-
Matayo 18:19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Era mbagamba nti bwe muba babiri ku nsi ne mukkiriziganya okusaba ekintu kyonna ekikulu, Kitange ali mu ggulu ajja kukibakolera.+
-
-
Matayo 21:22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Era ebintu byonna bye musaba nga mulina okukkiriza mujja kubifuna.”+
-
-
Yokaana 14:13Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Ate era, buli kyonna kye musaba mu linnya lyange ndikikola, Kitange asobole okugulumizibwa okuyitira mu Mwana.+
-
-
Yokaana 15:7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
7 Bwe munaasigala nga muli bumu nange era ebigambo byange ne bisigala mu mmwe, mujja kusaba kyonna kye mwagala, era kijja kubaweebwa.+
-
-
Yokaana 16:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 N’okutuusa kati tewali kintu kye mwali musabye mu linnya lyange. Musabe mujja kuweebwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
-