-
Ebikolwa 10:25, 26Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
25 Peetero bwe yali agenda okuyingira, Koluneeriyo n’amusisinkana, n’agwa ku bigere bye n’amuvunnamira. 26 Naye Peetero n’amuyimusa ng’agamba nti: “Yimuka; nange ndi muntu buntu.”+
-
-
Okubikkulirwa 22:8, 9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 Nze Yokaana, nze nnali mpulira era nze nnali ndaba ebintu bino. Bwe nnabiwulira era ne mbiraba, ne nvunnama okusinza mu maaso g’ebigere bya malayika eyali andaga ebintu bino. 9 Naye n’aŋŋamba nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola! Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi era ng’abo abakwata ebigambo eby’omu muzingo guno. Sinza Katonda.”+
-