-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 26:16-21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Kyokka olwafuna amaanyi, n’afuna amalala mu mutima ne yeereetera emitawaana. Yakola ekintu ekitaali kya bwesigwa mu maaso ga Yakuwa Katonda we bwe yagenda mu yeekaalu ya Yakuwa okwotereza obubaani ku kyoto eky’okwotererezaako obubaani.+ 17 Amangu ago Azaliya kabona ng’ali wamu ne bakabona ba Yakuwa abalala, abasajja abazira 80, ne bayingira nga bamuvaako emabega. 18 Ne baŋŋanga Kabaka Uzziya ne bamugamba nti: “Uzziya, tosaanidde kwoterereza Yakuwa bubaani!+ Bakabona bokka be basaanidde okwotereza obubaani, kubanga be bazzukulu ba Alooni+ abaatukuzibwa. Va mu kifo ekitukuvu, kubanga okoze ekikolwa ekitali kya bwesigwa era Yakuwa Katonda tajja kukugulumiza olw’ekikolwa kino.”
19 Kyokka Uzziya n’asunguwala,+ era yali akutte ekyoterezo eky’okwotereza obubaani. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona, ebigenge+ ne bimukuba mu kyenyi ng’ali mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Yakuwa, okumpi n’ekyoto eky’okwotererezaako obubaani. 20 Azaliya kabona omukulu ne bakabona abalala bonna bwe baamutunuulira, ne balaba nga yali akubiddwa ebigenge mu kyenyi! Awo ne banguwa okumufulumya, era naye n’ayanguwa okufuluma kubanga Yakuwa yali amukubye ebigenge.
21 Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa. Waaliwo ennyumba ey’enjawulo mwe yabeeranga olw’okuba yali mugenge,+ era yali takyakkirizibwa kugenda ku nnyumba ya Yakuwa. Yosamu mutabani we ye yali alabirira eby’ennyumba* ya kabaka, era nga y’alamula abantu b’omu nsi.+
-