-
Yokaana 2:14-16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
14 N’asanga mu yeekaalu abaali batunda ente, endiga, enjiibwa,+ era n’abaali bavungisa ssente nga bali mu bifo byabwe batudde. 15 Awo n’akwata emiguwa n’agikolamu embooko, n’agobamu bonna abaalina endiga n’ente, n’ayiwa ne ssente z’abo abaali bavungisa ssente era n’avuunika emmeeza zaabwe.+ 16 N’agamba abo abaali batunda enjiibwa nti: “Ebintu bino mubiggye wano! Ennyumba ya Kitange mulekere awo okugifuula akatale!”*+
-