-
Abeefeso 4:17-19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
17 N’olwekyo, kino kye ŋŋamba era mbakubiriza mu Mukama waffe nti mulekere awo okutambula ng’ab’amawanga bwe batambula+ mu birowoozo byabwe ebitaliimu nsa.+ 18 Ebirowoozo byabwe biri mu kizikiza, era beeyawudde ku bulamu obuva eri Katonda olw’obutamanya bwe balimu n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe. 19 Olw’okuba tebakyalina nsonyi, beewaayo mu bugwagwa*+ nga balulunkanira okwenyigira mu butali bulongoofu obwa buli ngeri.
-