-
1 Ebyomumirembe Ekisooka 28:11, 12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo Dawudi n’awa Sulemaani mutabani we pulaani+ y’ekisasi kya yeekaalu+ n’ey’ebisenge byayo n’amaterekero gaayo n’ebisenge byayo ebya waggulu n’eby’omunda n’ennyumba ey’okutangiririramu ebibi.+ 12 Yamuwa pulaani ya buli kintu omwoyo gwa Katonda kye gwamubikkulira, ey’empya+ z’ennyumba ya Yakuwa, n’ey’ebisenge byonna omuliirwa ebigyetoolodde, n’ey’amawanika g’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima, n’ey’amawanika g’ebintu ebyatukuzibwa.*+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 31:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Baaleetanga ebintu eby’okuwaayo, n’ekimu eky’ekkumi,+ n’ebintu ebitukuvu, era kino baakikolanga n’obwesigwa. Konaniya Omuleevi ye yali akulira ogw’okubirabirira, ate muganda we Simeeyi ye yali amuddirira.
-