Okuva
30 “Ojja kukola ekyoto eky’okwoterezangako obubaani;+ ojja kukikola mu mbaawo z’omuti gwa sita.+ 2 Enjuyi zaakyo ennya zijja kuba nga zenkanankana; obuwanvu kijja kuba omukono* gumu, obugazi omukono gumu, n’obugulumivu emikono ebiri. Amayembe gaakyo gajja kuba ga muti gumu nakyo.+ 3 Ojja kukibikkako zzaabu omulongoofu kungulu waakyo ne ku njuyi zaakyo zonna ne ku mayembe gaakyo, era okisseeko omuge ogwa zzaabu. 4 Ojja kukikolera empeta bbiri eza zzaabu, oziteeke wansi w’omuge gwakyo ku njuyi bbiri ezitunuuliganye, ziwanirire emisituliro egy’okukisituza. 5 Ojja kukola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita ogibikkeko zzaabu. 6 Ekyoto ojja kukiteeka mu maaso g’olutimbe oluli okumpi n’essanduuko ey’Obujulirwa,+ mu maaso g’essanduuko ey’Obujulirwa n’ekyo ekigibikkako, we nnaakulabikiranga.+
7 “Alooni+ ajja kukyotererezangako+ obubaani obw’akaloosa.+ Ajja kubwoterezanga buli ku makya bw’anaabanga ateekateeka ettaala.+ 8 Era Alooni ajja kubwoterezanga bw’anaakoleezanga ettaala akawungeezi.* Ekyo kye kiweebwayo eky’obubaani ekinaabanga mu maaso ga Yakuwa obutayosa mu mirembe gyammwe gyonna. 9 Temukyootererezangako bubaani obutakkirizibwa+ era temukiweerangako ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, era temukiyiwangako ekiweebwayo eky’eby’okunywa. 10 Alooni ajja kuteekanga ogumu ku musaayi gw’ensolo y’ekiweebwayo olw’ekibi+ ku mayembe g’ekyoto okukitukuza. Ajja kukikolanga omulundi gumu mu mwaka+ okukitukuza mu mirembe gyammwe gyonna. Kitukuvu nnyo eri Yakuwa.”
11 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 12 “Buli lw’onoobalanga abaana ba Isirayiri,+ buli omu ku bo anaawangayo ekinunulo eri Yakuwa olw’obulamu bwe mu kiseera ky’okubalibwa. Kino kinaabanga bwe kityo, baleme okugwirwa endwadde nga babalibwa. 13 Kino kye kinaaweebwangayo abo bonna abanaabanga babaliddwa: ekitundu kimu kya kubiri ekya sekeri, okusinziira ku sekeri* ey’omu kifo ekitukuvu.*+ Sekeri emu ze gera* amakumi abiri. Ekitundu kimu kya kubiri ekya sekeri kye kinaaweebwangayo eri Yakuwa.+ 14 Buli anaabanga abaliddwa, okuva ku w’emyaka 20 n’okudda waggulu, ajjanga kuwaayo ekiweebwayo kya Yakuwa.+ 15 Abagagga tebaawengayo kisukkawo era n’abaavu tebaawengayo kitawera kitundu kimu kya kubiri ekya sekeri, ng’eky’okuwaayo eri Yakuwa okutangirira obulamu bwammwe. 16 Ojja kuggya ku Bayisirayiri ssente eza ffeeza ez’okutangirira oziweeyo ku lw’obuweereza bwa weema ey’okusisinkaniramu; zijja kuba ng’ekijjukizo mu maaso ga Yakuwa ku lw’Abayisirayiri, okutangirira obulamu bwammwe.”
17 Yakuwa era n’agamba Musa nti: 18 “Kola ebbenseni ey’ekikomo n’ekintu kw’etuula, ekozesebwenga mu kunaaba;+ ojja kugiteeka wakati wa weema ey’okusisinkaniramu n’ekyoto era ojja kugiteekamu amazzi.+ 19 Alooni ne batabani be banaanaabiranga awo engalo zaabwe n’ebigere byabwe.+ 20 Bwe banaabanga bagenda mu weema ey’okusisinkaniramu oba bwe banaabanga basembera ku kyoto okuweereza, n’okuwaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro, banaanaabanga n’amazzi baleme okufa. 21 Banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe baleme okufa, era lino lijja kuba tteeka lya lubeerera gye bali, eri Alooni n’ezzadde lye, mu mirembe gyabwe gyonna.”+
22 Yakuwa n’ayongera n’agamba Musa nti: 23 “Oluvannyuma ojja kufuna n’eby’akaloosa bino ebisingayo obulungi: sekeri 500 eza miira eyeekutte, sekeri 250 eza mudalasiini ow’akaloosa, sekeri 250 eza kaani ow’akaloosa, 24 ne sekeri 500 eza kasiya, nga bipimiddwa nga bakozesa sekeri ey’omu kifo ekitukuvu,*+ ne yini* emu ey’amafuta g’ezzeyituuni. 25 Ojja kubikolamu amafuta amatukuvu era galina okuba nga gatabuddwa mu ngeri ey’ekikugu.+ Gajja kuba mafuta matukuvu.
26 “Ojja kufuka amafuta ago ku weema ey’okusisinkaniramu+ ne ku ssanduuko ey’Obujulirwa, 27 ne ku mmeeza n’ebintu byayo byonna, ne ku kikondo ky’ettaala n’ebintu byakyo, ne ku kyoto eky’obubaani, 28 ne ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakyo byonna, ne ku bbenseni n’ekintu kw’etuula. 29 Ojja kubitukuza bifuuke bitukuvu nnyo.+ Omuntu yenna anaabikwatangako alina okuba nga mutukuvu.+ 30 Era ojja kufuka amafuta ku Alooni+ ne ku batabani be+ obatukuze bampeereze nga bakabona.+
31 “Ojja kugamba Abayisirayiri nti, ‘Gano ganaabanga mafuta matukuvu mu mirembe gyammwe gyonna.+ 32 Tegalina kusiigibwa ku mubiri gwa muntu era temukolanga kintu kyonna ekitabuddwa mu ngeri y’emu ng’amafuta gano. Matukuvu, era gajja kubeeranga matukuvu gye muli. 33 Oyo yenna anaakolanga amafuta agalinga ago era anaasiiganga agamu ku go ku muntu atagwanidde,* anattibwanga.’”+
34 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Funa eby’akaloosa bino nga biri mu bipimo ebyenkanankana:+ amasanda ga natafu, onuka, galabano ow’akaloosa, n’obubaani obweru obulongoofu. 35 Ojja kubikolamu obubaani;+ ebirungo ebyo ebiwunya akawoowo bijja kutabulwa mu ngeri ey’ekikugu, nga birimu omunnyo,+ nga birongoofu, era nga bitukuvu. 36 Ojja kuddira obumu ku bubaani obwo obusekulesekule bufuuke ensaano, era emu ku nsaano eyo ogiteeke mu maaso g’Obujulirwa mu weema ey’okusisinkaniramu, we nnaakulabikiranga. Obubaani obwo bujja kuba butukuvu nnyo gye muli. 37 Temwekoleranga obubaani obw’ebirungo bino nga bwammwe ku bwammwe.+ Obutwalanga ng’ekintu ekitukuvu eri Yakuwa. 38 Buli anaakolanga obubaani obulinga obwo okuwunyiriza akawoowo kaabwo, anattibwanga.”