Engero
26 Ng’omuzira bwe gutasaana kugwa mu kiseera eky’omusana, era ng’enkuba bw’etasaana kutonnya mu kiseera eky’amakungula,
N’ekitiibwa tekisaana kuweebwa musirusiru.+
2 Ng’ekinyonyi bwe kitaddukira bwereere, era ng’akataayi bwe katabuukira bwereere,
N’ekikolimo tekibaawo awatali nsonga.*
3 Embalaasi eweweenyulwa kibooko, endogoyi esibibwa nkoba,+
N’abasirusiru bakubibwa emiggo mu mugongo.+
4 Omusirusiru tomuddangamu ng’obusirusiru bwe bwe buli,
Oleme okumufaanana.*
5 Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe bwe buli,
Aleme okulowooza nti wa magezi.+
6 Akwasa omusirusiru ensonga ze
Aba ng’omuntu alemaza ebigere bye ne yeereetera emitawaana.
8 Okuwa omusirusiru ekitiibwa
Kuba ng’okusibira ejjinja mu nvuumuulo.+
9 Engero eziva mu kamwa k’abasirusiru
Ziba ng’ekimera ekiriko amaggwa ekiri mu mukono gw’omutamiivu.
10 Akozesa omusirusiru oba abo ababa bayitawo
Aba ng’omulasi w’obusaale amala galasa buli ky’asanze.*
11 Omusirusiru akola eby’obusirusiru enfunda n’enfunda,
Aba ng’embwa erya ebisesemye byayo.+
12 Wali olabye omuntu alowooza nti wa magezi?+
Omusirusiru wandimusuubira okukyusaamu okusinga omuntu ng’oyo.
13 Omugayaavu agamba nti: “Mu kkubo mulimu empologoma,
Mu luguudo mulimu empologoma!”+
14 Omugayaavu yeekyusiza ku kitanda kye,
Ng’oluggi bwe lwekyusiza ku ppata zaalwo.+
15 Omugayaavu ateeka omukono gwe mu kibya,
Naye n’abulwa amaanyi agaguzza ku mumwa.+
16 Omugayaavu alowooza nti wa magezi
Okusinga abantu omusanvu abaddamu mu ngeri ey’amagezi.
18 Ng’omulalu akasuka eby’okulwanyisa eby’omuliro n’obusaale obutta,
19 Bw’atyo bw’ali omuntu alimba munne n’agamba nti, “Mbadde nsaaga!”+
20 Bwe wataba nku, omuliro guzikira,
Bwe watabaawo awaayiriza, okuyomba kuggwaawo.+
21 Ng’amanda n’enku bwe bireetera omuliro okwaka,
N’omuyombi bw’atyo akoleeza oluyombo.+
23 Ebigambo ebyoleka omukwano ebiva mu mutima omubi
Biringa ffeeza asiigiddwa ku luggyo.+
24 Atayagala balala akikweka n’emimwa gye
Naye nga mu mutima gwe mulimu obulimba.
25 Ne bw’ayogeza ekisa, tomwesiganga,
Kubanga omutima gwe gulimu ebintu musanvu ebibi ennyo.*
26 Ne bw’alimbalimba n’akweka obukyayi bwe,
Ebibi by’akola bijja kwanikibwa mu kibiina.
27 Asima ekinnya alikigwamu,
N’oyo ayiringisa ejjinja, lirimuddira.+
28 Olulimi olulimba terwagala abo be lulumya,
N’akamwa akawaanawaana kaleeta emitawaana.+