-
Yobu 34:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Amenya ab’amaanyi nga tekimwetaagisizza kunoonyereza,
Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.+
-
-
Yeremiya 27:5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 ‘Nze nnakola ensi, abantu, n’ensolo eziri ku nsi nga nkozesa amaanyi gange amangi n’omukono gwange ogugoloddwa, era mbiwa oyo yenna gwe njagala. +
-
-
Ezeekyeri 21:26, 27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ggya ekiremba ku mutwe gwo, era ggya engule ku mutwe gwo.+ Ebintu tebijja kusigala nga bwe biri.+ Gulumiza owa wansi,+ ofeebye owa waggulu.+ 27 Engule nja kugizikiriza, nja kugizikiriza, nja kugizikiriza. Tejja kuweebwa muntu yenna okutuusa nnyini yo lw’alijja,+ era ndigimuwa.’+
-
-
Danyeri 7:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 “Nneeyongera okutunuulira ebyo bye nnali njolesebwa ekiro, ne ndaba oyo eyali afaanana ng’omwana w’omuntu+ ng’ajjira mu bire eby’eggulu; n’akkirizibwa okugenda awaali Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda,+ ne bamutwala mu maaso ge. 14 N’aweebwa obufuzi,+ n’ekitiibwa,+ n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga.+ Obufuzi bwe bwe bufuzi obw’emirembe n’emirembe obutalivaawo, era obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.+
-