-
Matayo 16:13-15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Awo Yesu bwe yatuuka mu bitundu by’e Kayisaliya ekya Firipo, n’abuuza abayigirizwa nti: “Omwana w’omuntu abantu bagamba nti y’ani?”+ 14 Ne bamuddamu nti: “Abamu bagamba nti ye Yokaana Omubatiza,+ abalala nti ye Eriya,+ ate abalala nti ye Yeremiya oba omu ku bannabbi.” 15 N’ababuuza nti: “Ate mmwe mugamba nti nze ani?”
-