Yeremiya 23:6 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 Mu nnaku ze Yuda erirokolebwa,+ era Isirayiri eriba mu mirembe.+ Lino lye linnya ly’aliyitibwa: Yakuwa Bwe Butuukirivu Bwaffe.”+ Yoweeri 3:16 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 16 Yakuwa aliwuluguma ng’ayima mu Sayuuni,Aliyimusa eddoboozi lye ng’ayima mu Yerusaalemi. Eggulu n’ensi biriyuuguuma;Naye Yakuwa aliba kiddukiro eri abantu be,+Aliba kigo eri abantu ba Isirayiri. Zekkaliya 2:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 Ndiba gye kiri nga bbugwe ow’omuliro ku njuyi zonna+ era ndikijjuza ekitiibwa kyange,”+ Yakuwa bw’agamba.”’ Zekkaliya 9:15 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 15 Yakuwa ow’eggye kennyini alibalwanirira;Balirya era balirinnyirira envuumuulo.+ Balinywa ne baleekaana ng’abanywedde omwenge;Balijjula ng’ebbakuli,Era balijjula ng’ensonda z’ekyoto.+
6 Mu nnaku ze Yuda erirokolebwa,+ era Isirayiri eriba mu mirembe.+ Lino lye linnya ly’aliyitibwa: Yakuwa Bwe Butuukirivu Bwaffe.”+
16 Yakuwa aliwuluguma ng’ayima mu Sayuuni,Aliyimusa eddoboozi lye ng’ayima mu Yerusaalemi. Eggulu n’ensi biriyuuguuma;Naye Yakuwa aliba kiddukiro eri abantu be,+Aliba kigo eri abantu ba Isirayiri.
5 Ndiba gye kiri nga bbugwe ow’omuliro ku njuyi zonna+ era ndikijjuza ekitiibwa kyange,”+ Yakuwa bw’agamba.”’
15 Yakuwa ow’eggye kennyini alibalwanirira;Balirya era balirinnyirira envuumuulo.+ Balinywa ne baleekaana ng’abanywedde omwenge;Balijjula ng’ebbakuli,Era balijjula ng’ensonda z’ekyoto.+