Isaaya
43 Kaakano bw’ati Yakuwa bw’agamba,
Oyo eyakutonda ggwe Yakobo, Oyo eyakubumba ggwe Isirayiri:+
“Totya, kubanga nnakununula.+
Nnakuyita erinnya lyo.
Oli wange.
Bw’oliyita mu muliro, tegulikwokya,
Wadde ennimi zaagwo okukubabula.
3 Kubanga nze Yakuwa Katonda wo,
Omutukuvu wa Isirayiri, Omulokozi wo.
Mpaddeyo Misiri okuba ekinunulo kyo,
Mpaddeyo Esiyopiya ne Seeba mu kifo kyo.
Kyendiva mpaayo abantu
N’amawanga okuwonya obulamu bwo.
5 Totya, kubanga ndi wamu naawe.+
Ndiggya ezzadde lyo ebuvanjuba
Ndibakuŋŋaanya mmwe okuva ebugwanjuba.+
6 Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Baleke!’+
N’obukiikaddyo nti, ‘Tobalemera.
Leeta abaana bange ab’obulenzi okuva ewala, n’abaana bange ab’obuwala okuva ensi gy’ekoma,+
7 Buli ayitibwa erinnya lyange+
Era gwe nnatonda olw’ekitiibwa kyange,
Gwe nnabumba era gwe nnakola.’+
8 Leeta abantu abatalaba, wadde nga balina amaaso,
Era abatawulira, wadde nga balina amatu.+
Ani ku bo* ayinza okwogera kino?
Oba, bayinza okutumanyisa ebintu ebisooka?*+
Ka baleete abajulirwa baabwe bakakase nti batuufu,
Oba ka bawulire bagambe nti, ‘Ago ge mazima!’”+
10 “Mmwe muli bajulirwa bange,”+ Yakuwa bw’agamba,
“Omuweereza wange gwe nnalonda,+
Musobole okummanya era munzikiririzeemu*
Era mutegeere nti sikyuka.+
Tewali Katonda yakolebwa okusooka nze,
Era tewali mulala yanziririra.+
11 Nze Yakuwa;+ tewali mulokozi mulala, okuggyako nze.”+
N’olwekyo muli bajulirwa bange,” Yakuwa bw’agamba, “era nze Katonda.+
Bwe mbaako kye nkola, ani ayinza okukiziyiza?”+
14 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, Omununuzi wo,+ Omutukuvu wa Isirayiri:+
“Ku lwammwe ndituma e Babulooni ne bamenya ebisiba enzigi byonna,+
Era Abakaludaaya balikaabira mu byombo byabwe nga bali mu buyinike.+
15 Nze Yakuwa, Omutukuvu wammwe,+ Omutonzi wa Isirayiri,+ Kabaka wammwe.”+
16 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
Oyo akola oluguudo mu nnyanja
N’ekkubo mu mazzi agafuukuuse,+
17 Oyo afulumya eggaali ly’olutalo n’embalaasi,+
Eggye n’abalwanyi ab’amaanyi:
“Baligalamira ne batagolokoka.+
Balizikizibwa, balizikira ng’olutambi olwaka.”
18 “Temujjukira bintu ebyayita,
Era temulowooza ku bintu eby’edda.
19 Laba! Nkola ekintu ekipya;+
Ne kaakano kitandise okweyoleka.
Temukiraba?
20 Ensolo ez’omu nsiko zijja kumpa ekitiibwa,
Ebibe ne maaya,
Kubanga ndeeta amazzi mu lukoola,
Emigga mu ddungu,+
Abantu bange, abalonde bange,+ banywe,
21 Abantu be nnatonda
Basobole okulangirira ettendo lyange.+
23 Tondeetedde ndiga ez’ebiweebwayo byo ebyokebwa
Wadde okungulumiza ne ssaddaaka zo.
Sikuwalirizza kundeetera kirabo
Wadde okukukooya nga nkusaba obubaani obweru.+
Mu kifo ky’ekyo wantikka mugugu gwa bibi byo
Era n’onkooya n’ensobi zo.+
26 Nzijukiza; ka buli omu ayogere ky’avunaana munne;
Weewozeeko olage nti oli mutuufu.
28 Kyendiva mmalamu ekitiibwa abaami b’omu kifo ekitukuvu;
Ndiwaayo Yakobo okuzikirizibwa
Era ndireka Isirayiri okuvumibwa.+