-
Yoswa 2:9-11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 n’abagamba nti: “Mmanyi nti Yakuwa agenda kubawa ensi eno,+ era mutuleetedde okutya.+ Abantu bonna ab’omu nsi eno mubaleetedde okuterebuka,+ 10 kubanga twawulira Yakuwa bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe bwe mwali muva e Misiri+ era ne kye mwakola bakabaka ababiri Abaamoli, Sikoni+ ne Ogi,+ be mwazikiriza emitala wa Yoludaani.* 11 Ebyo bwe twabiwulira, twatya nnyo,* era muleetedde buli muntu okuggwaamu amaanyi, kubanga Yakuwa Katonda wammwe ye Katonda waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi.+
-
-
Yoswa 5:1Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Bakabaka bonna Abaamoli+ abaali ku ludda olw’ebugwanjuba* olwa Yoludaani ne bakabaka bonna ab’Abakanani+ abaali okumpi n’ennyanja olwawulira nti Yakuwa yali akalizza amazzi g’Omugga Yoludaani okutuusa Abayisirayiri lwe baamala okusomoka, ne batya nnyo*+ era ne baggweeramu ddala amaanyi* olw’Abayisirayiri.+
-