-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 28:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo Dawudi n’awa Sulemaani mutabani we pulaani+ y’ekisasi kya yeekaalu+ n’ey’ebisenge byayo n’amaterekero gaayo n’ebisenge byayo ebya waggulu n’eby’omunda n’ennyumba ey’okutangiririramu ebibi.+ 12 Yamuwa pulaani ya buli kintu omwoyo gwa Katonda kye gwamubikkulira, ey’empya+ z’ennyumba ya Yakuwa, n’ey’ebisenge byonna omuliirwa ebigyetoolodde, n’ey’amawanika g’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima, n’ey’amawanika g’ebintu ebyatukuzibwa.*+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 3:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Awo Sulemaani n’atandika okuzimba ennyumba ya Yakuwa+ mu Yerusaalemi ku Lusozi Moliya,+ Yakuwa gye yalabikira Dawudi kitaawe,+ mu kifo Dawudi kye yateekateeka ku gguuliro lya Olunaani+ Omuyebusi. 2 Yatandika okuzimba ku lunaku olw’okubiri olw’omwezi ogw’okubiri, mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwe.
-