Zabbuli 25:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 Yakuwa mulungi era mutuukirivu.+ Eyo ye nsonga lwaki ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye balina okutambuliramu.+ Nakkumu 1:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Yakuwa mulungi,+ era kigo ku lunaku olw’okulabirako ennaku.+ Amanyi* abo abaddukira gy’ali.+ Matayo 5:44, 45 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 44 Naye nze mbagamba nti: Mweyongere okwagala abalabe bammwe+ era n’okusabira abo ababayigganya,+ 45 mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu,+ kubanga omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.+ Ebikolwa 14:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 wadde nga yeewaako obujulirwa+ ng’akola ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo,+ ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.”+ Yakobo 1:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva waggulu+ era kikka wansi nga kiva eri Kitaawe w’ebyaka ebiri ku ggulu,+ era ye takyukakyuka ng’ekisiikirize.+
8 Yakuwa mulungi era mutuukirivu.+ Eyo ye nsonga lwaki ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye balina okutambuliramu.+
44 Naye nze mbagamba nti: Mweyongere okwagala abalabe bammwe+ era n’okusabira abo ababayigganya,+ 45 mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu,+ kubanga omusana gwe agwakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.+
17 wadde nga yeewaako obujulirwa+ ng’akola ebintu ebirungi, gamba, ng’abawa enkuba okuva mu ggulu, ng’abaza emmere mu biseera byayo,+ ng’abawa emmere mu bungi, era ng’ajjuza emitima gyammwe essanyu.”+
17 Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva waggulu+ era kikka wansi nga kiva eri Kitaawe w’ebyaka ebiri ku ggulu,+ era ye takyukakyuka ng’ekisiikirize.+