Engero 28:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera,*Naye akakanyaza omutima gwe ajja kufuna ebizibu.+ Lukka 22:33, 34 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 33 Awo n’amugamba nti: “Mukama wange, ndi mwetegefu okugenda naawe mu kkomera era n’okufa naawe.”+ 34 Naye n’amugamba nti: “Peetero nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima leero ojja kuba omaze okunneegaana emirundi esatu.”+ Abaggalatiya 6:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 Ab’oluganda, omuntu ne bw’aba ng’akutte ekkubo ekkyamu naye nga tannakitegeera, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mugezeeko okumutereeza, nga mukikola mu mwoyo omukkakkamu.+ Naye mwekuume,+ sikulwa nga nammwe mukemebwa.+
14 Alina essanyu omuntu aba omwegendereza buli kiseera,*Naye akakanyaza omutima gwe ajja kufuna ebizibu.+
33 Awo n’amugamba nti: “Mukama wange, ndi mwetegefu okugenda naawe mu kkomera era n’okufa naawe.”+ 34 Naye n’amugamba nti: “Peetero nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima leero ojja kuba omaze okunneegaana emirundi esatu.”+
6 Ab’oluganda, omuntu ne bw’aba ng’akutte ekkubo ekkyamu naye nga tannakitegeera, mmwe abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo mugezeeko okumutereeza, nga mukikola mu mwoyo omukkakkamu.+ Naye mwekuume,+ sikulwa nga nammwe mukemebwa.+