba onkuume.+
10 Njigiriza okukola by’oyagala,+
Kubanga ggwe Katonda wange.
Omwoyo gwo mulungi;
Ka gunnuŋŋamye mu kifo ekitereevu.
11 Ai Yakuwa, ku lw’erinnya lyo nkuuma nga ndi mulamu.
Mu butuukirivu bwo, nnunula okuva mu buyinike.+
12 Olw’okuba olina okwagala okutajjulukuka, zikiriza abalabe bange;+
Saanyaawo abo bonna abambonyaabonya,+
Kubanga ndi muweereza wo.+