Yeremiya
23 “Zisanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga ez’omu ddundiro lyange!” Yakuwa bw’agamba.+
2 Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku basumba abalunda abantu bange: “Musaasaanyizza endiga zange; mwazisaasaanya era temuzirabiridde.”+
“Kale ŋŋenda kubabonereza olw’ebikolwa byammwe ebibi,” Yakuwa bw’agamba.
3 “Nja kukuŋŋaanya endiga zange ezisigaddewo okuva mu nsi zonna gye nnazisaasaanyiza,+ era nja kuzikomyawo mu ddundiro lyazo,+ era zijja kuzaala, zaale.+ 4 Nja kuziteerawo abasumba abanaazirundanga obulungi.+ Zijja kuba tezikyeraliikirira era nga tezikyatya, era tewali n’emu ejja kubula,” Yakuwa bw’agamba.
5 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndissaawo omusika* omutuukirivu okuva mu lunyiriri lwa Dawudi.+ Kabaka alifuga+ era alyoleka amagezi era n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu mu nsi.+ 6 Mu nnaku ze Yuda erirokolebwa,+ era Isirayiri eriba mu mirembe.+ Lino lye linnya ly’aliyitibwa: Yakuwa Bwe Butuukirivu Bwaffe.”+
7 “Naye ekiseera kijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe bataligamba nti, ‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu, eyaggya abantu ba Isirayiri mu nsi ya Misiri!’+ 8 wabula nti: ‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu eyaggya bazzukulu b’ennyumba ya Isirayiri mu nsi ey’ebukiikakkono ne mu nsi zonna gye yali abasaasaanyirizza n’abazza,’ era balibeera mu nsi yaabwe.”+
9 Bannabbi mbagamba nti:
Omutima gwange munda mu nze gumenyese.
Amagumba gange gonna gakankana.
Nninga omuntu atamidde
Nninga omuntu anywedde n’agangayira,
Olwa Yakuwa n’olw’ebigambo bye ebitukuvu.
10 Kubanga ensi ejjudde abenzi;+
Ensi ekungubaga+ olw’okuba ekolimiddwa
Omuddo ogw’omu lukoola gukaze.+
Empisa zaabwe mbi, era bakozesa bubi obuyinza bwabwe.
11 “Bannabbi ne bakabona boonoonefu.*+
Ne mu nnyumba yange nsanzeemu ebintu ebibi bye bakola,”+ Yakuwa bw’agamba.
12 “Ekkubo lyabwe lijja kuba lya kaseerezi era nga likutte ekizikiza;+
Bajja kubasindika era bajja kugwa.
Kubanga nja kubatuusaako akabi
Mu mwaka gwe banaabonerezebwamu,” Yakuwa bw’agamba.
13 “Bannabbi b’omu Samaliya+ mbalabyemu ekintu ekibi ennyo.
Bye balagula babiragula ku lwa Bbaali,
Era bawabya abantu bange Isirayiri.
14 Ne bannabbi b’omu Yerusaalemi mbalabyemu ebintu ebibi ennyo.
15 Kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’ayogera ku bannabbi:
“Ŋŋenda kubaliisa omususa
Era ŋŋenda kubawa amazzi ag’okunywa agalimu obutwa.+
Kubanga bannabbi b’omu Yerusaalemi be baviiriddeko obwewagguzi okubuna mu nsi yonna.”
16 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Temuwuliriza bigambo bannabbi bye babagamba.+
Babalimba.*
17 Enfunda n’enfunda bagamba abo abatanzisaamu kitiibwa nti,
‘Yakuwa agambye nti: “Mujja kuba mu mirembe.”’+
Era abo bonna abagugubira ku ky’okugoberera emitima gyabwe emikakanyavu babagamba nti,
‘Tewali kabi kajja kubatuukako.’+
18 Kubanga ani eyali ayimiridde mu abo abali okumpi ne Yakuwa
Asobole okulaba n’okuwulira ekigambo kye?
Ani assizzaayo omwoyo eri ekigambo kye asobole okukiwulira?
19 Laba! Embuyaga ya Yakuwa ejja kujja n’obusungu bungi;
Okufaananako omuyaga ogw’amaanyi, ejja kukuntira ku mitwe gy’ababi.+
20 Obusungu bwa Yakuwa tebujja kukkakkana
Okutuusa lw’anaatuukiriza ebiruubirirwa by’omutima gwe.
