1 Bassekabaka
15 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu+ mutabani wa Nebati, Abiyaamu yafuuka kabaka wa Yuda.+ 2 Yafugira emyaka esatu mu Yerusaalemi, era nnyina yali ayitibwa Maaka,+ muzzukulu wa Abisalomu. 3 Yakola ebibi bye bimu kitaawe bye yakola, era omutima gwe tegwemalira ku Yakuwa Katonda we ng’omutima gwa Dawudi jjajjaawe. 4 Naye ku lwa Dawudi,+ Yakuwa Katonda we yamuwa ettaala mu Yerusaalemi+ n’alonda omwana we okumuddira mu bigere era n’aleka Yerusaalemi okusigalawo, 5 kubanga Dawudi yakola ebintu ebirungi mu maaso ga Yakuwa, era obulamu bwe bwonna teyawaba kuva ku kintu kyonna kye yali amulagidde, okuggyako mu nsonga ezikwata ku Uliya Omukiiti.+ 6 Ate era waabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu ekiseera kyonna eky’obulamu bwa Lekobowaamu.+
7 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Abiyaamu, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda.+ Waaliwo olutalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.+ 8 Abiyaamu yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe era baamuziika mu Kibuga kya Dawudi, Asa+ mutabani we+ n’amusikira ku bwakabaka.
9 Mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa yatandika okufuga Yuda. 10 Yafugira emyaka 41 mu Yerusaalemi, era jjajjaawe omukazi yali ayitibwa Maaka,+ muzzukulu wa Abisalomu. 11 Asa yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa+ nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. 12 Yagoba mu nsi bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu+ era n’aggyamu n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza,* bajjajjaabe bye baali bakoze.+ 13 Ate era yagoba Maaka+ jjajjaawe omukazi ku bwa nnamasole, kubanga yali akoze ekifaananyi ekyesisiwaza ekyakozesebwanga mu kusinza ekikondo ekisinzibwa.* Asa yatemaatema ekifaananyi ekyo ekyesisiwaza+ n’akyokera mu Kiwonvu Kidulooni.+ 14 Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo.+ Kyokka Asa yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, obulamu bwe bwonna.* 15 Ate era yaleeta mu nnyumba ya Yakuwa ebintu ye ne kitaawe bye baatukuza—ffeeza, zzaabu, n’ebintu ebikozesebwa ebitali bimu.+
16 Ekiseera kyonna waabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa+ kabaka wa Isirayiri. 17 Kabaka Baasa owa Isirayiri yalumba Yuda n’atandika okuzimba* Laama,+ aziyize omuntu yenna okuva eri Kabaka Asa owa Yuda oba okugenda gy’ali.*+ 18 Awo Asa n’aggya ffeeza ne zzaabu ebyali bisigadde mu mawanika g’omu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika g’omu nnyumba ya* kabaka n’abikwasa abaweereza be. Kabaka Asa n’abatuma eri Beni-kadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni, kabaka wa Busuuli,+ eyali abeera mu Ddamasiko, ng’agamba nti: 19 “Waliwo endagaano wakati wange naawe ne wakati wa kitange ne kitaawo. Nkuweerezza ekirabo kya ffeeza ne zzaabu. Genda omenye endagaano eri wakati wo ne Kabaka Baasa owa Isirayiri, anveeko.” 20 Beni-kadadi n’awuliriza Kabaka Asa, n’atuma abakulu b’amagye ge okulumba ebibuga bya Isirayiri, ne balwanyisa Yiyoni,+ Ddaani,+ Aberu-besumaaka, ekitundu kya Kinneresi kyonna, n’ekitundu kyonna ekya Nafutaali. 21 Baasa olwakiwulira, n’alekera awo okuzimba* Laama, ne yeeyongera okubeera e Tiruza.+ 22 Awo Kabaka Asa n’akunga abantu bonna ab’omu Yuda, ne baggyayo amayinja n’embaawo ebyali e Laama Baasa bye yali azimbisa, Kabaka Asa n’abizimbisa* Geba+ eky’omu Benyamini, ne Mizupa.+
23 Ebyafaayo ebirala byonna ebikwata ku Asa, ebikolwa bye byonna eby’obuzira n’ebyo byonna bye yakola, n’ebibuga bye yazimba,* biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. Naye mu kiseera eky’obukadde bwe, yalwala ebigere.+ 24 Asa yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe, Yekosafaati+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.
25 Nadabu+ mutabani wa Yerobowaamu yafuuka kabaka wa Isirayiri mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Asa owa Yuda, era yafugira Isirayiri emyaka ebiri. 26 Yakolanga ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era yatambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kibi kitaawe+ kye yaleetera Isirayiri okukola.+ 27 Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali yakolera Nadabu olukwe n’amuttira e Gibbesoni+ ekyali eky’Abafirisuuti, nga Nadabu n’Abayisirayiri bonna bazingizza Gibbesoni. 28 Baasa yamutta mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Asa owa Yuda, era Baasa n’atandika okufuga mu kifo kye. 29 Baasa olwamala okufuuka kabaka, n’atta ab’omu nnyumba ya Yerobowaamu bonna. Teyalekawo muntu wa Yerobowaamu yenna nga mulamu; yabazikiririza ddala nga Yakuwa bwe yali agambye okuyitira mu muweereza we Akiya Omusiiro.+ 30 Ekyo kyabaawo olw’ebibi Yerobowaamu bye yali akoze n’ebyo bye yaleetera Isirayiri okukola, era n’olw’okuba yanyiiza nnyo Yakuwa Katonda wa Isirayiri. 31 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Nadabu, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 32 Ekiseera kyonna waabangawo entalo wakati wa Asa ne Kabaka Baasa owa Isirayiri.+
33 Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Asa owa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya yafuuka kabaka wa Isirayiri yonna mu Tiruza, era yafugira emyaka 24.+ 34 Naye yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ era yatambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi Yerobowaamu kye yaleetera Isirayiri okukola.+