2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
8 Emyaka 20 bwe gyaggwaako, Sulemaani gye yazimbiramu ennyumba ya Yakuwa n’ennyumba ye,*+ 2 Sulemaani n’addamu okuzimba ebibuga Kiramu+ bye yali amuwadde, era n’abisenzaamu Abayisirayiri.* 3 Ate era Sulemaani yagenda e Kamasi-zoba n’akiwamba. 4 N’azimba* Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna bye yali azimbye mu Kamasi+ ebyali eby’okuterekangamu ebintu.+ 5 Yazimba ne Besu-kolooni ow’eky’Engulu+ ne Besu-kolooni ow’eky’Emmanga,+ ebibuga ebinywevu ebyaliko bbugwe, enzigi, n’ebisiba; 6 n’azimba ne Bbaalasi+ n’ebibuga bya Sulemaani byonna ebyali eby’okuterekangamu ebintu, n’azimba n’ebibuga byonna omwaterekebwanga amagaali+ n’ebibuga eby’abeebagazi b’embalaasi, na buli kyonna Sulemaani kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yali afuga.
7 Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n’Abaamoli n’Abaperizi n’Abakiivi n’Abayebusi,+ abantu abataali Bayisirayiri,+ 8 kwe kugamba, bazzukulu baabwe abaali basigaddewo mu nsi—abo abataazikirizibwa Bayisirayiri+—Sulemaani yabakozesanga emirimu egy’obuddu, era bakyagikola n’okutuusa leero.+ 9 Naye tewali n’omu ku Bayisirayiri gwe yafuula omuddu okukolanga emirimu gye,+ kubanga baali balwanyi be era baakuliranga abaami be n’abaali bavuga amagaali ge n’abasajja be abeebagala embalaasi.+ 10 Waaliwo abaami 250 abaakuliranga abo abaalabiriranga emirimu gya Kabaka Sulemaani, era abo be baali bannampala b’abakozi.+
11 Awo Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo+ mu Kibuga kya Dawudi n’amutwala mu nnyumba gye yali amuzimbidde,+ kubanga yagamba nti: “Wadde ng’ono mukazi wange, talina kubeera mu nnyumba ya Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo Essanduuko ya Yakuwa mwe yajja bitukuvu.”+
12 Awo Sulemaani n’awaayo ssaddaaka ezookebwa+ eri Yakuwa ku kyoto+ kya Yakuwa kye yali azimbye mu maaso g’ekisasi.+ 13 Yagoberera enkola eya buli lunaku n’awangayo ebiweebwayo ng’ekiragiro kya Musa bwe kyalagira okubiwaayo ku Ssabbiiti,+ ku kuboneka kw’omwezi,+ ku mbaga ezaalagirwa emirundi esatu mu mwaka+—Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse,+ Embaga ey’Amakungula,+ n’Embaga ey’Ensiisira.+ 14 Ate era nga Dawudi kitaawe bwe yalagira, yateekawo ebibinja bya bakabona+ okukola emirimu gyabwe, era n’Abaleevi mu bifo byabwe bye baaweererezangamu, okutenderezanga+ n’okuyambangako* bakabona ng’enkola eya buli lunaku bwe yabanga. Yateekawo n’abakuumi b’oku miryango mu bibinja byabwe okukuumanga emiryango egy’enjawulo,+ kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda ow’amazima bwe yalagira. 15 Tebaava ku biragiro kabaka bye yawa bakabona n’Abaleevi ebikwata ku nsonga yonna ne ku materekero. 16 Omulimu gwa Sulemaani gwonna gwakolebwa mu ngeri entegeke obulungi, okuva ku lunaku omusingi gw’ennyumba ya Yakuwa lwe gwatandika okuzimbibwa+ okutuusa lwe yamalirizibwa. Bw’etyo ennyumba ya Yakuwa n’eggwa.+
17 Awo Sulemaani n’agenda mu Eziyoni-geberi+ ne mu Erosi+ ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu.+ 18 Kiramu+ yamuweereza ebyombo n’abalunnyanja abaalina obumanyirivu ng’ayita mu baweereza be. Baagenda n’abaweereza ba Sulemaani mu Ofiri+ ne baggyayo ttalanta* za zzaabu 450+ ne bazireetera Kabaka Sulemaani.+