7 Yatulugunyizibwa+ era yakkiriza okubonyaabonyezebwa,+
Naye teyayasamya kamwa ke.
Yaleetebwa ng’omwana gw’endiga okuttibwa,+
Yalinga endiga bw’esirika nga bagisalako ebyoya,
Era teyayasamya kamwa ke.+
8 Yatulugunyizibwa era n’atwalibwa nga tasaliddwa musango mu bwenkanya;
Ani alifaayo okumanya ebikwata ku nsibuko ye?
Kubanga yaggibwa mu nsi y’abalamu;+
Yattibwa olw’ebyonoono by’abantu bange.+
9 Yaziikibwa wamu n’ababi,+
Era n’abagagga mu kufa kwe,+
Wadde nga yali talina kibi ky’akoze
Era nga mu kamwa ke temuli bulimba.+