“Omulimu Gwammwe Guliweebwa Empeera”
KABAKA Asa akulembedde eggye lye nga bayita mu kiwonvu. Bava mu nsozi za Yuda ne boolekera olubalama lw’ennyanja. Bwe batuuka mu kitundu ky’ekiwonvu awagazi, Asa ayimirira era by’alaba bimwewuunyisa nnyo. Alengera eggye eddene ery’Abeesiyopiya nga ligumbye! Eggye ly’Abeesiyopiya lirimu abasirikale ng’akakadde kalamba ate ng’eggye lya Asa lirimu abaserikale ng’emitwalo ataano gyokka.
Asa alina okulwana olutalo. Naye mu mbeera eyo enzibu kiki ky’asooka okukola? Asooka kuwa baduumizi ba ggye lye biragiro? Asooka kuzzaamu maanyi basirikale be? Asooka kuwandiikira ba mu maka ge mabaluwa? Nedda, tasooka kukola ebyo. Asa asooka kusaba.
Nga tetunnaba kwekenneenya ssaala ye awamu n’ebyo ebyaliwo, ka tusooke tulabe ebikwata ku Asa. Kiki ekyamuleetera okusaba Katonda amuyambe? Ddala Asa yandisuubidde Katonda okumuyamba? Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’awaamu abaweereza be emikisa nga bafuba okukola ekituufu?
EBIKWATA KU ASA
Asa yafuuka kabaka wa Yuda mu mwaka gwa 977 E.E.T. Waali wayise emyaka 20 bukya obwakabaka bwa Isiraeri bugabanyizibwamu ebitundu bibiri. Mu kiseera ekyo obwakabaka bwa Yuda bwali bwonooneddwa nnyo okusinza okw’obulimba. N’abakungu abaali mu lubiri lwa kabaka baali basinza bakatonda b’Abakanani. Naye Bayibuli egamba nti Asa “[y]akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby’ensonga.” Asa “yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n’ebifo ebigulumivu n’amenya empagi n’atemaatema ba Asera [“ebikondo ebisinzibwa,” NW].” (2 Byom. 14:2, 3) Asa era yaggyawo abasajja “abaalyanga ebisiyaga,” ng’ekyo baakikolanga ng’ekitundu ky’okusinza kwabwe okw’obulimba. Naye okuggyawo okusinza okw’obulimba si kye kintu kyokka Asa kye yakola. Yakubiriza n’abantu “okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’okukwata amateeka n’ekiragiro” kya Katonda.—1 Bassek. 15:12, 13; 2 Byom. 14:4.
Yakuwa yasiima nnyo Asa olw’engeri gye yalwaniriramu okusinza okw’amazima, bw’atyo n’awa obwakabaka bwa Yuda emirembe okumala emyaka mingi. Kabaka Asa yagamba nti: “Tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna.” Mu kiseera ekyo eky’emirembe, abantu baasalawo okuzimba ebibuga by’obwakabaka bwa Yuda ne babiteekako bbugwe. Bayibuli egamba nti: “Ne bazimba ne balaba omukisa.”—2 Byom. 14:1, 6, 7.
ASA ALWANA OLUTALO
Asa yali akimanyi nti Yakuwa awa omukisa abo abakiraga nti balina okukkiriza. Eyo ye nsonga lwaki bwe yali agenda okulwana n’eggye erisingayo obunene eryogerwako mu Byawandiikibwa, Asa yasaba Yakuwa amuyambe. Yali akimanyi nti singa yeesiga Katonda okumuyamba, eggye ka libe ddene kwenkana wa oba lya maanyi kwenkana wa, yali asobola okuliwangula. Asa era yali akimanyi nti ebyandivudde mu lutalo olwo byandikutte ku linnya lya Yakuwa. Bwe kityo, Asa yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Tuyambe, Ai Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.” (2 Byom. 14:11) Asa yalinga agamba nti: ‘Abeesiyopiya bakulumbye Ai Yakuwa. Tokkiriza bantu bano abanafu okuwangula abantu abayitibwa erinnya lyo.’ Yakuwa yaddamu essaala ya Asa. Bayibuli egamba nti: “Mukama n’akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.”—2 Byom. 14:12.
