1 Timoseewo
1 Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu, essuubi lyaffe,+ 2 mpandiikira Timoseewo*+ omwana wange ddala+ mu kukkiriza:
Ekisa eky’ensusso, n’obusaasizi, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bibeere naawe.
3 Nga bwe nnakukubiriza okusigala mu Efeso nga nnaatera okugenda e Masedoniya, ne kaakano nkukubiriza osigaleyo osobole okulagira abamu obutayigiriza njigiriza za bulimba, 4 n’obutassaayo mwoyo ku ngero ez’obulimba+ ne ku nnyiriri z’obuzaale. Ebintu ng’ebyo tebivaamu kalungi konna,+ wabula bireetawo okuteebereza mu kifo ky’okuleeta ebintu ebiva eri Katonda ebinyweza okukkiriza. 5 Mazima ddala, ekigendererwa ky’ekiragiro kino kwe kuba n’okwagala+ okuva mu mutima omulongoofu, mu muntu ow’omunda omulungi, ne mu kukkiriza+ okutaliimu bukuusa. 6 Abamu bavudde ku bintu bino ne badda mu kwogera ebitaliimu.+ 7 Baagala okubeera abayigiriza+ b’amateeka naye nga tebategeera bye boogera wadde bye bakalambirako.
8 Tukimanyi nti Amateeka gaba malungi singa omuntu agakozesa mu ngeri entuufu 9 ng’akimanyi nti amateeka tegaateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abamenyi b’amateeka,+ abajeemu, abatatya Katonda, aboonoonyi, abatali beesigwa,* abatassa kitiibwa mu bintu ebitukuvu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era abatta n’abantu abalala, 10 abagwenyufu,* abasajja abalya ebisiyaga,* abawamba abantu, abalimba, abalayira eby’obulimba, n’abo abakola ebintu ebirala byonna ebikontana n’okuyigiriza okw’omuganyulo.+ 11 Okuyigiriza kuno kwesigamiziddwa ku mawulire amalungi ag’ekitiibwa aga Katonda omusanyufu ge nnakwasibwa.+
12 Nneebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi, kubanga yantwala okuba omwesigwa n’ankwasa obuweereza+ 13 wadde ng’edda nnali muvvoozi, ayigganya abalala, era atawa balala kitiibwa.+ Naye nnasaasirwa kubanga nnabikolanga mu butamanya era nga sirina kukkiriza. 14 Naye Mukama waffe yandaga ekisa kingi nnyo, era nnafuna okukkiriza n’okwagala okuli mu Kristo Yesu. 15 Ebigambo bino byesigika era bisaana okukkirizibwa mu bujjuvu: Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.+ Mu boonoonyi abo nze nsingayo.+ 16 Naye nnasaasirwa, Kristo Yesu asobole okulaga obugumiikiriza bwe bwonna okuyitira mu nze omwonoonyi asingayo, ndyoke mbeere ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiririzaamu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo.+
17 Kabaka ow’emirembe n’emirembe,+ ataggwaawo,+ atalabika,+ Katonda omu yekka,+ aweebwe ettendo n’ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
18 Nkuwa ekiragiro kino mwana wange Timoseewo ekikwatagana n’obunnabbi obwali bukusongako, olyoke olwane olutalo olulungi ng’obunnabbi obwo bwe bwalaga,+ 19 ng’okuuma okukkiriza n’omuntu ow’omunda omulungi+ abamu gwe balagajjalidde, okukkiriza kwabwe ne kusaanawo ng’emmeeri emenyesemenyese. 20 Kumenaayo+ ne Alekizanda be bamu ku bo, era mbawaddeyo eri Sitaani,+ okukangavvulwa kubayigirize obutavvoola.