-
Lukka 9:26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Buli ankwatirwa ensonyi nze era n’ebigambo byange, Omwana w’omuntu naye alimukwatirwa ensonyi bw’alijjira mu kitiibwa kye, n’ekya Kitaawe, era n’ekya bamalayika abatukuvu.+
-
-
2 Timoseewo 1:7, 8Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Kubanga Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi,+ wabula ogw’amaanyi,+ ogw’okwagala, n’ogw’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu. 8 N’olwekyo, tokwatibwanga nsonyi kubuulira bikwata ku Mukama waffe,+ ne ku nze eyasibibwa ku lulwe, naye beeranga mwetegefu okubonaabona+ olw’amawulire amalungi nga weesiga amaanyi ga Katonda.+
-