Yobu 1:6 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 Awo olunaku ne lutuuka, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani+ naye n’agendera mu bo.+ Yobu 38:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Emmunyeenye ez’oku makya+ bwe zaayogerera waggulu n’essanyu,Abaana ba Katonda*+ bonna ne baleekaana olw’essanyu? 2 Peetero 2:4 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 4 Katonda teyalema kubonereza bamalayika abaayonoona,+ naye yabasuula mu Tatalo,*+ n’abasiba enjegere mu kizikiza* ekikutte ennyo nga balindirira omusango ogwabasalirwa.+ Yuda 6 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 Ne bamalayika abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu,+ yabasiba emirembe n’emirembe mu kizikiza ekikutte, nga balindirira omusango ogw’oku lunaku olukulu.+
6 Awo olunaku ne lutuuka, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani+ naye n’agendera mu bo.+
7 Emmunyeenye ez’oku makya+ bwe zaayogerera waggulu n’essanyu,Abaana ba Katonda*+ bonna ne baleekaana olw’essanyu?
4 Katonda teyalema kubonereza bamalayika abaayonoona,+ naye yabasuula mu Tatalo,*+ n’abasiba enjegere mu kizikiza* ekikutte ennyo nga balindirira omusango ogwabasalirwa.+
6 Ne bamalayika abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu,+ yabasiba emirembe n’emirembe mu kizikiza ekikutte, nga balindirira omusango ogw’oku lunaku olukulu.+