Leero, abantu ba Yakuwa balina abalabe bangi ab’amaanyi. Abaweereza ba Yakuwa tebalwana na balabe abo nga bakozesa ebitala. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuyamba abaweereza be bonna abassa ekitiibwa mu linnya lye okuwangula olutalo lwabwe olw’eby’omwoyo. Buli omu ku ffe yeetaaga okulwanyisa omwoyo gw’ensi, obunafu bwe, oba ekintu kyonna ekiyinza okuleetera ab’omu maka ge okufiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ka kibe kizibu ki kye twolekagana nakyo, essaala ya Asa esobola okutuzzaamu amaanyi. Yakuwa ye yayamba Asa okuwangula olutalo. Naffe bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba okuwangula olutalo lwonna lwe tulwana. Tewali kintu kyonna oba muntu yenna asobola kumusinza maanyi.
AMUZZAAMU AMAANYI ERA N’AMULABULA
Bwe yali akomawo okuva mu lutalo, Asa yasisinkana nnabbi Azaliya. Nnabbi oyo yazzaamu Asa amaanyi era n’amulabula. Yagamba nti: “Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe. . . . Mubenga n’amaanyi, so n’emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu gwammwe guliweebwa empeera.”—2 Byom. 15:1, 2, 7.
Ebigambo ebyo binyweza okukkiriza kwaffe. Biraga nti Yakuwa ajja kubeera naffe singa tumuweereza n’obwesigwa. Bwe tumusaba okutuyamba, tuba bakakafu nti ajja kuwulira okusaba kwaffe. Azaliya yagamba nti: “Mubenga n’amaanyi.” Ebiseera ebisinga kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okukola ekituufu, naye tuli bakakafu nti Yakuwa asobola okutuyamba okukola ekituufu.
Jjajja wa Asa omukazi, Maaka, yali yakola “ekifaananyi ekyenyinyalwa ekyakozesebwanga mu kusinza ekikondo.” Bwe kityo, Asa yalina okumuggyako obwa “nnaabakyala,” wadde ng’ekyo tekyali kyangu. Naye ekyo Asa yakikola era n’ayokya n’ekifaananyi ekyo. (1 Bassek. 15:13, NW) Yakuwa yawa Asa omukisa olw’okwoleka obuvumu n’akola ekituufu. Naffe tusaanidde okugondera Yakuwa n’okukola by’ayagala ne bwe kiba nti ab’eŋŋanda zaffe si beesigwa gy’ali. Bwe tukola tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi.
Ogumu ku mikisa Asa gye yafuna kwe kulaba ng’Abaisiraeri bangi bava mu bwakabaka kyewaggula obw’ebukiikakkono nga bajja mu Yuda oluvannyuma lw’okukiraba nti Yakuwa yali wamu ne Asa. Olw’okuba baali baagala nnyo okusinza okw’amazima, baasalawo okuleka ebintu byabwe ne bagenda mu Yuda okubeera awamu n’abantu abaali baweereza Yakuwa. Oluvannyuma Asa n’abantu ba Yuda bonna baakola ‘endagaano okunoonya Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna.’ Biki ebyavaamu? Baazuula Katonda era “Mukama n’abawa okuwummula enjuyi zonna.” (2 Byom. 15:9-15) Nga kisanyusa nnyo okulaba abantu bangi abaagala obutuukirivu nga basalawo okwegatta ku kusinza okw’amazima!
Kyokka mu bigambo nnabbi Azaliya bye yagamba Asa, mwalimu okulabula okw’amaanyi. Yamugamba nti: ‘Bwe munaavanga ku Yakuwa, naye anaabavangako.’ Tetulina kukikkiriza ekyo kututuukako, kubanga ebivaamu biba bibi nnyo! (2 Peet. 2:20-22) Ebyawandiikibwa tebiraga nsonga lwaki Yakuwa yasindika Azaliya okulabula Asa, naye ekituufu kiri nti Asa teyakolera ku kulabula okwo.
