-
Eby’Abaleevi 6:14-16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 “‘Lino lye tteeka ery’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke:+ Batabani ba Alooni banaakiwangayo eri Yakuwa mu maaso g’ekyoto. 15 Omu ku bo anaayoolanga olubatu ku buwunga obutaliimu mpulunguse obw’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke obulimu amafuta n’obubaani obweru bwonna obuli ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, era anaabwokeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi,* okukiikirira ekiweebwayo kyonna ekiweebwayo eri Yakuwa.+ 16 Ekinaasigalangawo kinaaliibwanga Alooni ne batabani be.+ Kinaafumbibwangamu emigaati egitali mizimbulukuse ne giriirwa mu kifo ekitukuvu. Banaagiriiranga mu luggya lwa weema ey’okusisinkaniramu.+
-
-
1 Abakkolinso 9:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Temumanyi nti abantu abakola emirimu emitukuvu balya ku bintu by’omu yeekaalu, n’abo abakola emirimu gy’oku kyoto bagabana ku biweebwayo ku kyoto?+
-