Mu nnaku ez’enkomerero mulikitegeera bulungi.
21 Bannabbi saabatuma, naye baagenda.
Saayogera nabo, naye baalagula.+
22 Naye singa baali bayimiridde mu abo abali okumpi nange,
Bandireetedde abantu bange okuwulira ebigambo byange
Era bandibaleetedde okuleka ekkubo lyabwe ebbi n’ebikolwa byabwe ebibi.”+
23 “Ndi Katonda ali okumpi wokka,” Yakuwa bw’agamba, “so si Katonda ali n’ewala?”
24 “Waliwo omuntu yenna asobola okwekweka mu kifo ekyekusifu gye sisobola kumulabira?”+ Yakuwa bw’agamba.
“Eriyo ekintu kyonna mu ggulu ne ku nsi kye sisobola kulaba?”+ Yakuwa bw’agamba.
25 “Mpulidde bannabbi abalagula eby’obulimba mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nnaloose ekirooto! Nnaloose ekirooto!’+ 26 Okulagula eby’obulimba kulituusa wa okuba mu mitima gya bannabbi? Be bannabbi aboogera obulimba obuli mu mitima gyabwe.+ 27 Baagala okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw’ebirooto bye babuuliragana, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Bbaali.+ 28 Nnabbi aloose ekirooto k’attottole by’aloose, naye oyo alina ekigambo kyange k’ayogere ekigambo kyange mu mazima.”
“Essubi n’emmere ey’empeke birina kye bifaanaganya?” Yakuwa bw’agamba.
29 “Ekigambo kyange tekiri ng’omuliro?”+ Yakuwa bw’agamba; “era tekiri ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?”+
30 “Ŋŋenda kubonereza bannabbi abanyoolanyoola ebigambo byange basobole okubuulira abantu bo bye baagala,”+ Yakuwa bw’agamba.
31 “Ŋŋenda kubonereza bannabbi,” Yakuwa bw’agamba, “abo aboogera ebigambo ebyabwe ku bwabwe nti, ‘Ayogedde!’”+
32 “Ŋŋenda kubonereza bannabbi aboogera ebirooto eby’obulimba,” Yakuwa bw’agamba, “ne bawabya abantu bange olw’obulimba bwabwe n’okwewaana kwabwe.”+
“Saabatuma era saabalagira. N’olwekyo tebalina kye bajja kugasa bantu bano,”+ Yakuwa bw’agamba.
33 “Ate era abantu bano oba nnabbi oba kabona bwe bakubuuza nti, ‘Omugugu* gwa Yakuwa kye ki?’ ojja kubaddamu nti, ‘“Mmwe mugugu! Era nja kubasuula eri,”+ Yakuwa bw’agamba.’ 34 Era bwe wabaawo nnabbi oba kabona oba omuntu agamba nti, ‘Guno gwe mugugu* gwa Yakuwa!’ Omuntu oyo n’ab’omu nnyumba ye nja kubabonereza. 35 Buli omu ku mmwe abuuza munne ne muganda we nti, ‘Yakuwa azzeemu ki? Era Yakuwa ayogedde ki?’ 36 Naye omugugu* gwa Yakuwa temuddamu kugwogerako, kubanga buli muntu ekigambo kye gwe mugugu,* era mukyusizza ebigambo bya Katonda omulamu, Yakuwa ow’eggye, Katonda waffe.
37 “Bw’oti bw’onoobuuza nnabbi, ‘Yakuwa akuzzeemu ki? Era Yakuwa ayogedde ki? 38 Era bwe muneeyongera okugamba nti, “Omugugu* gwa Yakuwa!” bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Olw’okuba mugamba nti, ‘Ekigambo kino gwe mugugu* gwa Yakuwa,’ ng’ate mmaze okubagamba nti, ‘Temwogera nti: “Omugugu* gwa Yakuwa!”’ 39 laba! Nja kubasitula mbakasuke okuva we ndi, mmwe n’ekibuga kye nnabawa ne bajjajjammwe. 40 Era nja kubaleetako obuswavu obutaliggwaawo n’okufeebezebwa okutaliggwaawo era okutalyerabirwa.”’”+