2 Timoseewo
1 Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu nga Katonda bwe yayagala, okusinziira ku kisuubizo ky’obulamu ekiri mu Kristo Yesu,+ 2 mpandiikira Timoseewo omwana wange omwagalwa:+
Ekisa eky’ensusso, obusaasizi, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bibeere naawe.
3 Nneebaza Katonda gwe mpeereza mu buweereza obutukuvu nga bajjajjange bwe baakola era nga nnina omuntu ow’omunda omuyonjo, era sirekangayo kukujjukira nga mmwegayirira emisana n’ekiro. 4 Bwe nzijukira amaziga go, mpulira nga njagala nnyo okukulaba nsobole okujjula essanyu. 5 Kubanga nzijukira okukkiriza okutaliimu bukuusa kw’olina,+ okwasooka okubeera mu jjajjaawo Looyi ne mu maama wo Ewuniike, era ndi mukakafu nti naawe okulina.
6 Olw’ensonga eyo, ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye wafuna bwe nnakussaako emikono,+ nkujjukiza okiseeseemu ng’aseesa mu muliro. 7 Kubanga Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi,+ wabula ogw’amaanyi,+ ogw’okwagala, n’ogw’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu. 8 N’olwekyo, tokwatibwanga nsonyi kubuulira bikwata ku Mukama waffe,+ ne ku nze eyasibibwa ku lulwe, naye beeranga mwetegefu okubonaabona+ olw’amawulire amalungi nga weesiga amaanyi ga Katonda.+ 9 Yatulokola era n’atuyita okubeera abatukuvu,+ si lwa bikolwa byaffe, wabula olw’ekigendererwa kye n’olw’ekisa kye eky’ensusso.+ Ekisa kino kyatulagibwa okuyitira mu Kristo Yesu okuva edda ennyo, 10 naye kaakano kyeyolese kaati okuyitira mu kulabisibwa kw’Omulokozi waffe, Kristo Yesu,+ eyaggyawo okufa,+ n’atusobozesa okutegeera engeri gye tusobola okufuna obulamu+ n’obutavunda+ okuyitira mu mawulire amalungi+ 11 ge nnalonderwa okuba omubuulizi, omutume, era omuyigiriza.+
12 Kyenva mbonaabona bwe nti,+ naye sikwatibwa nsonyi.+ Kubanga gwe nzikiririzaamu mmumanyi era ndi mukakafu nti asobola okukuuma kye mmuteresezza okutuusa ku lunaku luli.+ 13 Nywereranga ku mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo+ bye wawulira okuva gye ndi. Binywerereko ng’olina okukkiriza n’okwagala ebiva mu kuba obumu ne Kristo Yesu. 14 Ekintu kino eky’omuwendo ekyakukwasibwa kikuume okuyitira mu mwoyo omutukuvu oguli mu ffe.+
15 Okimanyi nti abantu bonna ab’omu ssaza ly’e Asiya+ banjabulira, nga mu bano mwe muli Fugero ne Kerumogene. 16 Mukama asaasire ab’ennyumba ya Onesifolo,+ kubanga emirundi mingi yanzizaamu amaanyi, era teyankwatirwa nsonyi nga ndi mu njegere. 17 Bwe yali mu Rooma yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 18 Mukama waffe Yakuwa* amusaasire ku lunaku luli. Era omanyi bulungi byonna bye yakola mu Efeso.