Yeremiya
32 Yakuwa yayogera ne Yeremiya mu mwaka ogw’ekkumi ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya owa Yuda, ng’ogwo gwe gwali omwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Nebukadduneeza.*+ 2 Mu kiseera ekyo amagye ga kabaka wa Babulooni gaali gazingizza Yerusaalemi, era nga nnabbi Yeremiya asibiddwa mu Luggya lw’Abakuumi+ mu nnyumba ya* kabaka wa Yuda. 3 Kabaka Zeddeekiya owa Yuda yali amusibye+ ng’agamba nti, “Lwaki olagula bw’oti? Ogamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ekibuga kino nja kukiwaayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kukiwamba,+ 4 era Kabaka Zeddeekiya owa Yuda tajja kusimattuka Bakaludaaya, kubanga ajja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kwogera naye maaso ku maaso.”’+ 5 ‘Ajja kutwala Zeddeekiya e Babulooni abeere eyo okutuusa lwe ndisalawo eky’okumukolera,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Wadde mulwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula.’”+
6 Yeremiya n’agamba nti: “Yakuwa aŋŋambye nti, 7 ‘Kanameri mutabani wa Salumu kitaawo omuto ajja kujja akugambe nti: “Weegulire ekibanja mu Anasosi,+ kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw’okukinunula.”’”+
8 Kanameri mutabani wa taata wange omuto yajja gye ndi mu Luggya lw’Abakuumi nga Yakuwa bwe yali agambye, n’aŋŋamba nti: “Nkwegayiridde gula ekibanja kyange mu Anasosi, mu kitundu kya Benyamini, kubanga ggwe olina obuyinza okukitwala n’okukinunula. Kyegulire.” Awo ne mmanya nti ekyo kyali bwe kityo olw’ekigambo kya Yakuwa.
9 Awo ne ngula ekibanja kya Kanameri mutabani wa taata wange omuto mu Anasosi. Nnamupimira ssente,+ sekeri* musanvu n’ebitundu bya ffeeza kkumi, 10 ne mpandiika endagaano,+ ne ngissaako akabonero, ne mpita abajulizi,+ era ne mpima ssente ku minzaani. 11 Nnakwata endagaano ey’obuguzi eyateekebwako akabonero nga bwe kirina okuba mu mateeka n’ebiragiro, awamu n’eyo etaaliko kabonero, 12 era endagaano ey’obuguzi ne ngiwa Baluki+ mutabani wa Neriya+ mutabani wa Maseya nga waliwo Kanameri mutabani wa taata wange omuto, abajulizi abassa omukono ku ndagaano y’obuguzi, era n’Abayudaaya bonna abaali batudde mu Luggya lw’Abakuumi.+
13 Ne ŋŋamba Baluki mu maaso gaabwe nti: 14 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Twala endagaano zino, endagaano ey’obuguzi, eriko akabonero n’etaliiko kabonero, oziteeke mu kibya eky’ebbumba, zisobole okuwangaala ekiseera ekiwanvu.’ 15 Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Ennyumba n’ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu bijja kuddamu okugulibwa mu nsi eno.’”+
16 Bwe nnamala okuwa Baluki mutabani wa Neriya endagaano ey’obuguzi, ne nsaba Yakuwa nga ŋŋamba nti: 17 “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Ggwe wakola eggulu n’ensi ng’okozesa amaanyi go amangi+ n’omukono gwo ogugoloddwa. Tewali kikulema, 18 ggwe alaga enkumi n’enkumi okwagala okutajjulukuka, naye n’obonereza abaana olw’ensobi za bakitaabwe,*+ ggwe Katonda ow’amazima, ow’ekitiibwa, era ow’amaanyi; erinnya lyo ggwe Yakuwa ow’eggye. 19 Ebigendererwa byo bya kitalo era ebikolwa byo bya maanyi;+ amaaso go galaba amakubo g’abantu gonna,+ osobole okuwa buli muntu okusinziira ku makubo ge n’ebikolwa bye.+ 20 Wakola obubonero n’ebyamagero mu nsi ya Misiri ebimanyiddwa ne leero, ne weekolera erinnya mu Isirayiri ne mu bantu bonna+ nga bwe kiri leero. 21 Ate era waggya abantu bo Isirayiri mu nsi ya Misiri ng’okola obubonero n’ebyamagero ng’okozesa omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa, era n’okola n’eby’entiisa.+
22 “Oluvannyuma wabawa ensi eno gye walayira okuwa bajjajjaabwe,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 23 Bajja ne bagifuna, naye tebaagondera ddoboozi lyo wadde okutambulira mu mateeka go. Tebaakola na kimu ku ebyo bye wabalagira okukola, kyewava obatuusaako akabi kano konna.+ 24 Laba! Abantu bazze ne bakola ebifunvu okuwamba ekibuga,+ era olw’ekitala,+ n’enjala, n’endwadde,+ ekibuga kijja kugwa mu mikono gy’Abakaludaaya abakirwanyisa; byonna bye wayogera bituukiridde nga bw’olaba. 25 Naye, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, oŋŋambye nti, ‘Weegulire ekibanja era oyite abajulizi,’ wadde ng’ekibuga kijja kuweebwayo mu mukono gw’Abakaludaaya.”
