15 Awo ne batuuka e Yerusaalemi. N’ayingira mu yeekaalu, n’agobamu abaali batundiramu ebintu n’abo abaali babigula, n’avuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente era n’entebe z’abo abaali batunda amayiba,+ 16 era n’atakkiriza muntu yenna kuyisa kintu kyonna mu yeekaalu.