Isaaya 11:1 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 11 Ettabi+ lirimera ku kikolo kya Yese,+N’ensibuka+ eriva mu mirandira gye eribala ebibala. Isaaya 11:10 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 10 Ku lunaku olwo ekikolo kya Yese+ kiriyimirira ne kiba ng’akabonero* eri amawanga.+ Amawanga galijja gy’ali okufuna obulagirizi,*+N’ekifo kye eky’okuwummuliramu kiriba kya kitiibwa. Isaaya 53:2 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 2 Alikulira mu maaso ge* ng’ettabi,+ ng’omulandira mu nsi enkalu. Endabika ye si ya kikungu, era si wa kitiibwa;+Era bwe tumutunuulira, endabika ye tetusikiriza. Yeremiya 23:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndissaawo omusika* omutuukirivu okuva mu lunyiriri lwa Dawudi.+ Kabaka alifuga+ era alyoleka amagezi era n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu mu nsi.+ Yeremiya 33:15 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 15 Mu nnaku ezo ne mu kiseera ekyo nditeerawo Dawudi omusika omutuukirivu,*+ alikola eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya mu nsi.+ Okubikkulirwa 5:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 Naye omu ku bakadde n’aŋŋamba nti: “Lekera awo okukaaba. Laba! Empologoma y’omu kika kya Yuda,+ ekikolo+ kya Dawudi,+ yawangula,+ n’olwekyo agwanira okwanjuluza omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo omusanvu.”
10 Ku lunaku olwo ekikolo kya Yese+ kiriyimirira ne kiba ng’akabonero* eri amawanga.+ Amawanga galijja gy’ali okufuna obulagirizi,*+N’ekifo kye eky’okuwummuliramu kiriba kya kitiibwa.
2 Alikulira mu maaso ge* ng’ettabi,+ ng’omulandira mu nsi enkalu. Endabika ye si ya kikungu, era si wa kitiibwa;+Era bwe tumutunuulira, endabika ye tetusikiriza.
5 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndissaawo omusika* omutuukirivu okuva mu lunyiriri lwa Dawudi.+ Kabaka alifuga+ era alyoleka amagezi era n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu mu nsi.+
15 Mu nnaku ezo ne mu kiseera ekyo nditeerawo Dawudi omusika omutuukirivu,*+ alikola eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya mu nsi.+
5 Naye omu ku bakadde n’aŋŋamba nti: “Lekera awo okukaaba. Laba! Empologoma y’omu kika kya Yuda,+ ekikolo+ kya Dawudi,+ yawangula,+ n’olwekyo agwanira okwanjuluza omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo omusanvu.”