-
2 Bassekabaka 15:5-7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Yakuwa yalwaza Azaliya, era yali mugenge+ okutuusa lwe yafa. Yabeeranga mu nnyumba ey’enjawulo,+ nga mutabani we Yosamu+ y’alabirira eby’omu lubiri,* era nga y’alamula abantu b’omu nsi.+ 6 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Azaliya,+ ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 7 Oluvannyuma Azaliya yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,+ ne bamuziika ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.
-