Eby’Abaleevi
16 Yakuwa n’ayogera ne Musa oluvannyuma lw’okufa kwa batabani ba Alooni ababiri, abaafa olw’okusemberera Yakuwa.+ 2 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja buli w’ayagalidde munda w’olutimbe+ mu kifo ekitukuvu,+ mu maaso g’eky’okubikkako ekiri ku Ssanduuko, aleme okufa;+ kubanga nja kulabikiranga mu kire+ waggulu w’eky’okubikkako.+
3 “Alooni anajjanga na bino mu kifo ekitukuvu: ente ennume ento ey’ekiweebwayo olw’ekibi+ n’endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa.+ 4 Anaayambalanga ekyambalo ekitukuvu ekya kitaani,+ n’empale ennyimpi* eya kitaani+ ey’okubikka omubiri gwe, ne yeesiba mu kiwato eky’okwesiba ekya kitaani,+ era ne yeesiba n’ekiremba ekya kitaani+ ku mutwe. Ebyo byambalo bitukuvu,+ era anaanaabanga amazzi+ n’alyoka abyambala.
5 “Anaafunanga okuva eri ekibiina ky’Abayisirayiri+ embuzi ento ennume bbiri ez’ekiweebwayo olw’ekibi n’endiga ento ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa.
6 “Alooni anaawangayo ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye, ne yeetangirira+ ye n’ennyumba ye.
7 “Anaatwalanga embuzi bbiri n’aziyimiriza mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 8 Embuzi ezo ebbiri Alooni anaazikubiranga akalulu okusobola okulondako eya Yakuwa n’eya Azazeri.* 9 Alooni anaaleetanga embuzi eneebanga erondeddwa mu kalulu+ okuba eya Yakuwa, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo olw’ekibi. 10 Naye embuzi eneebanga erondeddwa mu kalulu okuba eya Azazeri, eneereetebwanga nga nnamu n’eyimirizibwa mu maaso ga Yakuwa n’ekolebwako omukolo gw’okutangirira ebibi, olwo ne bagisindika mu ddungu.+
11 “Alooni anaawangayo ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye, ne yeetangirira ye n’ennyumba ye; oluvannyuma anattanga ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ebibi bye.+
12 “Anaddiranga ekyoterezo+ ekijjudde amanda agaaka g’aggye mu kyoto+ mu maaso ga Yakuwa, n’embatu bbiri ez’obubaani obw’akaloosa+ obusekuddwa obulungi, n’abitwala munda w’olutimbe.+ 13 Anaateekanga obubaani ku muliro mu maaso ga Yakuwa,+ era omukka gw’obubaani gunaabikkanga eky’okubikkako+ ekiri ku Ssanduuko ey’Obujulirwa,+ aleme okufa.
14 “Anaddiranga ogumu ku musaayi gw’ente ennume+ n’agumansira n’olugalo lwe mu maaso g’eky’okubikkako ku luuyi olw’ebuvanjuba, era ogumu ku musaayi anaagumansiranga n’olugalo lwe emirundi musanvu mu maaso g’eky’okubikkako.+
15 “Anattanga embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu,+ n’atwala omusaayi gwayo munda w’olutimbe+ era omusaayi gwayo n’agukola nga bwe yakoze omusaayi gw’ente+ ennume; ajja kugumansiranga mu maaso g’eky’okubikkako.
16 “Anaatangiriranga ekifo ekitukuvu olw’ebikolwa by’Abayisirayiri ebitali birongoofu, era n’olw’okwonoona kwabwe n’ebibi byabwe,+ era bw’atyo bw’anaakolanga weema ey’okusisinkaniramu eri wakati mu Bayisirayiri abatali balongoofu.
17 “Weema ey’okusisinkaniramu tebangamu muntu yenna okuva Alooni lw’anaayingiranga okutangirira ebibi mu kifo ekitukuvu, okutuusa lw’anaafulumanga. Alooni aneetangiriranga ye n’ennyumba ye+ n’ekibiina kya Isirayiri kyonna.+
18 “Awo anaafulumanga n’agenda ku kyoto+ ekiri mu maaso ga Yakuwa, n’akitangirira, era anaddiranga ogumu ku musaayi gw’ente ennume n’ogumu ku musaayi gw’embuzi n’aguteeka ku mayembe g’ekyoto ku njuyi zonna. 19 Era anaakimansirangako ogumu ku musaayi n’olugalo lwe emirundi musanvu n’akirongoosa era n’akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw’Abayisirayiri.
20 “Bw’anaamalanga okutangirira+ ekifo ekitukuvu, weema ey’okusisinkaniramu, n’ekyoto,+ anaaleetanga embuzi ennamu.+ 21 Alooni anassanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu n’agyatulirako ensobi z’Abayisirayiri zonna, n’ebyonoono byabwe, n’ebibi byabwe byonna, n’abiteeka ku mutwe gw’embuzi,+ n’agisindiikiriza mu ddungu ng’etwalibwa omuntu anaabanga alondeddwa okukola kino.* 22 Anaasindiikirizanga embuzi, era eneetwalanga ebibi byabwe byonna+ mu ddungu.+
23 “Alooni anaayingiranga mu weema ey’okusisinkaniramu ne yeeyambulamu ebyambalo ebya kitaani bye yabadde ayambadde ng’agenda mu kifo ekitukuvu, era anaabiteekanga eyo. 24 Anaanaabanga amazzi+ mu kifo ekitukuvu, n’ayambala ebyambalo bye+ n’afuluma n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa+ n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’abantu+ ne yeetangirira era n’atangirira n’abantu.+ 25 Amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 “Omusajja eyasindiikirizza embuzi ya Azazeri+ anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era oluvannyuma lw’ekyo ayinza okuyingira mu lusiisira.
27 “Ente ennume n’embuzi ez’ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwazo ogutwaliddwa mu kifo ekitukuvu okutangirira ebibi, zinaatwalibwanga ebweru w’olusiisira, era amaliba gaazo n’ennyama yaazo n’obusa bwazo binaayokebwanga omuliro.+ 28 Oyo anaabyokyanga anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba amazzi, era oluvannyuma ayinza okuyingira mu lusiisira.
29 “Eryo tteeka lya lubeerera gye muli: Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogw’omusanvu muneebonyaabonyanga,* era temukolanga mulimu gwonna,+ k’abe Omuyisirayiri oba omugwira ali mu mmwe. 30 Ku lunaku olwo ebibi byammwe binaatangirirwanga+ ne muba balongoofu. Mu maaso ga Yakuwa ebibi byammwe byonna binaaba bibaggiddwako.+ 31 Eyo eneebanga ssabbiiti ey’okuwummulira ddala gye muli, era muneebonyaabonyanga.+ Eryo tteeka lya lubeerera.
32 “Kabona anaabanga afukiddwako amafuta+ n’atongozebwa* okuweereza nga kabona+ ng’adda mu bigere bya kitaawe+ anaatangiriranga ebibi era anaayambalanga ebyambalo ebya kitaani,+ ebyambalo ebitukuvu.+ 33 Anaatangiriranga ekifo ekitukuvu,+ ne weema ey’okusisinkaniramu,+ n’ekyoto;+ era anaatangiriranga bakabona n’abantu bonna ab’omu kibiina.+ 34 Eryo linaabanga tteeka ery’olubeerera gye muli,+ okutangiriranga ebibi by’Abayisirayiri byonna omulundi gumu buli mwaka.”+
Bw’atyo n’akolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.