Ebikolwa
26 Agulipa+ n’agamba Pawulo nti: “Okkirizibwa okwewozaako.” Pawulo n’agolola omukono gwe n’atandika okwewozaako ng’agamba nti:
2 “Kabaka Agulipa, ndi musanyufu okuba nti mpoleza mu maaso go leero ebintu byonna Abayudaaya bye banvunaana,+ 3 n’okusingira ddala olw’okuba omanyi bulungi empisa z’Abayudaaya zonna n’enkaayana zaabwe. N’olwekyo nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.
4 “Mu butuufu, enneeyisa yange okuviira ddala mu buvubuka nga ndi mu bantu bange* ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna+ 5 ababaddenga nange bagimanyi, bwe baba baagala bayinza okumpaako obujulirwa nti nnali mu kibiina ky’eddiini ekisinga okukwata enjigiriza z’eddiini yaffe,+ nnali Mufalisaayo.+ 6 Naye kati nvunaanibwa olw’essuubi lye nnina mu kisuubizo Katonda kye yawa bajjajjaffe;+ 7 era ekyo kye kisuubizo kye kimu ebika byaffe ekkumi n’ebibiri kye bisuubira okutuukirizibwa nga bifuba nnyo okuweereza Katonda emisana n’ekiro. Ai kabaka, Abayudaaya banvunaana olw’essuubi lino lye nnina.+
8 “Lwaki temukkiriza nti Katonda azuukiza abafu? 9 Nze kennyini nnalowoozanga nti nnali nteekeddwa okukola ebintu bingi ebiziyiza ekibiina ekiyitibwa erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi. 10 Ekyo kyennyini kye nnakola mu Yerusaalemi; nnateeka mu kkomera abatukuvu bangi,+ kubanga nnali nfunye obuyinza okuva eri bakabona abakulu;+ era bwe baabanga bagenda okuttibwa, nnakiwagiranga. 11 Emirundi mingi nnababonerezanga mu makuŋŋaaniro gonna nga ngezaako okubawaliriza okwegaana enzikiriza yaabwe; era olw’okuba nnabasunguwalira nnyo, nnabayigganyanga ne mu bibuga ebirala.
12 “Lwali lumu, nga ŋŋenda e Ddamasiko era nga nfunye obuyinza n’ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, 13 Ai Kabaka, nga ndi mu kkubo mu ssaawa ez’omu ttuntu, ekitangaala okuva mu ggulu ekisinga eky’enjuba ne kyaka okunneetooloola awamu n’abo be nnali ntambula nabo.+ 14 Ffenna bwe twali tugudde wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya? Okusamba emiwunda* kirumya ggwe.’ 15 Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’aŋŋamba nti: ‘Nze Yesu, gw’oyigganya. 16 Naye situka oyimirire. Nkulabikidde nkulonde okubeera omuweereza era omujulirwa ku bintu by’olabye n’ebyo bye nnaakulaga ebinkwatako.+ 17 Era nja kukuwonya abantu bano n’ab’amawanga gye nkutuma+ 18 okubazibula amaaso,+ okubaggya mu kizikiza+ badde mu kitangaala,+ n’okubaggya mu buyinza bwa Sitaani+ badde eri Katonda, basobole okusonyiyibwa ebibi byabwe+ era bafune obusika mu abo abaatukuzibwa olw’okunzikiririzaamu.’
19 “N’olw’ensonga eyo, Kabaka Agulipa, saajeemera bubaka bwe nnafuna okuyitira mu kwolesebwa okwava mu ggulu, 20 naye nnasookera ku b’omu Ddamasiko+ oluvannyuma ne ŋŋenda mu Yerusaalemi,+ ne mu kitundu kyonna eky’e Buyudaaya, ne mu b’amawanga nga mbagamba beenenye badde eri Katonda, nga bakola ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.+ 21 Abayudaaya kyebaava bankwatira mu yeekaalu ne bagezaako okunzita.+ 22 Naye olw’okuba nfunye obuyambi okuva eri Katonda, n’okutuusa leero nkyawa abantu ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa obujulirwa, nga sirina kirala kyonna kye njogera okuggyako ebyo Bannabbi ne Musa bye baayogera nti byali bya kubaawo+— 23 nti Kristo yali wa kubonaabona,+ era nti ng’oyo eyandisoose okuzuukira mu bafu,+ yali agenda kubuulira abantu bano n’ab’amawanga+ ebikwata ku kitangaala.”
24 Bwe yali ng’akyayogera ebintu ebyo nga yeewozaako, Fesuto n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Pawulo, ogudde eddalu! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!” 25 Naye Pawulo n’amugamba nti: “Sigudde ddalu ow’Ekitiibwa Fesuto, naye njogera ebigambo eby’amazima era eby’amagezi. 26 Mazima ddala, kabaka gwe njogera naye awatali kutya amanyi bulungi nnyo ebintu bino; ndi mukakafu nti tewali na kimu ky’atamanyi kubanga tebyakolebwa mu nkukutu.+ 27 Kabaka Agulipa, okkiririza mu Bannabbi? Nkimanyi nti obakkiririzaamu.” 28 Agulipa n’agamba Pawulo nti: “Mu kaseera katono wandinsendasenda ne nfuuka Omukristaayo.” 29 Pawulo n’agamba nti: “Ka kabe kaseera katono oba kiseera kinene, nze kye nsaba Katonda kiri nti si ggwe wekka naye n’abo bonna abampuliriza leero bafuuke nga nze, naye nga tebasibiddwa.”
30 Awo kabaka n’ayimirira, ne gavana, ne Berenike, n’abasajja abaali batudde nabo. 31 Bwe baali bagenda ne bagambagana nti: “Omusajja ono talina kye yakola kimugwanyiza kufa wadde okusibibwa.”+ 32 Agulipa n’agamba Fesuto nti: “Omusajja ono yandibadde asumululwa singa teyajulira Kayisaali.”+