Ebikolwa 20:29, 30 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 29 Nkimanyi nti bwe ndivaawo, emisege emikambwe giriyingira mu mmwe+ era tegiriyisa bulungi kisibo, 30 era mu mmwe mmwennyini mulivaamu abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.+ 1 Timoseewo 4:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 4 Naye ekigambo ekyaluŋŋamizibwa Katonda kigamba* nti, mu biseera eby’omu maaso abamu bajja kuva mu kukkiriza, olw’okuwuliriza ebigambo ebibuzaabuza ebyaluŋŋamizibwa,*+ n’okuyigiriza kwa badayimooni, 2 Peetero 2:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 Kyokka era wajjawo bannabbi ab’obulimba mu bantu, ng’era bwe wajja okujjawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.+ Era mu nkiso bajja kuleetera abantu okwekutulakutulamu obubiina obw’omutawaana era bajja kwegaana mukama waabwe eyabagula,+ beereeteko okuzikirira okw’amangu. 2 Peetero 3:2, 3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 nti musaanidde okujjukira ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu n’ekiragiro Mukama waffe era Omulokozi kye yawa okuyitira mu batume bammwe. 3 Okusookera ddala, mukimanye nti mu nnaku ez’enkomerero walijjawo abasekerezi n’okusekerera kwabwe nga bagoberera okwegomba kwabwe+
29 Nkimanyi nti bwe ndivaawo, emisege emikambwe giriyingira mu mmwe+ era tegiriyisa bulungi kisibo, 30 era mu mmwe mmwennyini mulivaamu abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.+
4 Naye ekigambo ekyaluŋŋamizibwa Katonda kigamba* nti, mu biseera eby’omu maaso abamu bajja kuva mu kukkiriza, olw’okuwuliriza ebigambo ebibuzaabuza ebyaluŋŋamizibwa,*+ n’okuyigiriza kwa badayimooni,
2 Kyokka era wajjawo bannabbi ab’obulimba mu bantu, ng’era bwe wajja okujjawo abayigiriza ab’obulimba mu mmwe.+ Era mu nkiso bajja kuleetera abantu okwekutulakutulamu obubiina obw’omutawaana era bajja kwegaana mukama waabwe eyabagula,+ beereeteko okuzikirira okw’amangu.
2 nti musaanidde okujjukira ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu n’ekiragiro Mukama waffe era Omulokozi kye yawa okuyitira mu batume bammwe. 3 Okusookera ddala, mukimanye nti mu nnaku ez’enkomerero walijjawo abasekerezi n’okusekerera kwabwe nga bagoberera okwegomba kwabwe+