Ezera
7 Oluvannyuma lw’ebyo, Alutagizerugiizi+ bwe yali afuga nga kabaka wa Buperusi, Ezera*+ yakomawo. Yali mutabani wa Seraya,+ mutabani wa Azaliya, mutabani wa Kirukiya,+ 2 mutabani wa Salumu, mutabani wa Zadooki, mutabani wa Akitubu, 3 mutabani wa Amaliya, mutabani wa Azaliya,+ mutabani wa Merayosi, 4 mutabani wa Zerakiya, mutabani wa Uzzi, mutabani wa Bukki, 5 mutabani wa Abisuwa, mutabani wa Fenekaasi,+ mutabani wa Eriyazaali,+ mutabani wa Alooni+ kabona omukulu. 6 Ezera oyo yava e Babulooni n’ajja; yali mukoppolozi* eyali amanyi obulungi Amateeka* ga Musa,+ Yakuwa Katonda wa Isirayiri ge yawa. Kabaka yakkiriza okumuwa byonna bye yasaba, kubanga omukono gwa Yakuwa Katonda we gwamuliko.
7 Awo abamu ku Bayisirayiri, bakabona, Abaleevi,+ abayimbi,+ abakuumi b’oku miryango,+ n’abaweereza b’oku yeekaalu*+ ne bagenda e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugiizi. 8 Ezera yatuuka e Yerusaalemi mu mwezi ogw’okutaano mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka oyo. 9 Yava e Babulooni ku lunaku olusooka olw’omwezi ogusooka, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’okutaano, kubanga omukono omulungi ogwa Katonda we gwamuliko.+ 10 Ezera yateekateeka omutima gwe* okunoonya Amateeka ga Yakuwa n’okugakolerako,+ era n’okuyigiriza mu Isirayiri ebiragiro n’ennamula ebyalimu.+
11 Bino bye byali mu bbaluwa Kabaka Alutagizerugiizi gye yawa Ezera kabona era omukoppolozi,* omukugu mu kwekenneenya ebiragiro* bya Yakuwa n’amateeka ge bye yawa Isirayiri:
12 * “Nze Alutagizerugiizi+ kabaka wa bakabaka, mpandiikira Ezera kabona era omukoppolozi* w’Amateeka ga Katonda w’eggulu: Emirembe gibe naawe. Kaakano 13 ndagidde nti Abayisirayiri bonna mu bwakabaka bwange ne bakabona baabwe n’Abaleevi abaagala okugenda naawe e Yerusaalemi bagende.+ 14 Otumiddwa kabaka n’abawabuzi be omusanvu ogende olabe obanga abantu ba Yuda n’aba Yerusaalemi bakwata Amateeka ga Katonda wo g’olina,* 15 era otwale ffeeza ne zzaabu kabaka n’abawabuzi be bye bawaddeyo kyeyagalire eri Katonda wa Isirayiri abeera mu Yerusaalemi, 16 awamu ne ffeeza ne zzaabu byonna by’okuŋŋaanya* mu ssaza lyonna erya Babulooni, awamu n’ekirabo abantu ne bakabona kye bawaayo kyeyagalire eri ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi.+ 17 Mangu ddala ssente ezo ojja kuzigulamu ente ennume,+ endiga ennume,+ endiga ento,+ n’ebiweebwayo ebigenderako eby’emmere ey’empeke+ n’eby’eby’okunywa,+ era ojja kubiwaayo ku kyoto ky’ennyumba ya Katonda wo eri mu Yerusaalemi.
18 “Ffeeza ne zzaabu anaaba asigaddewo ggwe ne baganda bo mujja kumukolamu kye munaalaba nga kirungi, nga Katonda wammwe bw’ayagala. 19 Era ebintu byonna ebikuweereddwa bikozesebwe mu buweereza bw’ennyumba ya Katonda wo, bitwale mu maaso ga Katonda e Yerusaalemi.+ 20 Ebirala ebyetaagisa mu nnyumba ya Katonda wo nga ggwe olina okubiwaayo, ojja kubiggya mu ggwanika lya kabaka obiweeyo.+
21 “Era nze Kabaka Alutagizerugiizi ndagidde abawanika bonna abali Emitala w’Omugga* nti ebintu byonna Ezera+ kabona era omukoppolozi* w’Amateeka ga Katonda w’eggulu by’anaabasaba mubimuwe mu bwangu, 22 ne bwe zinaaba ttalanta* za ffeeza 100, koro* z’eŋŋaano 100, basi* z’omwenge+ 100, basi z’amafuta+ 100, n’omunnyo+ gwonna ogunaaba gwetaagisa. 23 Kyonna Katonda w’eggulu ky’anaalagira ekikwata ku nnyumba ya Katonda w’eggulu+ kirina okukolebwa n’obunyiikivu, obusungu bwe buleme okubuubuukira amatwale ga kabaka n’abaana be.+ 24 Era mutegeezebwa nti tekikkirizibwa kuggya musolo oba mpooza+ oba musolo ogw’oku nguudo ku bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi,+ n’abakuumi b’oku miryango, n’abaweereza b’oku yeekaalu,*+ n’abakola ku nnyumba ya Katonda.
25 “Era ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda wo ge yakuwa,* londa abaami n’abalamuzi, balamulenga abantu bonna abali Emitala w’Omugga, abo bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo; omuntu yenna anaaba tagamanyi mumuyigirize.+ 26 Era buli atagondera Mateeka ga Katonda wo n’amateeka ga kabaka aweebwe mangu ekibonerezo, oba kya kuttibwa, oba kya kugobebwa mu kitundu, oba kya kutanzibwa ssente, oba kya kusibibwa.”
27 Atenderezebwe Yakuwa Katonda wa bajjajjaffe eyateeka mu mutima gwa kabaka ekirowoozo ky’okunyiriza ennyumba ya Yakuwa eri mu Yerusaalemi!+ 28 Yandaga okwagala okutajjulukuka mu maaso ga kabaka+ n’abawabuzi be+ n’abaami be bonna ab’amaanyi. Era nnafuna amaanyi olw’okuba omukono gwa Yakuwa Katonda wange gwandiko, ne nkuŋŋaanya mu Bayisirayiri abakulu* ab’okugenda nange.