“OKOZE EKY’OBUSIRUSIRU”
Mu mwaka ogwa 36 ogw’obufuzi bwa Asa, Kabaka Baasa owa Isiraeri yalumba Yuda. Baasa yatandika okuzimba bbugwe w’ekibuga Laama, ekisangibwa mayiro ttaano mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi, oboolyawo ng’ayagala okuziyiza abantu be okugenda ewa Asa n’okusinza Yakuwa. Mu kifo ky’okusaba Yakuwa amuyambe nga bwe yakola ng’Abeesiyopiya bamulumbye, Asa obuyambi yasalawo kubunoonyeza mu bantu. Yaweereza kabaka wa Busuuli ekirabo, era n’amusaba okulumba obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebukiikakkono. Abasuuli bwe baalumba obwakabaka obwo, Baasa yalekera awo okuzimba Laama.—2 Byom. 16:1-5.
Ekyo Asa kye yakola tekyasanyusa Yakuwa, bw’atyo Yakuwa yasindika nnabbi Kanani okumunenya. Okuva bwe kiri nti Asa yali amanyi bulungi engeri Katonda gye yali amuyambyemu okuwangula Abeesiyopiya, Asa yandibadde akijjukira nti “amaaso ga [Yakuwa] gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” Oboolyawo waliwo eyawa Asa amagezi amabi oba yalowooza nti eggye lya Baasa teryali lya maanyi nnyo era nti yali asobola okwesalira amagezi n’aliwangula. K’ebe nsonga ki eyamuleetera okukola bw’atyo, Asa yeesiga abantu mu kifo ky’okwesiga Yakuwa. Kanani yamugamba nti: “Mu kino okoze eky’obusirusiru; olw’ekyo okuva leero ojja kubanga n’entalo.”—2 Byom. 16:7-9.
Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, yasunguwala nnyo era n’asiba nnabbi Kanani mu nvuba. (2 Byom. 16:10) Okuva bwe kiri nti Asa yali amaze emyaka mingi ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa, kyandiba nti yalowooza nti yali teyeetaaga kunenyezebwa? Oba okuva bwe kiri nti yali akaddiye, kyandiba nti yali takyategeera bulungi? Ekyo Bayibuli tekitubuulira.
Mu mwaka gwa 39 ogw’obufuzi bwe, Asa yafuna obulwadde obw’amaanyi mu bigere. Bayibuli egamba nti: “Bwe yalwala n’atagenda eri Mukama naye eri abasawo.” Kirabika nti mu kiseera ekyo Asa yali anafuye nnyo mu by’omwoyo, era kirabika yeeyongera okuba bw’atyo okutuusizza ddala lwe yafa mu mwaka ogwa 41 ogw’obufuzi bwe.—2 Byom. 16:12-14.
Wadde nga Asa yakola ensobi, Yakuwa yasigala ajjukira engeri ennungi ze yayoleka n’engeri gye yalwaniriramu okusinza okw’amazima. Teyalekera awo kuweereza Yakuwa. (1 Bassek. 15:14) Kati olwo kiki kye tuyigira ku Asa? Okujjukira engeri Yakuwa gye yatuyambamu mu biseera eby’emabega kijja kutukubiriza okumusaba atuyambe nga twolekaganye n’ebizibu. Era tetusaanidde kulowooza nti tetwetaaga kuwabulwa olw’okuba tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tumuweereza, Yakuwa ajja kweyongera okutuwabula. Bw’atuwabula, tusaanidde okukkiriza ensobi zaffe tusobole okuganyulwa. N’ekisinga byonna, Kitaffe ow’omu ggulu ajja kuba naffe singa tusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula okubuna ensi yonna ng’anoonya abo abeesigwa gy’ali. Ayagala okukozesa amaanyi ge okubayamba. Yayamba Asa era naffe ajja kutuyamba.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]
Yakuwa ajja kuwa emikisa abaweereza be abeesigwa abalwana olutalo olw’eby’omwoyo
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 10]
Kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa