Okubikkulirwa
22 Awo n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu,+ agatangaala ng’endabirwamu, nga gava mu ntebe ya Katonda ey’obwakabaka n’ey’Omwana gw’Endiga+ 2 ne gukulukutira mu makkati g’oluguudo olugazi. Eruuyi n’eruuyi w’omugga waaliyo emiti egy’obulamu egibala ebibala 12 buli mwaka, nga gibala buli mwezi. Era ebikoola by’emiti byali bya kuwonya mawanga.+
3 Eyo teribaayo nate kikolimo. Naye entebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga+ eriba mu kibuga, era abaddu be balimuweereza mu buweereza obutukuvu; 4 baliraba amaaso ge,+ era erinnya lye liriba ku byenyi byabwe.+ 5 Tewalibaawo kiro nate+ era tebalyetaaga kitangaala kya ttaala wadde eky’enjuba, kubanga Yakuwa* Katonda alibamulisa,+ era balifuga nga bakabaka emirembe n’emirembe.+
6 Era n’aŋŋamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima.+ Yakuwa* Katonda eyaluŋŋamya bannabbi+ atumye malayika we okulaga abaddu be ebintu ebiteekwa okubaawo amangu. 7 Laba! Nzija mangu.+ Alina essanyu oyo akwata ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu muzingo guno.”+
8 Nze Yokaana, nze nnali mpulira era nze nnali ndaba ebintu bino. Bwe nnabiwulira era ne mbiraba, ne nvunnama okusinza mu maaso g’ebigere bya malayika eyali andaga ebintu bino. 9 Naye n’aŋŋamba nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola! Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi era ng’abo abakwata ebigambo eby’omu muzingo guno. Sinza Katonda.”+
10 Era n’aŋŋamba nti: “Toteeka kabonero ku bigambo by’obunnabbi eby’omuzingo guno, kubanga ekiseera ekigereke kinaatera okutuuka. 11 Oyo akola ebitali bya butuukirivu yeeyongere okukola ebitali bya butuukirivu; era omugwagwa yeeyongere okubeera omugwagwa; naye omutuukirivu yeeyongere okukola eby’obutuukirivu, n’omutukuvu yeeyongere okubeera omutukuvu.
12 “‘Laba! Nzija mangu. Buli omu nja kumuwa empeera okusinziira ku mulimu gwe.+ 13 Nze Alufa era nze Omega,*+ asooka era asembayo, olubereberye era enkomerero. 14 Balina essanyu abo abooza ebyambalo byabwe,+ basobole okukkirizibwa okulya ku miti egy’obulamu+ n’okuyingira mu kibuga nga bayita mu miryango gyakyo.+ 15 Ebweru eriyo mbwa* n’abo abeenyigira mu by’obusamize, n’abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu,* n’abatemu, n’abasinza ebifaananyi, na buli ayagala obulimba era alimba.’+
16 “‘Nze Yesu nnatuma malayika wange okubabuulira ebintu bino, ebibiina bisobole okuganyulwa. Nze kikolo era ezzadde lya Dawudi,+ era emmunyeenye ey’oku makya eyaka ennyo.’”+
17 Omwoyo n’omugole+ tebirekera awo kugamba nti: “Jjangu!” Era buli awulira agambe nti: “Jjangu!” Era buli alumwa ennyonta ajje;+ buli ayagala atwale amazzi ag’obulamu ku bwereere.+
18 “Mpa obujulirwa eri buli muntu awulira ebigambo eby’obunnabbi eby’omu muzingo guno: Buli ayongerako ku bintu bino,+ Katonda alimwongerako ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu muzingo guno;+ 19 era buli muntu yenna aggyamu ekintu kyonna mu bigambo by’omu muzingo gw’obunnabbi buno, Katonda aliggya omugabo gwe ku miti egy’obulamu+ ne mu kibuga ekitukuvu,+ ebintu ebiwandiikiddwa mu muzingo guno.
20 “Oyo awa obujulirwa ku bintu bino agamba nti, ‘Nzija mangu.’”+
“Amiina! Jjangu, Mukama waffe Yesu.”
21 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu kibeerenga n’abatukuvu.