-
Nekkemiya 8:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu,+ Ezera kabona n’aleeta Amateeka mu maaso g’ekibiina+ ky’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okuwulira ne bategeera. 3 N’asoma ekitabo ekyo mu ddoboozi ery’omwanguka+ ng’ali mu kibangirizi ekiri mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi, okuva ku makya okutuuka mu ttuntu. Yakisomera mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okutegeera, era abantu bonna baawuliriza bulungi+ ebiri mu kitabo ky’Amateeka.
-