-
Danyeri 12:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Awo ne mpulira ebyayogerwa omusajja eyali ayambadde olugoye olwa kitaani, eyali waggulu w’amazzi g’omugga, bwe yawanika waggulu omukono gwe ogwa ddyo n’ogwa kkono n’alayira Oyo abeerawo emirembe gyonna,+ n’agamba nti: “Ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera* bigerekeddwa. Amangu ddala ng’amaanyi g’abantu abatukuvu gamaze okubetentebwa, ebintu bino byonna biriggwa.”+
-
-
Okubikkulirwa 13:5-7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 N’eweebwa akamwa akoogera ebintu eby’okwekulumbaza n’eby’obuvvoozi era n’eweebwa obuyinza okumala emyezi 42.+ 6 N’eyasamya akamwa kaayo okuvvoola+ Katonda, n’evvoola erinnya lye n’ekifo gy’abeera, n’abo ababeera mu ggulu.+ 7 N’ekkirizibwa okulwana n’abatukuvu n’okubawangula,+ era n’eweebwa obuyinza ku buli kika n’abantu n’olulimi n’eggwanga.
-