26 Awo Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 27 “Nze Yakuwa Katonda w’abantu bonna, waliwo ekintu kyonna ekiyinza okunnema? 28 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Laba mpaayo ekibuga kino eri Abakaludaaya ne mu mukono gwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, era ajja kukiwamba.+ 29 Ate era Abakaludaaya abalwanyisa ekibuga kino bajja kujja bakikumeko omuliro bakyokye+ awamu n’ennyumba ez’obusolya abantu kwe baaweerangayo ssaddaaka eri Bbaali, era kwe baaweerangayo ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri bakatonda abalala okunnyiiza.’+
30 “‘Abantu b’omu Isirayiri n’ab’omu Yuda bakoze bintu bibi byokka mu maaso gange okuviira ddala mu buto bwabwe;+ abantu b’omu Isirayiri bannyiiza olw’ebyo bye bakola n’emikono gyabwe,’ Yakuwa bw’agamba. 31 ‘Ekibuga kino, okuva ku lunaku lwe kyazimbibwa okutuusa leero, kindeetedde obusungu n’ekiruyi,+ n’olwekyo kiteekwa okuggibwa mu maaso gange,+ 32 olw’ebintu ebibi byonna abantu b’omu Isirayiri ne Yuda bye bakoze okunnyiiza—bo bennyini, bakabaka baabwe,+ abaami baabwe,+ bakabona baabwe, bannabbi baabwe,+ n’abantu b’omu Yuda era n’ababeera mu Yerusaalemi. 33 Bankuba amabega ne batantunuulira;+ wadde nga nnagezaako enfunda n’enfunda okubayigiriza,* tewali n’omu ku bo eyawuliriza asobole okugololwa.+ 34 Baateeka ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange bagifuule etali nnongoofu.+ 35 Ate era baazimba ebifo ebigulumivu eby’okusinzizaamu Bbaali mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu*+ okwokya* mu muliro batabani baabwe ne bawala baabwe okubawaayo eri Moleki;+ ekintu kye sibaragirangako+ era ekitayingirangako mu mutima gwange* kukola kintu ng’ekyo eky’omuzizo, ekyaleetera Yuda okwonoona.’
36 “Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku kibuga kino kye mugamba nti ekitala, n’enjala, n’endwadde bijja kukiweesaayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, 37 ‘Laba, nja kubakuŋŋaanya mbaggye mu nsi gye nnabasaasaanyiza nga ndiko obusungu bungi n’ekiruyi,+ era nja kubakomyawo mu kifo kino babeere mu mirembe.+ 38 Bajja kubeera bantu bange, era nange nja kubeera Katonda waabwe.+ 39 Nja kubawa omutima gumu+ n’ekkubo limu bantyenga, ku lw’obulungi bwabwe ne ku lw’obulungi bw’abaana baabwe abalibaddirira.+ 40 Ate era nja kukola nabo endagaano ey’olubeerera+ nti sirirekera awo kubakolera birungi;+ nja kubateekamu okuntya mu mitima gyabwe, baleme okunvaako.+ 41 Nnaasanyukanga okubakolera ebirungi,+ era nja kubasimba mu nsi eno+ n’omutima gwange gwonna n’amaanyi gange gonna.’”
42 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nga bwe nnaleeta akabi ak’amaanyi ku bantu bano, bwe ntyo bwe nnaabakolera ebirungi bye mbasuubiza.+ 43 Ebibanja bijja kuddamu okugulibwa mu nsi eno,+ wadde nga mugamba nti: “Ensi efuuse matongo, teriimu bantu wadde ensolo, era eweereddwayo eri Abakaludaaya.”’
44 “‘Ebibanja bijja kugulibwa, endagaano z’obuguzi zijja kukolebwa era ziteekebweko obubonero, n’abajulizi bajja kuyitibwa bajje mu kitundu kya Benyamini,+ mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, mu bibuga bya Yuda,+ mu bibuga eby’omu kitundu eky’ensozi, mu bibuga eby’omu lusenyi,+ ne mu bibuga eby’ebukiikaddyo, kubanga nja kukomyawo abantu baabwe abaawambibwa,’+ Yakuwa bw’agamba.”